TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi bamututte mu loogi emisana ttuku ne bamutta

Omukazi bamututte mu loogi emisana ttuku ne bamutta

By SHAMIM NABUNNYA

Added 24th May 2018

ABAWAMBA abantu n’okubatta batandise okutwala abantu mu loogi mu ngeri y’okwesanyusaamu ne baleka nga babasse.

Sha 703x422

Poliisi ng’etwala omulambo gw’omukazi eyattiddwa mu loogi .

Abatuuze b’e Kibuye okumpi ne kkanisa ya Prayer Palace mu Kampala baaguddemu ekyekango oluvannyuma lw’omusajja ataategeerekese mannya okuyingiza omukazi mu loogi n’amusogga ekiso mu bulago n’amuleka ng’amusse.

Zaabadde ssaawa 4:00 ez’oku makya eggulo omusajja ataategeerekese mannya n’atuuka ku loogi ya Land Inn Guest House ng’ali n’omukazi ne basaba akasenge okwesanyusaamu.

Issa Ahimbisibwe, nnannyini loogi yagambye nti oluvannyuma lw’okubasasula 10,000/- eza kasenge bakasitooma baayingidde akasenge.

Kyokka oluvannyuma lw’eddaakiika nga 30, omusajja yafulumye n’abategeeza nti agenze kugula mmere. Kyokka bwe zaaweze essaawa 7:00 nga balaba takomawo baasazeewo okugenda okutegeeza omukazi eyabadde asigadde mu kasenge ng’obudde bwabwe bwe bwabadde buweddeko.

“Twekanze okutuuka ku luggi nga kusibiddwaako kkufulu, gye tutamanyi gye yavudde. Twayise omukazi ali munda nga tayitaba ne tusalawo okumenya eddirisa era amaaso gaggukidde ku mulambo gw’omukazi nga gugahhalamye mu kitaba ky’omusaayi” Ahimbisibwe bwe yategeezezza.

Baagenze okutuuka ku mukazi nga yafudde dda nga n’omulambo gwambuddwa engoye zonna era nga kitebeerezebwa okuba ng’omutemu yasoose kumukozesa.

Omulambo gwabadde mu mujoozi gwa Manchester United ate sikaati yabadde eteekeddwa ku mabbali. Engatto z’omugenzi omutemu yagenze nazo awamu n’ensawo y’omu ngalo gye yabadde nayo.

Omutemu okumanya nga yabadde yeetegese bulungi, yatambudde ne kkufulu gye yasibye ku luggi lwa loogi ng’amaze okufumita omukazi ekiso.

Fred Eriku, akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Katwe yavumiridde ekikolwa ekyakoleddwa n’asaba abantu okudda eri Katonda.

Yasabye abantu ababeera babuliddwaako omuntu waabwe okuva eggulo okugenda ku poliisi e Katwe okumanya ebisingawo.

Ahimbisibwe nnannyini loogi n’abakozi be bana abaasangiddwa mu kifo ettemu we lyakoleddwa baakwatiddwa ne baggalirwa basobole okuyambako mu kubuuliriza.

Omulambo gw’omukazi oluvannyuma gwaggyiddwaawo ne gutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okwongera okwekeneenyezebwa.

Poliisi yaguddewo omusango gw’obutemu ku ku fayiro nnamba SD: 69/23/05/2018.

Baasaba abaabuliddwaako owaabwe okugenda ku poliisi si kulwa nga ye yasangiddwa ng’afudde mu loogi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...

Magaya 220x290

Abawala 98 banunuddwa ku babadde...

ABEEBYOKWERINDA banunudde abawala 98 ababadde bakukusibwa okutwalibwa mu nsi za bawalabu okukuba ekyeyo.