TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abaawambye Namayanja basindikidde abazadde obubaka obukambwe

Abaawambye Namayanja basindikidde abazadde obubaka obukambwe

Added 19th May 2018

OBUNKENKE bweyongedde mu ggwanga naddala mu bawala olw’ebikolwa eby’okubawamba n’okutemulwa ebitasalako. E Njeru mu Buikwe omuwala gwe baawambye abamulina batandise okuweereza abazadde obubaka obukambwe.

 Omuwala omuwambe Namayanja

Omuwala omuwambe Namayanja

Baabategeezezza nti, batandise okumutulugunya kyokka babalabula okukuuma obubaka buno nga bwa kyama poliisi ereme kumanya singa bakikola omuwala bagenda kumutta!

Mary Namayanja 19, muyizi mu S3 ku ssomero lya Amazima School.

Yawambiddwa abantu abatannategeerekeka ku Lwokuna akawungeezi. Ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo yava awaka nga maama we Grace Namusisi amutumye okugenda okutunga engatto mu maduuka e Buziika wabula wakati mu kkubo yalinnye bodaboda eyamwolekezza e Nakibizzi.

Abeng'anda za Namayanja be tusanze mu maziga bagamba nti, owa bodaboda Yazid Kisira eyamuvuze ye yabategeezezza nti yamuvuze n'amutwala e Nakibizzi.

Abehhanda bagamba nti abalina Namayanja baatandise okubasindikira obubaka ku ssaawa nga 3:00 ez'ekiro nti, bawambye omuwala ono kyokka akyali bulungi.

Keneth Kisekka mwannyina wa Namayanja agamba nti, ku Lwokutaano ku makya bazzeemu okuweereza obubaka ku ssimu nga bamutegeeza nti, mwannyina asibiddwa akandooya era ne bamulabula obutagezaako kuloopa ku poliisi.

Tutuuseeko ku kyalo Butema mu maka awazaalibwa Namayanja maama we Grace Namayanja ye tusanze azirise ng’atwalibwa mu ddwaaliro.

Ssentebe w’ekyalo Bwire Livingstone agamba nti, beeraliikirivu era essuubi ly’okusanga omuntu waabwe libali mu poliisi.

Abatuuze basabye poliisi okwongera okunyweza ebyokwerinda kubanga eggwanga liri ku bunkenke.

Poliisi yakutte owa bodaboda Yazid Kisira eyavuze omuwala ono okumutwala e Nakibizzi.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Ssezibwa Hellen Butoto akakasizza okuwambibwa kw’omuwala ono n’ategeeza nga poliisi bw’etandise okunoonyereza. Asabye abazadde okwongera amaanyi mu kukuuma baana baabwe ennyo.

Mu kitundu kye kimu baawambye omuwala Briana Nalule ne bamutta mu bukambwe nga baamutungulamu eriiso limu n'ebbeere erimu ne balisalako.

Ono yava waka e Nakibizzi n’awambibwa mu ppaaka enkadde omulambo gwe ne gusuulibwa e Mutundwe mu Kabawo Zooni oluvannyuma lw’abatemu okupeeka bazadde be ensimbi ze batalina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omusajja yansuulawo ng'omwa...

Nze Scovia Twetise 28, mbeera Bulamu-Gazaya, Texas. Mu 2005, nalina emyaka 15 omusajja yantuukirira n’ahhamba nti...

Eyagenda okusoma ddiguli e ...

Talina mpapula kw’akolera era agamba tasobola kudda kubanga bw’adda taddayo

Abatudde okuva ku kkono; Godfrey Nyola, Saul Kizito, Isaac Ngobya ne Pasita Paul Musisi ate abayimiridde okuva ku kkono; Kennedy Lubogo, Edward Baguma, Jimmy Ssekandi

Aba 'Former Footballers In...

Abaaguzannyako abaabaddewo kuliko; Saul Kizito (Nile FC), Isaac Ngobya (Bell), aba Express okuli Kennedy Lubogo,...

Kamaanyi eyatolosa Ssekabak...

Dan Kamaanyi, eyatolosa ssekabaka Muteesa II ekibabu kya Milton Obote eyalumba olubiri mu 1966 ng'ayagala okumutta,...

Muyigire ku bajulizi abakki...

MUK'OMULABIRIZI wa West Buganda Can.Elizabeth Julia Tamale y'ayigirizza mu kusaba okw'okujjukira abajulizi ba...