TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddereeva omutamiivu asse omu n’alumya 8 e Kamuli

Ddereeva omutamiivu asse omu n’alumya 8 e Kamuli

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd May 2018

DDEREEVA wa kabangali eyabadde agaba endokwa z’emmwaanyi eza ‘Operation Wealth Creation’ (OWEC) yatamidde walagi w’obuveera n’atomera emmotoka bbiri omuntu n’afa ate munaana ne bagendera ku bisago.

Kawunyemu1 703x422

Omuserikale ng’apima obungi bw’omwenge Fred Kalogo gwe yanywedde.

BYA TOM GWEBAYANGA

Fred Kalogo, 25, mu Double Cabin gye yabadde avuga yabaddemu n’abantu abalala 12 abaamulabye ng’atamidde ne bamugamba ave ku siteeringi n’agaana.

Ono oluvannyuma yakubye akagulumu n’atomera loole nnamba UAA 681C eyabaddeko obusawo bwa sukaali 230, n’atomera ne tuleera y’amafuta nnamba UAL 232X eyabadde ebbali.

 motoka eyakoze akabenje ngeri ku oliisi Mmotoka eyakoze akabenje ng'eri ku Poliisi

Akabenje kaagudde mu kabuga k’e Namayira ku lw’e Kamuli - Jinja ku Mmande. Loole ya sukaali olwagudde, abantu ne batandika okubba sukaali nga bwe bagamba nti, “Allahu akbar, allahu akbar ekisiibo kigenda kuggwaako bulungi.”

Akulira Poliisi y’ebidduka e Kamuli, Dick Tweheyo yategeezezza nti, Kalogo yabadde atamidde nnyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi