TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Mutabaazi alemesezza abapoliisi okuyimbula abaakwatiddwa n'ennyama y'ensolo y'omu nsiko

Mutabaazi alemesezza abapoliisi okuyimbula abaakwatiddwa n'ennyama y'ensolo y'omu nsiko

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2018

SSENTEBE wa disitulikiti y'e Lwengo George Mutabaazi alemesezza Poliisi y'e Lwengo okuyimbula ababbi abaakwatiddwa n'ennyama y'ensolo z'omu nsiko gye basse mu kkuumiro ly'ebisolo erya Mburo National park.

Sentebewadisitulikitigeorgemutabaazikukkonongakunyaababbiabasangiddwanenyamayensolozomukuumiroeryamburonationalparkemabegayemmotokamwebabaddebagitambuliriza 703x422

Ssentebe Mutabaazi ng'akunya abamu ku baakwatiddwa n'ennyama

Bya FLORENCE TUMUPENDE

Abakwatiddwa kuliko; Joseph Mugerwa (40), Abuduh Nyanzi (48), Ben Sseremba (38) ne Ronald Nadduli (35) ng'abatuuze mu bitundu okuli Lyantonde ne Mbarara.     

Okukwatibwa kidiridde mmotoka ya buyonjo nnamba UAM 432X gye baludde nga bakozesa okutambulizaamu ennyama eno okwabika omupiira ng'etuuse mu kabuga k'embiriizi n'erondoolwa omuvubuka Mustapher Nnyindo eyalabye omusaayi ogugivaamu mu bbuutu n'atemya ku mikwano gye ne bakwata abasajja bano kyokka ddereeva waayo n'amalamu omusulo.   

Ekaggye Mutabaazi enviiri ku mutwe kwe kuba nti abakwate baamaze olunaku lulamba mu kaduukulu ka Poliisi naye abaserikale babadde tebannawandiika mannya gaabwe mu kitabo ky'abazzizza emisango.

 bakwate nennyama yensolo yomu nsiko Abakwate n'ennyama y'ensolo y'omu nsiko

Mutabaazi abakunyiza ne bamutegeeza nga bwe baabadde bamaze okukkaanya n'abasirikale babawe obukadde bubiri n'ekitundu bayimbulwe kyokka abaserikale ne beegaana nga bagamba ababbi babasibako matu ga mbuzi kubaliisa ngo!   

Bwe babuuziddwa ennyama gye babadde bagitwala tebavuddemu kigambo bw'atyo Mutabaazi n'alagira poliisi ebaggalire nga bw'ewenja ddereeva amayitire ga ddereeva wa mmotoka mwe baabadde batambuliza ennyama.     

Omwogezi wa  Mburo National park, Symplicias Egesa ategeezezza nga ennyama eyattiddwa ya nsolo eyitibwa Entamu ng'eno yeefananyiriza Engabi eyakula n'ewola. Yabadde ezitowa kkiro 300.     

Egesa avumiridde abantu abatta ensolo zino nga be bavuddeko okufiiriza ebyenfuna by'eggwanga nga mw'otwalidde n'eby'obulambuzi .

Ye sentebe Mutabaazi yennyamidde olw'abakwate abaswazizza ekitundu kye kyokka nga si nzalwa za kitundu, n'asaba abatuuze okukola ku bantu nga bano okusinga okukooya poliisi ejjudemu obulyake.   

 ntama nga bwefaanana solo ya mu nsiko Entama nga bw'efaanana. Nsolo ya mu nsiko

 

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja