TOP

Mmotoka ya Bryan White esse omuntu

By Joseph Makumbi

Added 21st May 2018

Bryan White abadde yaakawona omusango gw’okukuba muliraanwa we amasasi ate emmotoka ye n’etomera omuntu e Buziga n’afiirawo.

Miss 703x422

Emmotoka ya Bryan White eya Range Rover Sport UBD 242F yakwatiddwa ekuumirwa ku poliisi y’e Kabalagala.

Kyokka Bryan White agamba nti eno yabadde emu ku mmotoka ezaabadde mu luseregende naye mwe yabadde. Wabula yabadde evugibwa muntu mulala. Era ye yayingiddewo kuyamba buyambi okutwala eyatomeddwa mu ddwaaliro.

Bryan White yabadde ava Mulungu - Munyonyo ng’addayo ewuwe e Buziga, kyokka emmotoka ze zaabadde ziweta ku kkubo erigenda ewa Bryan White we zaatomeredde omuntu ku Lwomukaaga akawungeezi.

Eyattiddwa ye Stephen Ndungutse 30, atunda omusenyu e Kansanga. Abaabaddewo balumiriza nti Bryan White yennyini ye yabadde avuga emmotoka.

Ndungutse yabadde ku pikipiki ng’agenda Mulungu kubanja. Hussein Umaru yagambye nti Bryan White ne basajja be bavuga sipiidi ate ng’emmotoka zibuna oluguudo.

“Ndudde nga ntya nti olumu balitomera abantu olw’envuga yaabwe,” bwe yagambye.

Abantu balumiriza nti Bryan White ye yabadde avuga kyokka emmotoka bwe yatomedde n’akyuka n’adda mu mutto gw’emabega musajja we Mathias Kisambu ali mu kaduukulu ka poliisi e Kabalagala, n’atuula ku siteeringi.

Poliisi bwe yazze ono gwe yakutte. Bryan White yawaddeyo emu ku mmotoka ze okutwala omuntu mu Mukwaya General Hospital e Nsambya wabula baagenze okumutuusaayo nga mufu.

Omusango guli ku fayiro TAR 130/2018. Poliisi yategeezezza nti yazzeeyo awaabadde akabenje n’etegeezebwa nti Bryan White ye yabadde avuga era ye yasse omuntu.

Yayitiddwa okukola sitatimenti n’abategeeza nti yabadde waakugendayo ku Ssande (eggulo) ku ssaawa 6:00 ez’emisana wabula zaaweze 10 nga tannalabikako.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire yagambye nti Bryan White oba ye yatomedde oba teyatomedde alina okukola sitatimenti nga nnannyini mmotoka.

ABA FAMIRE BAGAANYI SSENTE ZA BRYAN WHITE

Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago gye baaguggye ne gutwalibwa mu maka ga A-Plus okugukolako ne gutwalibwa ku Kadiba we batundira omusenyu okuliraana International University of East Africa.

Omu ku b’emikwano gya Ndungutse era eyabayambyeko ennyo okukola ku nteekateeka z’okutambuza omulambo n’okuziika eyategerekeseeko erya Kalanzi yategeezezza nti, Bryan White yabakubidde essimu ng’ayagala abasisinkane abawe ssente kyokka ne bazigaana.

Kalanzi yagasseeko nti balina okusooka okuziika oluvannyuma balabe engeri gye bagenda okukwataganamu ne Bryan White. Kyokka bbaasi bbiri Costa ze yabawadde okutambuza abagenda okuziika, baazikkirizza.

Aziikwa leero e Matimba mu Rwanda ku nsalo ya Uganda ne Rwanda e Kagitumba. Alese abaana basatu ne nnamwandu.

EYASIMATTUSE ANNYONNYODDE

Henry Kizito eyabadde ne Ndungutse ku pikipiki yagambye nti, ye yagiviiriddeko Bbunga, Ndungutse ne yeeyongerayo e Mulungu okubanja ku kizimbe kya bannansi ba Eritrea.

Amawulire agaddiridde kumutegeeza nti munne atomeddwa era mufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...