TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Poliisi yeezoobye n'aba takisi ng'ebasengula mu Lubigi

Poliisi yeezoobye n'aba takisi ng'ebasengula mu Lubigi

By Joseph Mutebi

Added 7th June 2018

POLIISI egumbulula obujagalalo yeenyodde ne baddereeva ne bakondakita ba takisi abakulemberwa ssentebe waabwe, James Bunya bwe baabadde bagezaako okulemesa okubasengulawo.

Lubigginamungoonabyjmutebi000 703x422

Poliisi ng’ewalabanya ssentebe wa siteegi ya takisi ey’e Namungoona mu Lubigi ,James Bunya eyabadde agezaako okulemesa okusenda ppaaka yaabw

Akanyoolagano kano kaddiridde ab’ekitongole kya NEMA nga baduumirwa kamisona waabwe avunaanyizibwa okulwanirira obutonde bw’ensi, Collin Oloya okutandikawo ekikwekweto ky’okugoba buli muntu eyeesenza mu Lubigi n’omugga Mayanja Kato nga bamenya amayumba gaabwe agaazimbibwamu mu bukyamu, okusaawa ebirime n’okusala emiti ssaako n’okusengula ppaaka za takisi ezibadde zaatandikibwawo mu bukyamu.

Ku Lwokusatu batandikidde Busega era ne balangirira ekikwekweto kino okuyindira ennaku nnya era eggulo (Lwakuna) baabadde mu Lubigi e Namungoona we batuuse ku ssaawa 11:00 nga bukya wabula wano poliisi okwawukana ku Busega ne ppaaka y’e Mityana gye basengudde nga tewali alwanye.

Bo aba siteegi ya Namungoona mu Lubigi nga bakulemberwa Bunya babawadde akadde akazibu.

Bunya agamba nti ekisinga okubaluma waliwo omu ku bayinginiya ba UNRA omukulu ddala abadde aludde ng’abalyako ssente era gye buvuddeko babadde bakeewola obukadde 20, ne babumuwa era nga babumukwasiza ku All Saints e Nakasero gattako buli wiiki akakadde ke babadde bamukwasa ng’akanona ku siteegi.

Yayongeddeko nti kino bakimanyi nti omukulu ono akozesebwa aba ppaaka y’e Nansana abaludde nga bayagala babasengulewo badde mu ppaaka yaabwe ekitagenda kusoboka.

Wabula omwogezi wa UNRA, Allan Kyobe yawakanyizza kalebule asaasaanyizibwa abatakisi n’agamba nti bwe baba balina obukakafu ku kino bagende mu kitongole kino basisinkane akikulira Allen Kagina.

Omuntu gwe bawaayiriza y’akulira polojekiti eno era tayinza kubeera mulalu ate kulemezaawo bantu b’alina okuggyawo, omulimu gugende mu maaso kubanga wano oluguudo lwa Northern By Pass we lugenda okuyisihhanyiza nga bw’olaba e bwaise bwe kiri.

Ye CP/ Simon Okoth amumyuka aduumira poliisi ya NEMA yagambye nti abantu bonna abeesenza mu Lubigi balina okuvaawo era n’abasaba bakomye okubiteekamu katemba n’ebyobufuzi kubanga ne palamenti ssaako kabineti byonna byakkaanyizza baveemu.

Yagambye omulimu guno gwakumala ennaku ntono nnyo era k’ebeere nnyumba ya munene ki nga yagizimba mu Lubigi oba Mayanja baakumuggyamu basobole okutaasa obutonde bw’e nsi .

alt=''

 

Aduumira ebikwekweto bya poliisi ekkakkanya obujagalalo mu Kampala ASP/, Mukiibi yabaddewo okulaba ng’abaserikale tebakubagana n’abantu omulimu gusobole okutambula nga bwe bategese era obwedda takkiriza muserikale akuba muntu yenna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...