TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Akkirizza okwekobaana ne buwala be ne batta eyali bba, Paasita Tinka omulambo ne bagusuula ku ttale!

Akkirizza okwekobaana ne buwala be ne batta eyali bba, Paasita Tinka omulambo ne bagusuula ku ttale!

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

POLIISI y’e Hoima eyogezza Scovia Babirye 45, n’akkiriza okutta bba ‘Jonathan Tinka’ eyali akulira obusumba bw’abalokole mu buvanjuba. Tinka eyalina abakyala abasukka mu omu, yattibwa April 12, 2018 mu maka agali e Hoima.

Sula 703x422

Omwogezi wa polisi ya Albert, ASP Allan Julius Hakiza yagambye nti Kirabo akkirizza nti ye yatta bba nabawa n’ensonga lwaki yakikola. Hakiza yategeezezza nti okuva Tinka lwe yattibwa polisi yakwata Kirabo olw’oluvuvvuumo olwali luyitihhana mu batuuze.

Baakwatibwa ne bawala be Hellen Kengiri ne Sharon Katushabe. Ku poliisi yeegaana okutta bba, kyokka yamaze n’ayogera ekituufu ekyaliwo. Nga mukyala mukulu, yategeezezza nti asaba asonyiyibwe kubanga lyali bbuba eryamukozesa ebyo ng’akemebwa sitaani.

Yategeezezza nti bba yali amunyiizizza bwe yatunda ekimu ku bibanja bye balina Hoima, n’agenda agula ekirala e Nakasongola mu nkukutu. Nti kino kyamuleetera okulowooza nti yali aligulidde mukazi mulala n’asalawo okumusanyaawo olw’obusungu.

ASP Hakiza agambye nti kati obujulizi poliisi bwe yafunye ku Kirabo ne bawala be; Kengiri ne Katushabe bulaga nti bakkirizza omusango gw’obutemu.

Ensonda ez’enjawulo omuli n’abeekika bazze balumiriza Kirabo okutta bba nga kyeyoleka ne ku mugenzi nga tannafa okubategezaako ku bweraliikirivu bwe y’alina eri Kirabo.

Abantu bataano poliisi be yakutte ku ttemu fayiro y’omusango gwabwe eri CRB 630/2018 nga guli mu kkooti y’e Hoima.

Abavunaanibwa kuliko Scovia Kirabo, Kenneth Kamulamwiri ne Fred Tumusiime (abalaalo), Hellen Kengiri ne Sharon Katushabe(abaana b’omugenzi). Poliisi yakutte ne Phiona Kirabo (39) ne Ammon Akainjuka okwongera okubayamba okunoonyereza.

BAWALA BA KIRABO BAMULUMIRIZZA OKUTTA KITAABWE

Bawala b’omugenzi Tinka abazaalibwa Scovia Kirabo Juliet Nakato (13), John Kakulu Wasswa (13) ne Babra Tushemerweirwe (8) bagamba nti nga April 11, 2108, nnyaabwe yagamba omulaalo Kamuramwiri akubire kitaabwe essimu amuyite aleete eddagala erifuuyira ente n’okuzinaaza kyokka Tinka n’agaana nti yali Kampala yali asobola kutuuka nkeera ku Lwokuna.

Bagamba nti nnyabwe yatuuza olukiiko n’abalaalo emmanju w’ennyumba nga mulimu Katushabe ne Kengiri kyokka ne badda mu ddirisa ly’ennyumba mu kisenge ne bawuliriza buli kye boogera ku kutuusa obulabe ku kitaabwe.

Abaana baagasseeko nti, mu kuteesa kwabwe, abalaalo balabika ng’abaali batidde naye maama waabwe n’abakkirizisa.

Maama yabategeeza nga bwe yali ayagala batuge mutuge kyokka abalaalo ne bamuwakanya nti abantu baali bajja kubawulira olwo ne bakkaanya kumutwala mu nsiko bateme muteme na jjambiya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.