TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Omupakisitaani Amerika gwe yafuumudde n'emusuula mu Uganda alaajanidde Museveni

Omupakisitaani Amerika gwe yafuumudde n'emusuula mu Uganda alaajanidde Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 16th May 2018

OMUSAJJA Omupakisitaani America gwe yafuumudde n’emuttika ku nnnyonyi n’emusuula mu Uganda olw’okuba yazaalirwa mu ddwaliro ly’e Mengo alaajanidde Pulezidenti Museveni amukkirize okufuuka omutuuze wa wano n’okukolerawo emirimu ng’agamba nti ye dokita mutendeke asobola n’okujjanjaba okusinga Abacuba Gavumenti b’eyagala okuleeta.

Ahmad 703x422

Shafik Ahmad, yafuumuddwa gavumenti ya America  n’emutikka ku nnyonyi n’emusuula mu Uganda  oluvannyuma lw’ebiwandiiko bye ebimubeeza mu Amerika okuggwaako ng’akawandiiko kokka akalaga ensibuko ye ke k'ebbaluwa y'obuzaaale eraga nti yazaalibwa mu Uganda wadde nga bazadde be Bapakisitaani.

Kyokka wadde yazaalibwa mu Uganda, omusajja ono ow’emyaka 57 ensi eno yagimalamu emyezi mukaaga gyokka  bazadde be okwali  kitaawe eyali omusomesa mu ssomero lya Agakhan mu Kampala ne basenguka ne bagenda naye e Nigeria gye yasomera n’afuna diguli  mu busawo era nayo ne basengukayo ne bagenda mu Amerika gy’abadde abeera okuva mu myaka gy’ekinaana okutuuka lwe bamugobyeyo.

Mu Amerika yagendayo ng’akozesa paasipooti ya Parkistan kati eyaweddeko n’atasigaza kawandiiko konna kamusobozesa kubeerayo kuba ne kaadi y’obutuuze bwayo (Green card) eyamuweebwa yaggwaako.

Omusajja ono enzaalwa ya Uganda atalina  ndagamuntu  ya wano yawandiise ebbaluwa eri Pulezidenti Museveni ng’ayita ku kasimu ke ng’asinziira mu kaduukulu mwe yabadde n’agamba nti ayagala Pulezidenti amukkirize okubeera wano akole emirimu gye kuba musawo asobola okujjanjaba abantu n’okusinga Abacuba.

" Nafuumuddwa ne nsuulibwa wano olw’ebbaluwa y’obuzaale eraga nti banzaalira Mengo. Ekitebe kya Uganda mu America kye kyampadde ebiwandiiko ebyantuusizza wano  kyokka ngezaako okusaba obutuuze bwa wano naye nnemeseddwa olw’okuba ekitebe kya Amerika mu Uganda kigamba nti Uganda  nayo engobe ntwalibwe e Pakistan eri bazadde bange,’’ Ahmad bwe yategeezezza.

Yagambye nti Abasiraamu Abayindi n’Abapakisitaani ababeera mu Uganda  beetegefu okumulabirira singa ateebwa.

Agamba nti mu Amerika yafunayo omukazi Kris mu 1996 ne bazaala omwana Zaid mu 1999.

Wabula baayawukana mu kkooti mu mwaka gwa 2005 n’afuna omukazi omulala Tiffany Macey naye gwe baayawukana naye ng’amuloopye mu b’obuyinza nti yagezaako okutemula mukazi we eyasooka Kris ekitali kituufu.

Oluvannyuma omusajja agamba nti  yakizuula nti omukazi ow’okubiri gwe yafuna baali ba mukwano n’eyasooka era n'olukwe baapanga lupange okumusuula.

Bwe yatwalibwa mu kkomera  mu 2009, yasibwa emyaka musanvu era olwaweddeko n’atikkibwa ku nnyonyi n’asuulibwa mu Uganda.

Agamba nti agezezzaako okufuuka omunoonyi w’obubudamu oba okusaba wano obutuuze kyokka bikyagaanyi.

Omwogezi wa Minisitule y’ensonga z’omunda, Jacob Shems Siminyu yategeezezza bannamawulire nti  balina obukakafu nti Ahmad ssi Munnayuganda era boogeraganya ne gavumenti ya Amerika balabe eky’okumukolera okuli n’eky’omuzaayo gye yavudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwineatmagere 220x290

Bobi Wine ayogedde ku ngeri gye...

" Akawungeezi ka Mmande nnabadde mu kisenge kya wooteeri mwensula ne mpulira abantu nga bagamba ggulawo kyokka...

Long1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Bobi Wine, mukazi we amutunuddeko e Makindye gy’akuumirwa n’azirika olw’embeera gy’alimu. Omubaka Zaake bamuleese...

Candia 220x290

Nnannyini wooteeri ya Pacific e...

NANNYINI wooteeri ya Pacific Hotel mu kibuga Arua asambazze ebyayogeddwa poliisi nti emmundu ez’ekika kya SMG ebbiri...

Genda1 220x290

Baka balamu bange bannemesezza...

NZE Shifrah Nalwadda 25. Mu 2016 omusajja ayitibwa Akim yankwana era nange ne musiima ne mmukkiriza n’antwala ewuwe...

K3 220x290

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa:...

Ab'e Kamwokya bazzeemu okwekalakaasa: Baagala Bobi Wine ayimbulwe