TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye gakutte abawamba abantu abawamba abawala ne babatta

Amagye gakutte abawamba abantu abawamba abawala ne babatta

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2018

OKUZUULA omulambo gw’omuwala Rose Nakisekka eyawambibwa kyaddiridde amagye okukozesa tekinologiya ow’awaggulu ne gazingiza ppaaka ya takisi mu Kampala ne bakwata abasajja abawamba abawala nga basinziira mu kifo kino.

Kwa 703x422

Fred Kasagga kitaawe wa Nakisekka ng’anonye omulambo gwa muwala we.

Bwe baakutte abasajja bano, baboogezza engeri gye bawambamu abawala nga bayita mu poaaka ng’abana ku bawala be baawamba baabattira Nalumunye.

Amagye bwe gaagenze e Nalumunye okuggyayo omulambo gw’omuwala omu, gye baasanze n’ogwa Nakisekka nga musibe mu kiveera.

Nakisekka yali ayita ku ppaaka enkadde, ab’akabinja kano ne bamuwamba ne basooka bamukuumira mu kimu ku bizimbe ebiri ku ppaaka olwo ne bakubira bazadde be ab’e Masaka essimu ne basaba ssente nga balabula nti, singa tebaweebwa nsimbi baali Nakisekka bagenda kumutta.

Abatemu bano bakolera ku ppaaka enkadde ne Namayuba era wombi balinako ekizimbe kwe bakolera mwe basinziira okuwamba abawala oluvannyuma ne babatwala gye babattira ne basuula emirambo.

Abasajja bano akabinja abawamba abantu kigambibwa nti mulimu n’abaserikale era omu ku bali emabega w’okuyigga abatemu bano, Gen. Elly Tumwine yategeezezza bannamawulire nti, waliwo abaserikale be balondoola abakolagana n’akabinja kano.

Okukwata abasajja bano baasoose kukwata paasita Ronald Wambazu owa House of God’s Fire ministries , eyasemba okubeera n’owala eyali omuyizi wa YWCA , Edrina Nalule eyattibwa omulambo gwe ne gusuulibwa mu Kabaawo zooni e Mutundwe.

Mu kwaza amaka ga Wambuzu, yasangiddwa n’essimu erabika nti yabadde tatera kugikozesa kyokka ng’erimu ennamba z’amasimu ezirabika nti zakyama. Bwe zaakebeddwa, ne basanga mu ey’omusajja omusamizi eyeeyita Jjajja Dumba kyoklka nga amannya ge amatuufu ye Ibrahim Ssekisamba ng’alina essabo e Namasuba mu Kikajjo.

Amagye gaazinzeeko essabo lino era ne gakwata omusamize ono eyalumirizza paasita Wambazu nti ye yabatuma okuwamba Nalule bamutte oluvannyuma ne bamusalako ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Omusamize Ssekisamba era yalumirizza nti bwe baamala okutta Nalule, baakubira paasita Wambazu eyajja okukakasa oba ddala omuntu gwe basse ye mutuufu era bwe yajja, yakakasa nti gwe yabadde ayagala batte ye mutuufu yennyini.

Okutwaliza awamu baakakwata abantu abasukka mu 10 ku ttemu lino era oluvannyuma abatemu bano baatutte amagye mu bifo eby’enjawulo gye babaddenga basuula emirambo, okuli , Nalumunye, Makindye ne Mutundwe.

POLIISI EYAZIZZA ESSABOLYA DDUMBA

Eggulo, poliisi y’e Katwe ng’ekulembeddwaamu Godwin Tumuhimbise akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Kampala South nga bali wamu n’amagye, bazzizzaayo abasibe ku ssabo lya Ddumba okubalaga engeri gye babadde basuulamu emirambo.

Ogumu ku mirambo gy’abawala, gwasangibwa okuliraana essabo lya Ddumba wabula yategeeza nti, yawulira mmotoka teyamanya kye yali eyagala naye yeekanga okulaba omulambo gw’omuntu okuliraana ewuwe.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire, yakakasizza okukwatibwa kwa Ssekisambu era baliko n’ebifo ebirala gye balina okubatwala okwongera okufuna obujulizi nga n’abantu abalala abawerako baakukwatibwa.

NAKISEKKA BAMUKWASIZZA ABAZADDE

Rose Nakisekka omulambo gwe gwakebeddwa akulira abasawo ba poliisi, Dr. Moses Byaruhanga ne kikakasibwa nti y’oyo yennyini era abazadde ne baweebwa omulambo guno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnasale 220x290

Omusomesa wa King Fahad asobezza...

POLIISI ekutte omusomesa w’essomero lya King Fahad Islamic Primary School e Nateete nga kigambibwa nti yasobezza...

Kwiini 220x290

Nnabe agudde mu Bwakabaka bwa Bungereza:...

NNABE agudde mu bwakabaka obusinga amaanyi mu nsi yonna, Kkwiini wa Bungereza bw’awummuzza mutabani we ow’ekyejo...

Kola 220x290

Museveni awabudde ku bakukusa ebyamaguzi...

PULEZIDENTI Museveni awabudde ebitongole by’omusolo ku lukalu lwa Africa ku byamaguzi ebikukusibwa. Abiwadde amagezi...

Genda 220x290

King Micheal ne Big Eye bagudde...

King Micheal ne Big Eye bagudde mu bintu. Pulezidenti Museveni abawadde buli omu ente 30.

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.