TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Tugenda kweyambisa obukodyo obw'ekikessi okukwata abatemula Bannayuganda

Tugenda kweyambisa obukodyo obw'ekikessi okukwata abatemula Bannayuganda

By Muwanga Kakooza

Added 6th June 2018

PULEZIDENTI Museveni agambye nti gavumenti tegenda kussa loodi bulooka mu bibuga kuyigga abatemu n’abawamba abantu wabula egenda kweyambisa bukodyo bulala ng’okunyweza eby’obukessi okuyigga abantu b'ageraageranyizza ku ‘nvunza’ abatigomya Bannayuganda.

Sna24 703x422

Pulezidenti Museveni ng'ayogera eri eggwanga. Abadde ku Serena Hotel mu Kampala. EKIF: STEVEN MUSOKE

Museveni era ategeezezza nti okutemulwa kw’omugenzi Felix Kaweesi , Maj. Kiggundu, Joan Kagezi n’abalala kwekuuusa ku bayeekera ba ADF  ng’ate eby’okuwamba n’okutta abakazi bikwatagana na bamenyi b’amateeka abalala gavumenti b’egenda okulwanyisa ebalinnye ku nfeete.

Bino bibadde mu kwogera kwe okutongole eri eggwanga okubaawo mu kuggulawo omwaka ogwa Palamenti okumanyiddwa nga ‘State of the nation address’ okubadde ku Serena Hotel mu Kampala.

'’ Tetugenda kuzza loodi bulooka mu kibuga. Tugenda kweyambisa bukodyo bulala ng’okunyweza ebitongole ebikessi okulwanyisa obutujju bw’omu bibuga obubaluseewo’’, Museveni bw'akkaatirizza.

Alangiridde n’omupoliisi Stephen Twinomugisha eyakwata omutemu w’ebijambiya eyali atigomya Masaka, Kiddawalime, bw’alinyisiddwa eddaala.

Museveni era atabukidde abakulembeze okuli n’ababaka ba Palamenti n’abalabula okukomya okuzannya eby’obufuzi by’obwannakigwanyizi ng’okutuula n’abatamiivu nga bagenderera okufuna obuganzi mu bantu n’agamba nti kino akigeraageranya ku bumenyi bw’amateeka.

Agambye nti abakulembeze balina okubuulira abantu amazima basobole okwekulaakulanya.

Akunze abantu okukola b’eggye mu bwavu mu kifo ky’okuleranga engalo n’okugenda mu banaddiini okusaba nga balindirira okugaggawala kw’okuyita mu by’amagero.

Ategeezezza nti ebimu ku bitundu bya Uganda nga Kalangala n’e Kiruhura bikuze ng’abantu tebakyakozesa ne munaku tadooba.

N'agamba nti gavumenti okussa essira ku kukola enguudo n’okubunyisa amasannyalaze kisitudde ebyenfuna by’eggwanga.

Museveni akunze abantu okwenyigira mu by’obulimi n’emirimu emirala ng’obukolero n’abasuubiza nti gavumenti egenda kubafunira ssente z’okubawola ku magoba amatono ng’eyita mu bbanka ya Uganda Development Bank wamu n’ebibiina bya SACCO.

Akunze abantu okukomya omuze gw’okukutula mu ttaka n’okuligaana nga bannyinimu bafudde n’agamba nti kijja kubakuba obwavu. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda