TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi alaajanidde akakiiko k'ettaka: Looya amufeze ssente ezisoba mu kawumbi

Omukazi alaajanidde akakiiko k'ettaka: Looya amufeze ssente ezisoba mu kawumbi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2018

OMUKAZI alaajanidde akakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka kamuyambe kawalirize munnamateeka w’omu Kampala Richard Buzibira amuddize ssente ezisoba mu kawumbi ze yamufera nga gavumenti eriyirira bannanyini ttaka e Buyaga.

Naye 703x422

Nansubuga ne looya Buzubira gw'alumiriza okumufera ettaka erikunukkiriza mu buwumbi bwa ssente

Teddy Nansubuga 57, ow’e Kibaale, yategeezezza Omulamuzi Catherine Bamugemereire nti ye yazaalibwa bw’omu ne bazadde be baafa, ekikubagizo ky’alina be baana 10 be yazaala naye omu yafa.

Yagambye nti yalina ettaka lye yasikira ku jjajja we Peter Seviiri ku bbulooka 223 poloti 1 Buyaga nga liweza mayiro bbiri. Waliwo abaali balikaayanira bwe baamutwala mu kkooti n’abawangula yagenda okulaba ng’obwavu bumutta kwe kusalawo okulitunda.

Baamuwa amagezi atwale ekyapa mu gavumenti bamuliyirire okuva mu nsawo ya ‘Land Fund’ naye kwe kusitukiramu.

Nansubuga yatuukirira Munnamateeka Buzibira amukolere ku nsongaze ng’obwesige bwonna abutadde mu Buzibira kubanga ye tasobola kusoma Lungereza yakoma mu P5.

Ensonga bwe baazitambuza n’alaba nga baluddewo okumusasula, Buzibira kwe kumutegeeza nti ye asobola okumufunira omuntu amuwa ssente ze yeetaaga olwo oyo aguze n’asigala ng’abanja gavumenti.

Nansubuga bwe baamuwa empapula okuteekako omukono ne bamusasula obukadde 80, baamutegeeza nti awandiika ku ndagaano ya kutunda ttaka lye kyokka nga Buzibira akwataganye ne banne ne balagira Nansubuga okuteeka omukono ku mpapula eziwa Buzibira obuyinza (‘Powers of Attorney’) okubanja ssente ku lwa Nansubuga.

Mukazi wattu yawuniikiridde ng’amyuka munnamateeka w’akakiiko John Bosco Suuza amutegeeza nti Buzibira abadde akozesa empapula zino okubanja ssente era nga zijjira mu linnya lya Nansubuga era lino ettaka lyokka Buzibira baakamusasulako obukadde 821 akyabanjaayo obukadde 190 kubanga baalibaliriramu akawumbi kamu n’ob-ukadde 400.

Ettaka eddala eriri ku bbulooka 224 poloti 1 e Mubende nalyo ekyapa Nansubuga yakiwa Buzibira n’amu-sasula obukadde 190 kyokka bwe baagenda mu gavumenti okubasasula baalibaliriramu obukadde obusoba mu 800.

Baagenze okubalamu ze baakamusasulako ng’akyabanjaayo obukadde 250 naye nga zonna Buzibira azze aziggyayo ku lwa Nansubuga.

Buzibira bwe yalabiseeko mu Kakiiko nga April 18, 2018 yategeezezza nti akolera mu kkampuni ya Frank Tumusiime & Company Advocates. Oluvannyuma lw’okumukaza okumala ebbanga eddene annyonnyole engeri gye yakwataganamu ne bannannyini ttaka ne bamuwa obuyinza okubaggyirayo ssente, yayogera ebikontana.

Munnamateeka w’akakiiko yamusomedde amannya g’abantu b’agamba nti baamuwa obuyinza okubaggyirayo ssente z’ettaka lyabwe. Amannya ge yamusomedde kwabaddeko: Joackim Kateregga Balikyewuunya ettaka liri ku bbulooka 163 poloti 1 Buyaga baamusasula obukadde 550, bbulooka 282 poloti 2 Buyaga ekyapa kiri mu mannya ga Julius Busulwa.

Busubira baamusasula obukadde 250, bbulooka 272 poloti 3 Bugangaizi baamusasula obukadde 20 kiri mu mannya ga Matiya Muyomba, bbulooka 224 poloti 1 mu mannya ga Teddy Nansubuga baamuwa obukadde 200, poloti 28 baamuwa akawumbi kamu n’obukadde 800 liri mu mannya ga Joseph Sande.

Ssente endala baazisasula mu mannya ga kkampuni ya Frank Tumusiime & Co. Advocate. Kuliko: bbulooka 153, 164 poloti 2,1 ne 21 baalisasula 1,400,000,000/- liri mu mannya ga Daniel Kateregga, bbulooka 107 poloti 1 liri mu mannya ga Desire Wamala ne Alexandra Kasanvu baalisasula 1,300,000,000/-, bbulooka 272 poloti 3 mu mannya ga Matiya Muyomba baalisasula 1,500,000,000/-

Baagenze okumubuuza omuwendo gwa ssente zonna n’ategeeza nti baakamusasulako 13,354,439,000/- akyabanja 5,310,000,000/-. Omulamuzi yamulabudde nti teyeesunga okuddamu okufuna wadde 100/- kubanga buno bubbi bwe batayinza kukkirza kuddamu kugenda mu maaso.

Wano Omulamuzi we yasinzidde okumulagira atwale empapula z’abantu bano zonna mu kakiiko ye yennyini (Buzibira) nga tatumye muntu mulala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....