TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mbega wa ISO kata bimubugume ne bawannyondo ba kkooti

Mbega wa ISO kata bimubugume ne bawannyondo ba kkooti

By Henry Nsubuga

Added 25th May 2018

MBEGA w’ekitongole kya ISO atwala disitulikiti okuli Mukono, Buikwe, Kayunga ne Buvuma, Maj. Moses Ssegujja yasimattuse okugajambulwa bawannyondo ba kkooti olw’okugezaako okubeekiikamu nga bateeka mu nkola ekiragiro kya kkooti.

Whatsappimage20180524at21944pm 703x422

Maj. Ssegujja (ku ddyo) nga yeenyoola n’omu ku bawannyondo ba kkooti.

Byabaddewo ku Lwakusatu ku ssaawa nga 6:00 ez’omu ttuntu oluvannyuma lw’abatuuze okuyita Maj. Ssegujja ne RDC w’e Mukono, Haji Nasser Munuro babataase ku bawannyondo ba kkooti aba Internile Auctioneers and Property Managers abaabadde basuula ebintu bya munnaabwe, Patrick Okia Madi wabweru.

Maj. Ssegujja ne RDC Munuro we baatuukidde ku kyalo Nabuti ekisangibwa mu Munisipaali y’e Mukono bino we byabadde ng’ebintu bimaze okusuulibwa wabweru nga ne poliisi eyabadde eduumirwa DPC, Henry Abaho evuddewo olwo ne balagira bawannyondo okuzzaayo ebintu wabula ne beerema.

Bano baayambalidde Maj. Ssegujja oluvannyuma lw’okugamba Geoffrey Kasisi eyakuliddemu bawannyondo okutuula wansi ne yeerema ekyavuddemu kwe kutandika okwesika ebitogi ng’omuserikale eyabadde akuuma RDC ye yabataawuluzza.

Ssentebe w’ekyalo kino, Romano Valentino yagambye nti, ye bwe yalabye DPC Abaho ne bawannyondo ba kkooti ate ng’abadde akimanyi nti Okiya ennyumba ye azze agitundanga mu bantu ab’enjawulo n’amanya nti kye baabaddeko kyabadde kituufu n’akkiriza n’okuteeka omukono ku mpapula ezaabadde ziragira okukasuka Okia ebweru.

Vasco Kura yeekubira enduulu mu kkooti e Mukono olwa Okiya okumuguza ennyumba ku bukadde 90 kyokka n’agaana okuva mu maka ng’era wano omulamuzi we yasinziira n’alagira bawannyondo ba kkooti bamukasukire ebintu bye ebweru, Kura akwasibwe ennyumba mu butongole.

Kyokka baabadde bakyali awo, ate ne zireeta Livingstone Nsenga eyagambye nti naye Okia yamuguzizza ennyumba y’emu ku Lwomukaaga oluwedde ku bukadde 65 ze baamuweeredde mu bbanka.

“Twantandise okumunoonya n’okugenda mu bbanka ne tusanga nga ssente yazikyusizza n’azizza ku akawunti z’abaana be,” Nsenga bwe yannyonnyodde. RDC Munuro yanenyezza DPC w’e Mukono, Abaho olw’okubayita emmanju n’agenda okuwa obukuumi bawannyondo ba kkooti nga tamutegeezezza ne DISO.

“Mmanze okutegeeza bakama ba DPC Abaho ku nneeyisa ye era bbo bajja kumukangavvula,” Munuro bwe yagambye.

Maj. Ssegujja yagambye nti yabadde awakanya engeri ekiragiro kya kkooti kino gye kyabadde kiyisiddwaamu nga tekituusiddwa mu ofi isi zaabwe ng’abatwala ebyokwerinda.

Wabula oluvannyuma RDC Munuro yalese bamwannyondo ba kkooti ne basiba ennyumba n’ekikomera n’ategeeza nga bw’agenda okulaba ng’omusobya ku mbeera eyo akolebwako.

alt=''
 
 
 kia Okia

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amomentwithteachergracenampiimaeditortotomagazinewebuse 220x290

Ensonga 5 lwaki omwanawo olina...

Abakugu bakulaga ensonga lwaki osaanye okusasulira omwana wo okugenda okulambula

Passionfruitpannacotta800800webuse 220x290

Ebivaako omwana okuziyira

Genderera omwana wo okutangira okuziyira okusobola okutangirwa

4webuse 220x290

Omuwendo gw’abantu abakozesa kondomu...

Bannayuganda bakubiriziddwa okwettanira okukozesa kondomu bwe tunaaba baakumalawo siriimu ng'omwaka 2030 tegunnatuuka...

Unity 220x290

Akwatibwa ng'awa abaana abataayaayiza...

EBYOKUSAAGA bikomye: Minisita w’ensonga z’abaana Florence Nakiwala Kiyingi ategezezza nti omuntu yenna anaakwatibwa...

Unique 220x290

Etteeka ku bamansa kasasiro lijja...

MINISITA avunaanyizibwa ku guno na guli Mary Karooro ategeezezza nti gavumenti egenda kuleeta erobonera abamala...