TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Tukwatire wamu okulongoosa amaka - Janet Museveni

Tukwatire wamu okulongoosa amaka - Janet Museveni

By Henry Nsubuga

Added 23rd May 2018

MUK’OMUKULEMBEZE w’eggwanga era minisita w’ebyenjigiriza, Janet Museveni akoowodde bannaddiini, ab’ebitongole by’obwannakyewa, abakulembeze n’abantu bassekinnoomu okuvaayo mu batereeza ekifaananyi ky’amaka ekifudde ensangi zino.

Mknfirst2 703x422

Minisita Janet Museveni ng’ayanirizibwa omulabirizi w’e Mukono, James William Ssebaggala ku UCU e Mukono ku Mmande.

Yagambye nti ensonga nnyingi ezivuddeko amaka okutabanguka omuli tekinologiya ow’omulembe naddala mu kisaawe ky’ebyempuliziganya, enkulaakulana ey’omuggundu etuukiddwaako mu nsi yonna n’ensonga endala nga kyetaagisa okukwatira awamu okubaako ekikolebwa okukomyawo amaka ku mulamwa omutuufu.

Okwogera ebyo, yabadde Mukono ku Mmande ng’aggulawo olukuhhaana olw’ennaku ebbiri olwategekeddwa yunivasite ya UCU nga lwetooloolera ku kutereeza ekifaananyi ky’amaka.

Lwetabiddwaamu bannaddiini naddala abali ku musingi gw’Obukristaayo mu Uganda yonna, ebibiina by’obwannakyewa, ebitongole bya gavumenti, abantu bassekinnoomu n’abakulembeze b’ennono.

 p sebaggala owe ukonoku kkono p athan himbisibwe owa outh nkole inisita anet useveni omumyuka wa cansala wa  ohn senyonyi ne avid ugawe owa  inisita ataha yabadde aggulawo olukungaana lwamaka Bp. Ssebaggala ow’e Mukono(ku kkono), Bp. Nathan Ahimbisibwe owa South Ankole, Minisita Janet Museveni, omumyuka wa cansala wa UCU, John Ssenyonyi ne David Mugawe owa UCU. Minisita Kataha yabadde aggulawo olukung’aana lw’amaka.

Muky. Museveni yagambye nti Uganda etaddewo amateeka mangi ag’okuluhhamya enzirukanya y’amaka omuli etteeka erya gavumenti ez’ebitundu, etteeka erirung'amya obutabanguko mu maka, etteeka erikugira okukecula abakyala mu mbugo, etteeka ly’abaana, abakadde n’abaliko obulemu n’amalala mangi.

Wabula yategeezezza nti amateeka gokka tegalina kya maanyi kye gayinza kukola okuleka ng’abantu ab’ebibiina eby’enjawulo bakwatidde wamu okulaba ng’omusingi gw’amaka guddayo ku musingi omutuufu.

Omwogezi omukulu, Dr. Rev. Sam Luboga yakuutidde abazadde okufaayo ennyo eri abaana baabwe n’okubafissizaawo obudde babeereko nabo awaka, bazannyeko nabo n’okwewala okweyisa mu mpisa ebeesittaza nga bwe guli ensangi zino.

Dr. Luboga yagambye nti ssinga omwana asobya, kya buntu era kyetaagisa omuzadde okumukangavvula wabula n’omukwano so si na busungu.

 inisita anet useveni ngaggulawo olukungaana ku maka e ukono ku  ku mande Minisita Janet Museveni ng’aggulawo olukungaana ku maka e Mukono ku UCU ku Mmande.

Era yategeezezza nti olw’okuba abazadde ku mulembe guno tebafuddeeyo kuyigiriza baana kukola, kino kye kiviiriddeko obumenyi bw’amateeka mu bavubuka okweyongera.

Ate omutaka Wilson Ssentoogo yagambye nti gavumenti nayo evunaanyizibwa kyenkanyi ku kugwa kw’amaka mu mulembe guno olw’ensonga nti etinkiza nnyo n’eddembe ly’abaana ne batuuka okukula nga bisassalala abatalina makulu mu nsi.

Ne ssenga Joyce Naluggya, asabye gavumenti okwongera amaanyi mu kusitula obuwangwa bw’abantu n’obulombolombo by’agambye nti byali mpangi za maanyi mu kukuuma omulamwa gw’amaka n’okukuza obulungi abaana mu myaka egyayita.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.