TOP

Omuwala wa S.3 asimattuse okusaddaakibwa

By Musasi wa Bukedde

Added 19th May 2018

POLIISI y’e Wantoni- Mukono ekutte n’eggalira omusamize ne famire ye lwa kuwamba muwala ne bamukuba ne bamuleka ng’azirise nga kigambibwa nti baabadde n’ekigendererwa ky’okumusaddaaka.

Kola 703x422

Sulaiman Mwanje ne mukyalawe Hajala Mwanje ne Christine Namboowa, omukozi w’awaka abatuuze b’e Ngando Mukono be baakwatiddwa poliisi ne baggalirwa lwakukkakkana ku muwala wa muliraanwa waabwe, Rahma Nakayima omuyizi wa S.3 mu Excel SS, ono muwala wa Hajji Faizo Sserulangira ne Halima Sserulangira ne bamukuba.

Mu kubakwata poliisi yasoose kuzingako maka ga Mwanje ku Lwokubiri kyokka ne basangawo Namboowa.

Yakwatiddwa n’aggalirwa olwo poliisi n’eddamu okukola omuyiggo ku bakamaabwe abaabadde badduse n’abaana baabwe. Baasose kwaza maka gaabwe, mwe baasanze ebyawongo ebiwerako.

Emizigo n’obuyumba obwabadde bulowoozebwa okuba bu kaabuyonjo bwonna baasanze bwafuuka masabo.

Abazadde ba Nakayima baategeezezza nti baababdde tebalina luyombo lwonna na ba Mwanje.

Nakayima apoocera mu International Medical Centre e Mukono baalumirizza Mwanje nti yabadde agezaako okusaddaaka muwala waabwe.Baasanze Nakayima azirise ng’engoye ze ziyuziddwa naddala mu kifuba.

Nakayima ayogedde Nakayima agamba nti “zaabadde ssaawa 12 ku Mmande akawungeezi bwe twabadde tugenda ku dduuka lya maama kyokka bwe natuuse ku kkubo ewa Mwanje ne nsanga muwala we Habibba Nsangi n’ankyokooza nti kitange omulimu gwakola ogwa bannamateeka gwa babbi ne muddamu nti yabba ani?

Mu kuwanyisiganya ebigambo Mwanje n’ampita ewuwe mubuulire lwaki tuyomba. Namboowa ne Nsangi banzikakkanyeeko ne bankuba nga ne Mwanje eyampise mubuulire obuzibu we buva atunula butunuzi.

Nagudde n’enzirika era okuddamu okutegeera nga ndi mu ddwaaliro. Maama wa Nakayima Muky Sserulangira,agamba nti kya nnaku muliraanwa okweyisa bwatyo kuba tamanyi gye binaggweera.

Omwana wange ali bubi baamukubye nnyo era avaamu omusaayi omungi, tatuula era tayimirira.

Ye omusawo Moses Nsubuga ajjanjaba Rahuma Nakayima agamba nti yafunye obuzibu mu lubuto, so nga n’omusuwa oguli ku kutu okumu gwakoseddwa ssaako n’endira kyokka bakola obutaweera okulaba nti assuuka.

Akulira okunoonyereza ku poliisi y’e Mukono, Catherine Tesima yagambye nti bagguddwaako ogw’okutuusa obuvune ku muntu nga ku fayiro Ref 24/14/05/2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....