TOP

Taata wa Markle azize embaga y’Omulangira Harry

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

EMBAGA y’Omulangira Harry owa Bungereza n’Omuzaana Meghan Markle ezzeemu omukoosi.

4c3b6309000005785733373meghanmarklepleadedwithherfathertowalkherdowntheaislem361526454799293 703x422

Omulangira Harry ne Meghan

Taata w’omugole yeecanze n’ategeeza nga bw’atagenda kugibeerako olwa bannamawulire okumuwa ssente ne bamukuba ebifaananyi ebiswaza ekitiibwa kye, ekya muwala we n’Obwakabaka bwa Bungereza.

Harry mutabani w’Omumbejja Diana Spencer eyafiira mu kabenje k’emmotoka ng’ali ne muganzi we Dodi Fayed mu kibuga Paris ekya Bufalansa nga August 31, 1997, y'agenda okuwasa Meghan Markle muwala wa Thomas Markle enzaalwa ya Mexico ku Lwomukaaga luno nga May 19, 2018.

Ebulayo ennaku bbiri zokka kyokka eribadde essanyu ly’okwetegekera embaga ate kati kasattiro ke kazzeewo olwa taata wa Markle okuzira embaga ya muwala we n’agaana n’okumuyingiza ekkanisa ng’agamba nti okulabika ku mukolo ogwo agenda kwongera kuswaza muwala we n’Obwakabaka.

Thomas Markle aludde nga yeesunga embaga eno naye yaswadde olwa ssente ezaamuweereddwa n’akkiriza ebifaananyi ng’afa essanyu ly’embaga omwabadde okwepimisa essuuti gy’agenda okwambala, okugula omwenge mu bbaala, akeetalo ng’agula ebyokulya n’okusiibula mikwano gye.

Baasoose kugamba nti ekimugaana okwetaba ku mbaga lwa kukubwa puleesa kyokka ne kizuulwa nti ebyo byekwaso.

Yalabiddwaako mu Mexico nga yeggweera essowaani z’emmere n’okuvuga mmotoka ebintu ebitasuubirwa kukolebwa mulwadde wa Puleesa.

Wano Abangereza kwe kutandika okubisala nti, omuntu agamba nti yakubiddwa puleesa n’ekifuba eky’omunda kimuluma ate alya atya emmere ennyingi etyo nga ne mu ddwaaliro tannagenda.

homas arkle lwe baamukuba ebifaananyi ngakebera ebifaananyi bya muwala we ne bbaThomas Markle lwe baamukuba ebifaananyi ng’akebera ebifaananyi bya muwala we ne bba.

 

ABAAMAWULIRE BASIIBA BAMUYIGGA

Thomas yakkirizza nti okuva lwe kyakakasibwa nti muwala we aganza Omulangira nga bategeka n’embaga, ab’amawulire baatandika okumulondoola ne batuuka n’okupangisa ennyumba eriraanye eyiye mu ggwanga lya Mexico.

Amawulire ga Mail on Sunday ag’e Bungereza ge gaasoose okufulumya eggulire eriraga nga Thomas bwe baamuwa ssente n’akkiriza okumukuba ebifaananyi ng’apimisa essuuti gy’anaayambala, ng’agenda ku kompyuta okulaba ebigenda mu maaso ku mbaga ya muwala we n’ebirala.

Thomas, 73 agamba nti ssente si ze zaali enkulu mu kukkiriza okumukuba ebifaananyi ebyo naye kyava ku b’amawulire okumulemerako ennyo ate nga naye takirabamu buzibu.

Yagasseeko nti, baali baagala kumuggyako amawulire amajjuvu ng’anyumya obulamu bwa muwala we n’obubwE n’abigaana n’akkiriza ebifaananyi ng’alaba byo tebirina mutawaana.

SSENTE MMEKA ZE BAAMUWA

Amawulire galaga nti ebifaananyi bya Thomas amakampuni g’amawulire ag’amaanyi gabadde gabigula ku mitwalo 10 egya ddoola ze za Uganda obukadde nga 365,000,000/- buli kkampuni okukkirizibwa okubifulumya.

Kyokka kkampuni eyamukuba ebifaananyi yasaasaanya ssente ezisukka ku ezo okukkirizisa Thomas.

Yagaanyi okwogera mmeka ezaamuweebwa naye kirowoozebwa nti yafuna obukadde 150 abamu kye baayise okumuwa ffeeza mu mbaga ya muwala we.

Ekifaananyi ekyasinze okuluma abantu, ye Thomas okugula eccupa y’omwenge mu dduuka abantu ne batandika okumulangira nga bwali lujuuju asula yeekulisa olwa muwala we okufumbirwa Omulangira mu Bwakabaka obusinga amaanyi ku nsi.

 oria ne muwala we eghan Doria ne muwala we Meghan

 

ABAAMAWULIRE KYE KIZIBU

Waliwo abaatandise okulumiriza bannamawulire okuvaako akabenje ka mmotoka eyatta Diana ng’era be baavuddeko n’ebya Thomas okutabuka ne Markle!

We bwazibidde eggulo ng’amawulire ga Daily Mail galaga nti Thomas tannakyusa mu kirowoozo kya butajja ku mbaga era ng’akasattiro akaliwo, ani anaayingiza Markle mu kkanisa ya St. George’s Chapel e Windsor gye bagenda okubagattira.

Maama we Doria Ragland agenda kubeerawo ne baganda be ab’olubatu abaayitiddwa.

Abangereza babadde basaba Markle yeegayirire kitaawe agende ku mukolo wabula Thomas ne muwala we tebaddangamu kwogera okuva ku Ssande ebifaananyi ebyo lwe byafuluma mu mawulire.

Balumiriza nti abaana ba Thomas Markle beeyisa mu ngeri etegya mu kitiibwa ky’abakoddomi b’olulyo olulangira.

AB’ENG’ANDA ABATAAYITIDDWA BATUUSE

Ekimu ku bisinze okwewanisa Abangereza emitima be beng’anda za Markle abataayitiddwa okuba nga baatuuse dda mu Bungereza.

Abaatuuse mwe muli Tracy Dooley eyali mukazi wa mwannyina wa Markle, Thomas Markle Jr n’abaana be ababiri newankubadde tebaaweebwa kkaadi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe

Ssenga1 220x290

Omukyala alina siriimu nkole ntya...

Ssenga nsaba kunnyamba. Nakizudde nti mukyala wange alina akawuka akaleeta siriimu naye nze sirina nkole ntya....

Panga 220x290

Nnabaana wange ow’ekisa angobyeko...

ABAGANDA abaalugera nti atalina mannyo katonda gw’awa ennyama baali batuufu! nze Florence Naluyima 30, mbeera Kyebando...

Mpfranciszaake 220x290

Omubaka Zaake ayogedde engeri gye...

Okusinziira ku wooluganda agamba nti, yabagambye nti, “Bansanze mu wooteeri ya Pacific mu Arua ne babaka bannange...

Yiga 220x290

Ensobi ezaakoleddwa poliisi mu...

PULEZIDENTI Museveni ye yasoose okunenya poliisi n’agirangira obunafu obwavuddeko effujjo eryakoleddwa ku luseregende...