TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuvubuka eyataasizza omwana okufa alidde! Pulezidenti amuwadde obutuuze n’omulimu

Omuvubuka eyataasizza omwana okufa alidde! Pulezidenti amuwadde obutuuze n’omulimu

By Musasi wa Bukedde

Added 30th May 2018

OMUFIRIKA akoze eby’amagero e Bufalansa Abazungu ne batya. Awonyezza omwana ow’emyaka ena okuwanuka ku kalina eyookuna okugwa afe.

Poto 703x422

Abantu babadde bakyamwebaza n’okumutenda okuba n’omutima ogwa zzaabu, Pulezidenti n’amutumya mu maka ge era w’osomera bino ng’agudde mu bintu ng’enjogera y’ennaku zino bweri.

Omwana ono bazadde be baamulese awaka n’atambula n’agenda ku lubalaza luyite ‘Balcon’ ya kalina eyookuna ku kizimbe waggulu n’aleebeetera eyo.

Abayise baamulengedde nga yeekutte ku kisenge ky’akabalaza alengejja n’okukaaba ng’abulako katono okuwanukayo ffuuti nga 40 agwe wansi abetenteke afe.

Buli muyise yasobeddwa, akalippagano k’ebidduka ne kakwata kyokka nga n’emmotoka za poliisi ze baayise wadde zaabadde ku misinde gya yiriyiri nga tezisobola kumusanga ng’akyalina amaanyi ageewanirira.

Obunkenke bwasusse era embeera eyabaddewo ng’eringa eyali mu fi rimu ya ‘‘The Woman in Red’’ eyazannyibwa mu Amerika mu 1984.

Omuzannyi Gene Wilder eyazannya ng’omusiguze bwe yakwana omukazi wabula baba bali mu kisenge ekyali mu kalina waggulu, bba wa Kelly LeBrock n’akonkona ekyawaliriza omusiguze okuyita mu ddirisa n’alengejjera ku kabalaza ka kalina abantu ne balaba ebyafaayo ng’omusajja alinga ayagala okwetta ne bayita poliisi eyamusangawo n’emwogeza.

Mu bazungu bonna abaabadde bakung’anidde wansi ku kalina ng’omwana alengejja, tewaabaddewo n’omu asobola kuyiiya okuggyako Omufi rika ate Abazungu abamu gwe baabadde bajerega okubeera kaddugala, enkima bwe yabalaze ku kitone ekyasusse n’obuzira bwe yawalampye ekisenge ng’akirako enkima ewalampa omuti okutali matabi. Ate abaabadde wansi beeyongedde obunkenke nga balowooza nti naye asobola okuwanukayo ne yeerindiggula ennume y’ekigwo.

Mu bwangu obw’ekitalo yabadde atuuse ku mwana n’amununula wakati mu nduulu n’okwewuunya bw’alinnyeyo ate abamu ne bakakasa nti Abafi rika bandiba enkima eza ddala ezaakulira mu miti!

Oyo ye muvubuka Mamoudou Gassama, 22, enzaalwa y’e Mali gye yava okugenda e Bufalansa ayiiye obulamu wabula bukya atuukayo abadde mu dduka dduka olw’obutaba na biwandiiko okutuusa ku Lwomukaaga lwe yakoze eky’amagero.

Okutuuka e Bufalansa, Gassama yatambulira ku kalogoyi ne banne abaasala eriyanja lya Mediterranean ku bwato obukutte mu mbinabina bwe babusimattuka.

Kyokka baali banaatera okutuuka ku nsalo y’e Bulaaya ne babubuukako ne bawuga baleme kuyoolebwa kubanga amaato ge baaliko nga poliisi egalengera. Gassama mu Bufalansa abadde abeerayo mu bumenyi bw’amateeka nga buli kalimu k’akola akakolera mu mannya ga muntu mulala nga kw’agasse okumagamaga poliisi ereme kumuyoola.

W’osomera bino e Bufalansa yafuuse kyabulambuzi nga n’erinnya baamuwadde lya French ‘Spider-Man’ ekitegeeza omuntu azannyazannya ebintu ng’atambula nga nnabbubi nga n’enkolaye yewuunyisa nga bw’olaba fi rimu z’abaana eza Spiderman.

PULEZIDENTI AMUWADDE OBUTUUZE

Pulezidenti wa Bufalansa, Emmanuel Macron yacamuse n’amuwa obutuuze bwa Bufalansa n’omulimu.

Essaawa eno y’omu ku banene mu poliisi ezikiriza omuliro n’ebigwa tebiraze ebirala olw’okukola omulimu gwa poliisi nga talina kintu kye yeeyambisa n’asinga poliisi eyabadde tennatuuka mu kifo.

 assama ngasisinkanye ulezidenti wa ufalansa amunnyonnyola engeri gye yanunuddemu omwana Gassama ng’asisinkanye Pulezidenti wa Bufalansa amunnyonnyola engeri gye yanunuddemu omwana.

Omuvubuka ono yalinnye yeekwata ku kisenge ekikalu mu ngeri ey’ebyafaayo ng’obunkenke bujjudde abantu abaabadde ku luguudo nga n’emmotoka zonna zeesibye abasaabaze bavudde ku ng’endo zaabwe balabe omwana bw’afa oba bw’awona era tewaabaddewo n’omu akuba hhombe nga bwe kitera okubeera nga waliwo abasibye ekkubo mu bukyamu.

Waabaddewo ab’omuliraana abaagezezzaako okuwonya omwana ono kyokka nga waliwo akatimba akagumu akaabadde kaawula ennyumba ekyabalemesezza okumutuukako.

Gassama yalinnye ekisenge ng’oyinza okumuyita omufuusa n’atuuka ku mwana ng’akaaba nnyo, ng’akankana olw’emikono okumufuuyirira nga n’obugalo bwe yeekwasizza ku kabalaza bulungudde.

Bwe yamununudde, enduulu n’evuga ng’abantu balinga abalaba firimu. Akatambi kano ak’ebyafaayo kaakwatiddwa abaabaddewo era katunda nga keeki eyokya mu nsi yonna. Bino byabaddewo ku Lwomukaaga akawungeezi.

Poliisi yalumbye amaka gano n’ekwata taata w’omwana ono ng’emulanga okulagajjalira omwana.

Taata w’omwana yagambye nti, yalese omwana awaka awataabadde muntu mulala n’addukako katono ku dduuka wabula ne yeekanga ng’aluddeyo ky’ataasuubidde.

Oluvannyuma yakkiriza nti yayiseeko ne mu mizannyo gya beetingi egyamulwisizza. Okusinziira ku mawulire g’e Bufalansa aga Le Parisien, Pulezidenti Emmanuel Macron yayise nkubakyeyo ono.

Yamuyise muzira wa ggwanga n’omudaali gwe agulinze ssinga baabadde bagigaba nga bwe kibeera mu Uganda ku lw’abazira wabula ku bye baamuwadde kwabaddeko ne satifikeeti y’okusiima omuntu akola egy’obwannakyewa.

Pulezidenti yakozesezza ebigambo ‘Bravo,’ ebikozesebwa ku muwanguzi n’abakoze ebisukkulumye.

Gassama yategeezezza nti si mukugu mu bye yabadde akola n’agamba nti wadde abantu bangi abaamulabye entunulaye eraga omuntu aludde mu kukakaalukana nga n’engalo zikoze emirimu emingi, ekyo yakikoze kubanga omwana ono yabadde muto gwe yalabye ng’ali mu kaseera kazibu nga yeetaaga okuyambibwa.

Obutuuze bwa Gassama bwajjidde mu kaseera nga Bufalansa eri mu katuubagiro kakuyisa tteeka eryongera okumyumyula abagwira abagendayo nga n’ababaka bongera kukalubya mbeera eri abo abasaba obubudamo ne bankubakyeyo abaagala okubeerayo mu ngeri ez’enjawulo.

Ebimu ku bizibu ebiri mu tteeka lino kwe kukubisaamu emirundi ebiri, ebbanga omuntu eyayingira Bufalansa mu bukyamu ly’abadde asibwa.

Pulezidenti wa Bufalansa Emmanuel y’omu ku babadde bawakanya okumyumyula ennyo nnatti era abasinga balowooza nti n’obutuuze bwe yawadde Gassama, yakikoze ng’akabonero eri ababaka nti basaana okwaniriza abantu bonna mu nsi yaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte Bobi Wine e Ntebe okumuleeta e Kampala. Eby’afande Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.