TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti erinnye eggere mu kusaba kwa Bbanka Enkulu okuweebwa obuwumbi 500

Palamenti erinnye eggere mu kusaba kwa Bbanka Enkulu okuweebwa obuwumbi 500

By Musasi wa Bukedde

Added 4th June 2018

PALAMENTI erinnye eggere mu kusaba kwa Bbanka Enkulu okuweebwa obuwumbi 500 okuva mu gavumenti okukola ku bizibu by’ensimbi by’etubiddemu mu kiseera kino.

Bankofuganda 703x422

Bbanka enkulu nga mu kiseera kino eri mu kubuulirizibwako omubazi omukulu ow’ebitabo bya gavumenti, Auditor general (AG) ku ngeri gye yakwatako eby’obugagga bya Bbanka ez’enjawulo ezizze ziggalwawo, etubidde mu bizibu bya ssente obuwumbi 474 ze yafiiriziddwa mu nzirukanya ey’emirimu gyayo nga kati yeetaaga obuwumbi 505 okuva mu gavumenti esobole okweteereza.

Kyokka ababaka abatuula ku kakiiko ka Palamenti aka Bajeti bwe baabadde bateesa ku bajeti empya eya 2018/19 baasimbidde ekkuli enteekateeka eya gavumenti okuwa Bbanka Enkulu obuwumbi 504 nga baagala gavana Tumusiime Mutebile asooke annyonnyole engeri Bbanka Enkulu gye yafiirizibwa ssente obuwumbi 474.

Omuwanika w’eggwanga, Keith Muhakanizi mu bbaluwa ye eya May 24, 2018 eri Palamenti, yannyonnyodde ku bizibu by’ensimbi Bbanka Enkulu by’etubiddemu nga yeetaaga obuwumbi 504 mu bwangu kyokka ababaka baawakanyizza enteekateeka eno.

Gye buvuddeko Sipiika Rebecca Kadaga yawadde olukusa omubazi omukulu ow’ebitabo bya gavumenti okukola okubuuliriza okujjuvu ku Bbanka Enkulu ku bw’ekuttemu ebyobugagga bya bbanka ezizze ziggalwa okuli; Greenland Bank, International Credit Bank, Cooperative Bank, National Bank of Commerce, Global Trust Bank, Crane Bank n’endala.

Omumyuka wa Sipiika Jacob Oulanyah eyabadde asoose okuwakanya eby’okunoonyereza ku Bbanka Enkulu yategeezezza nti akkaanya n’ekiragiro kya Kadaga ku kubuuliriza ku Bbanka Enkulu n’annyonnyola mu lutuula lwa palamenti wiiki ewedde nti ye yasooka okukkiriza ekiteeso ku kubuuliriza ku Bbanka Enkulu okwanjibwa wabula yali afunye ebbaluwa okuva mu bannamateeka nti ensonga ziri mu kkooti kyokka kati akkaanya n’ekyasaliddwaawo Kadaga.

Ababaka baagala nga lipoota ey’omubazi w’ebitabo bya gavumenti omukulu John Muwanga ewedde ku ngeri bbanka enkulu gye yaggalawo bbanka ez’enjawulo, n’akakiiko ka palamenti akalondoola enzirukanya y’ebitongole bya gavumenti nako kasinziire kuno okubuuliriza n’okuzuula amazima ku ngeri bbanka ezo gye zaggalwawo.

Wabula Bbanka Enkulu bawakanya okubuulirizibwa kwonna okukolebwa ku nsonga eno nga bagamba nti kutyoboola ebigenda mu maaso mu kkooti kubanga waliwo emisango ku zimu ku bbanka eziggalwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kalendeweds1 220x290

Obunkenke e Namirembe nga Reverand...

Abooluganda n’emikwano gya bagole ababadde mu lutikko baasirikiridde buli omu nga bwatunuulira munne okutuusa Rev....

Saba 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Nakalembe1 220x290

‘Muggya wange apangisizza abasajja...

AMALOBOOZI g’enkoko ezikookolima ge gaamuyambye okwewalula okuva mu kibira kya Mabira wakati okutuuka ku bantu...

Sebulime1 220x290

Famire ya Ssebulime ekukkuluma...

FAMIRE y’omugenzi Ronald Ssebulime eyakubwa poliisi amasasi ng’ateeberezebwa okuba mu lukwe lw’okwagala okutta...

War1 220x290

Tekinologiya wa Iran asannyalazza...

TRUMP yabadde takisuubira nti Iran erina tekinologiya asobola okusannyalaza ennyonyi za America! Kyamukubye wala...