TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bagudde ku butambi 16 okuli amaloboozi g'abawamba n'okutta abawala: Butiisa

Bagudde ku butambi 16 okuli amaloboozi g'abawamba n'okutta abawala: Butiisa

By Stuart Yiga

Added 24th May 2018

AMAGYE agali mu kufeffetta abawamba n’okutta abawala, gakutte obutambi 16 okuli amaloboozi g’abatemu.

Uni 703x422

Kasagga (asooka ku kkono) nga bamuyambako okussa omulambo gwa muwala we Nakisekka (ku katono waggulu) mu ambyulensi okuva e Mulago.

AMAGYE agali mu kufeffetta abawamba n’okutta abawala, gakutte obutambi 16 okuli amaloboozi g’abatemu.

Ebyakazuulwa biraga ng’abatemu emirundi egimu bapangisibwa okuwamba n’okutta abawala oba bo bennyini (abatemu) okuwamba omuwala bafune ssente okuva mu famire ye.

Abawala abawambiddwa olw’okufuna ssente, emirundi egimu abatemu tebaba na kigendererwa kya kubatta wabula bafa lwa kutulugunyizibwa, okukubwa kalifoomu omungi oba okubatta olw’okutya nti bajja kulonkoma abatemu oba okuwa abeebyokwerinda amawulire agayinza okubayamba okutuuka ku batemu.

Obumu ku butambi kuliko amaloboozi g’abatta Rose Nakisekka 17, ow’e Masaka eyawambibwa ku Ppaaka ya takisi Enkadde mu Kampala.

Obutambi kuliko amaloboozi wakati w’abatemu, Nakisekka ne bazadde ba Nakisekka.

Omulambo gwasangiddwa Nalumunye mu kiveera nga guvunze, era abatemu baali bamaze okutegeeza famire y’omuwala nti bamusse, omulambo bagutadde mu kiveera omuli akapapula kwe bawandiise amannya n’ebikwata ku Nakisekka.

Baali basuubizza okugusuula mu bikajjo e Kawolo - Lugazi, kyokka ne bakwatibwa nga tebannaguggya Nalumunye mu kimu ku bifo we battira abawala. Nakisekka yaziikiddwa eggulo e Sembabule.

AKATAMBI AKASOOKA

Kaliko amaloboozi Nakisekka lwe yawambibwa ne bakubira kitaawe essimu. Omusajja akozesa essimu ya Nakisekka okukubira kitaawe Fred Kasagga.

Taata wa Nakisekka: Halo, halo…

Omutemu: Mzee. Nakisekka omumanyi? Ffe tumulina wuuno yogera naye…

Nakisekka: Taata ndi n’abasajja. Bampambye. Bakambwe nnyo. Balina ebiso n’ebissi ebirala. Baagala ssente okundeka oba si ekyo bagenda kunzita.

Omutemu: Mzee yanguya okutuwa obukadde 10. Totummalira biseera. Zituwe mu ssaawa mukaaga zokka, bwe ziggwaako tujja kukulaga awali omulambo gwa muwala wo.

Kasagga: Ndi musajja mulimi sirina ssente.

Omutemu: Vva mu by’okusaaga. Omuwala atubuulidde ssente muzirina.

Kasagga: Omuwala alabika ayogedde kwetaasa. Tetuzirina.

Omutemu: Ggwe onoomanya ebinaddirira.

 aasita ambazu ali ku musango gwokuwamba nokutta omuwala alule eyali owe bikko Paasita Wambazu ali ku musango gw'okuwamba n'okutta omuwala Nalule eyali ow'e Mbikko.

AKATAMBI AKOOKUBIRI

Omutemu akuba essimu enkeera: Mzee obudde buggwaayo. Tonyooma mulimu gwaffe. Si ggwe osoose okutusasula ssente. bw’oba ojjukira omuwala eyawambibwa omulambo ne gusuulibwa e Mutundwe? Abavubuka baffe twasooka ne tubawaako obukadde bubiri n’ekitundu.

Oluvannyuma nga bamaze ddiiru, twabongera ssente endala noolwekyo okubasaba ssente tuba tetwejalabya.

MU KATAMBI AKOOKUSATU

Kasagga yatya n’asalawo ne famire ne bafuna Hassan Mwanda, okwogerezeganya n’abatemu ku ssimu. Yasooka kutya ng’alowooza nti abeebyokwerinda bayinza okumukwata naye ne bamussa mu musango. Kyokka oluvannyuma yaguma.

Omutemu: Halo, halo?

Hassan: Ffe be musaba ssente tuli baavu. Tetulina gye tuggya bukadde 10.

Omutemu: Totubuulira mandaazi. Muwala wo si gwe tusoose okuwamba, ndowooza oli mupya mu Uganda, tokimanyi nti n’okutta tutta. Olabika towuliranga ku muwala gwe basse. Olabika tolina ttivvi, wadde leediyo ebigenda mu maaso tobimanyi.
Ogira ova ku ssimu, tulina omulimu omulala. Katugumalirize tujja kukuddira. Bannyini muwala ono nabo bavevenga nga ggwe. Tujja kumutta era ojja kumanya. Bwe tunaamutta, owuwo y’addako!
(Ekiro ekyo Agataliiko Nfuufu gaafulumya mawulire nga famire ya Kasagga etuuzizza olukiiko n’okusaba abantu ssente nga zonna bafunye emitwalo 25).
Enkeera abatemu ne bakuba essimu: Halo, halo? Ssebo, amawulire twagalabye ge mwatutte ku Bukedde kituufu muli baavu. Obukadde 10 tubasaliddeko mutuwe butaano.

Hassan: Bassebo, mwongere okusala ku ssente. Tujja kunoonya kakadde kamu. (Hassa yategeezezza Bukedde nti ze baasonze kwagattiddwaako ez’omubaka omukyala akiikirira Kalungu, Aisha Sekidde ne baweza 1,500,000/-. Oluvannyuma lw’abatemu okubawa ennamba y’essimu baazisindise).

Omutemu: Muweereze endala 150,000/- n’eziziggyayo

Hassan: Tubawadde ze tulina.

Omutemu: Kino kiyamba mmwe. Ssente si zaffe. Za kugula kiveera tuzingemu omulambo gwammwe. Twamukubye kalifoomu mungi. Tetwagala kwongera kumala budde. Obudde bwaffe mubwonoonye nga mututeganya olw’obusente.

KU KATAMBI AKALALA

Omutemu: Mulabika mulowooza owammwe gwe tusookeddeko okutta? Tulina emirimu mingi gye tutambuza ate nga tusooka kugissaamu ssente zaffe mpitirivu. Omuwala gwe twakatta ne tumusuula e Nalukolongo, temwamulaba? Ono ow’e Jinja e Mbiko naye temwategedde byamuguddeko? Mulabika temulina ttivvi. Bombi bafu.
(Hassan yategeezezza Bukedde nti olwo amaanyi ne gabaggwaamu).

CMI EGWA ABATEMU MU BUUFU

Muganzi wa Nakisekka, ayitibwa Nicholas Kawuma 25, ow’e Mukono yakwatiddwa olw’ebigambibwa nti, ye yasooka okukubira taata w’omuwala essimu ng’amutegeeza ku by’okuwambibwa kwa muwala we. Kyokka ne bazuula nga talina musango ne bamuyimbula.

KOJJA W’OMUWALA AKWATIBWA

Nakisekka lwe yawambibwa yali agenda wa kojja we, Gerald Mbidde 22, agambibwa okuba nti yali amuyise okumusisinkana mu kifo ekimu mu Kampala.
Naye n’akwatibwa ne baganda be basatu.

Paasita Ronald Wambazu ow’e Mbiko eyali akwatiddwa ku by’okutta muganzi we Edrina Nalule, eyali omuyizi ku YMCA e Buwambo, yagattibwa ku baali bakwatiddwa okulaba oba balina enkolagana.

Abaakwatiddwa ku by’okutta Nalule baatutte abamagye e Nalumunye we baamuttira.

Wano we baasanze omulambo gwa Nakisekka. Kyazuuliddwa nga kojja wa Nakisekka yali mu lukwe lw’okuwamba omwana wa mwannyina!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...