TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Paapa afunye ekyekango: Abasumba 34 balekulidde omulundi gumu e Chile!

Paapa afunye ekyekango: Abasumba 34 balekulidde omulundi gumu e Chile!

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2018

EKLEZIA Katolika eguddemu ekyekango Abasumba 34 bwe baalekulidde omulundi gumu! Baasoose mu kafubo ne Paapa e Vatican akaamaze ennaku ssatu.

20180518t07492049cnschilebishopsresignation 703x422

Bishop Juan Ignacio Gonzalez Errazuriz owa San Bernardo, Chile, ne munne Auxiliary Bishop Fernando Ramos Perez owa Santiago, Chile be bamu ku Babisopu 34 abaalekulidde omulundi gumu.

VATICAN, Lwakutaano

Mu kafubo kano, Paapa Francis eyabadde omukambwe yabadde abakunya bamunnnyole lwaki babadde babikkirira Abaserodooti abakabassanya abaana.

Abasumba bano nga bonna ba ggwanga lya Chile era nga mu kiseera kino eggwanga lino teryasigazza Musumba n’omu nga kye kyekango ekyakasooka okubaawo mu Eklezia Abasumba bonna mu ggwanga erimu okulekulira omulundi gumu nga kuliko n'abaawummula.

Paapa yamaze ennaku ssatu ng’ayogera eri abakulu bano kyokka nga byonna kwabadde kubanenya kwereere ekyavuddemu kwe kusikayo lipoota nnamutayiika ey’emiko 2,300 omuli kacica yenna abadde afumbekedde mu Klezia y'e Chile n’agikuba ku mmeeza n’atandika okugiyitamu buli Musumba we yabadde n’atokooterera.

Awatali kwogera kintu kyonna ku lipoota eno, Abasumba baasituse ne beetondera Paapa, Abakatoliki b’omu Chile ne Eklezia mu nsi yonna ne bategeeza nti, "Tugudde, kitaffe Paapa tusonyiwe era otusabire."

Olwavudde mu kafubo kano Abasumba bano ne bafuluma ebweru bonna awatali kwesalamu ne babaga ekiwandiiko eky’amangu mwe baatadde okulekulira kwabwe ne bakikwasa Paapa nga bagamba nti, bwe beetunuulira tebakyasaanira kuyitibwa baana ba Katonda.

PAAPA KY'AZZAAKO

Kati kiri mu mikono n’obuyinzabwa Paapa nga Yesu bwe yagamba Petero (Matayo 16:18-19) nti, "..Nange nkugamba nti, Ggwe Peetero, nange ndizimba ekkanisa yange ku lwazi luno. So n'emiryango egy'Emagombe tegirigiyinza.

Ndikuwa ebisumuluzo by'OBwakabaka obw'omu Ggulu, lyonna kyonna ky'olisiba ku nsi kirisibibwa mu Ggulu, kyonna kyonna ky'olisumulula ku nsi kirisumululibwa mu Ggulu."

Bino okubeerawo, Paapa yasoose kuwandiikira Klezia e Chile ebbaluwa enkambwe n’anenya nnyo abakulembeze mu Klezia naddala Abasumba olw'okwenyigira mu bikolwa by’okukabassanya, okusirikira obujulizi kw’abo ababyetabyemu ne batabonerezebwa n’okugaana okubonereza abo abeeyolese nga baliko obujulizi obw’enkukunala obubaluma.

Ebbaluwa gye yabawandiikidde yawunzise ebalagira okweyanjula e Vatican mu lukiiko. Olwatuuseeyo ne babakwanga ekiwandiiko nga kyongera kubakomerera.

Olukiiko olwawedde nabo ne bamukwanga ekiwandiiko Abasumba 34 kye baataddeko emikono nga beetonda ne basaba Vatican ebasonyiwe.

Ku Basumba bano 34, kuliko basatu abaali baawummula era nabo bajjiddeko e Vatican era nabo baatadde emikono ku kiwandiiko ekirekulira ne beetondera wamu ne bannaabwe.

Kubanga Paapa ye musika wa Petero ku nsi, kati kiri gy'ali okubakkiriza bawummule bonna, okukkirizaako omu kw'omu, okulwawo okusalawo ekyenkomeredde oba okubagaana okuwummula nga bwe baasabye.

Okwemulugunya kuzze kubeerawo okumala ekiseera Paapa kwe kusitukiramu n’ateekawo akakiiko okunoonyereza ku bikolwa bino.

Bwe kaamuwadde lipooti n’ataama, kwe kuwandiikira abakulembeze ba Klezia e Chile n’abayita e Vatican okubakunya ku bulagajjavu bwe boolesezza ne batuuka n’okutuula ku bujulizi obw’enkukunala.

Abasumba okuva mu ggwanga ddamba bonna okusaba bawummule, kibaddewo omulundi ogusoose mu byafaayo.

Kino kiteeka ebbala ddene ku Klezia mu Chile n’okwetoloola ensi yonna. Ebibavunaanibwa kuliko; okukabassanya abaana abato n’emivuyo emirala mu Baseserodoodi.

Ebbaluwa Paapa gye yawandiikidde ab’e Chile, yategeezezza nti, buli mukulembeze mu Klezia e Chile okuva waggulu okutuuka wansi ku kabondo yabadde anenyezebwa kyenkanyi.

“Kino tewali asaana kukyeggyamu kukinenyeza mulala, buli muntu avunaanyizibwa", ebbaluwa bwe yaggumizza.

Amawulire gaatandise okusasaana ku Lwokutaano ku makya gaatandikidde ku mukutu gwa T13 television e Chile.

Vatican yabikakasizza nti bituufu. Olukiiko lw’Abasumba e Chile lwayanukudde n’ekiwandiiko nti kino kyalaze okukozesa obubi obuyinza n’ekibi okubeera nga kyakubalumiriza buli kiseera ne basaba okusonyiyibwa.

Mu February omwaka guno, omwana eyakabassanyizibwa yatwaliddwa mu ddwaaliro ne bamulongoosa, oluvannyuma lw’okukizuula nti ebitundu bye ebimu eby’omubiri baabiyuzaayuza nga yabadde takyasobola kusiba musulo wadde obubi.

Kyalangiriddwa Jaime Coiro omwogezi w’olukiiko lwa Chilean Catholic Bishop’s Conference.

Ensonga zaatandikidde ku Musumba omu Juan Barros nga gwe bavunaana wabula Paapa yawuniikiridde ng’afunye lipooti okuva mu bakugu nga bakakasa nti, eno yabadde mmanduso wabula Klezia e Chile yavunda dda!

Ebikolwa ebyengeri eno, bigambibwa okubeera nga bye byaviirako Paapa Benedict XVI okulekulira mu February 28, 2013, ng’akkirizza nti, ebintu ebimu ebigenda mu maaso yali takyayinza kubyahhanga n’aleka Klezia eronde Paapa omulala alina ku maanyi asobole okutereeza ekifaananyi kya Klezia.

Paapa Benedict XVI mu 2010 yalagira okunoonyereza kukolebwe mu matendekero g’abaseminaaliyo e Ireland. Okulagira kino yasooka kutuuza lukuhhaana lw’Abasumba olwa Irish bishops' Conference.

Paapa Francis yagambye nti, ekizibu tekiyinza kumalibwawo lwa kuwulira musango gwa bantu ssekinnnoomu ne bagobwa wabula okugogola wonna.

Wano mu Uganda, wiiki ewedde Bukedde twakuwandiikidde ku Fr. Robert Ssemwogerere eyazaala mu Maureen Kisaakye omwana ate n’amwegaana. Oluvannyuma bwe yagenze mu maaso ga minisita w’abavubuka n’abaana Florence Nakiwala Kiyingi yakkirizza ne yeetonda.

Okudda e Chile, okusinziira ku bbaluwa ya Paapa Francis emyaka egiyise wabaddeyo emisango minigi egizze giwabibwa ng’abakulembeze mu Klezia ku mitendera egy'enjawulo nti beenyiggira mu kukabassanya abaana.

Bangi bazze bagobebwa mu bibiina mwe babadde baweerereza nga Salesians, Franciscans ne Marist Brothers, kyokka emisango gyabwe ne gikendeezebwa ng’egitaliimu nsa ne balya butaala nga tebavunaaniddwa mu Klezia ne mu mateeka eg’ensi!

Okusinziira ku mawulire okuva e Vatican, Paapa asuubirwa okukkiriza okulekulira kw’abamu ku Basumba bano naddala abo ababadde ku mwanjo gw’ensonga eno ate abalala ebbaluwa zaabwe ez’okulekulira agenda kuzigoba baddeyo ku mirimu gya Klezia.

Ng’oggyeeko okubeera ku mwanjo, Abasumba Paapa baagenda okukkiriza okulekulira kwabwe beebo ababadde beenyigidde mu kukabassanya abaana, okukyusakyusa ebiwandiiko ebibalumiriza, okulagajjalira ensonga ze babadde babaloopera, okugaana okubonereza abasosodooti be babadde babaloopera ne badda mu kubakyusa bukyusa bifo mwe bakolera n’ebivve ebirala.

Abatunuulizi bagamba nti Paapa bw’anakkiriza okulekulira kw’abamu ku Basumba be kijja kumuyambako okulongoosa erinnya lya Klezia n’erirye ng’omukulembeze ow’oku ntikko mu Klezia kuba yasooka kuwakanya bigambo bya kukabassanya baana ng’agamba nti ababyogera baagala kwonoona linnya lya Klezia.

Kyokka bongerako nti Abasumba okulekulira obulekulizi n’okwetonda tekimala wabula okubaawo enkyukakyuka ez’omuggundu mu Klezia naddala enkola y’okutuulira n’okusirikira ebintu ebimu ebigenda mu maaso munda mu yo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo