TOP

Ettaka okubadde amaka ga Ben Kiwanuka litundibwa

By Hannington Nkalubo

Added 8th June 2018

ETTAKA okubadde amaka ga Ben Kiwanuka agaasendeddwa, ba mane lenda balitadde ku bbiriyoni ssatu baggyemu ezaabwe.

Twala 703x422

Emmotoka y’omugenzi Ben KIwanuka, Loodi meeya Lukwago gye yakwasizza abakuuma ebyafaayo.

Bbulooka w’amayumba n’ettaka, Stuart Nuwagaba eyasangiddwa mu kifo kino ku Lwokubiri yategeezezza nti, eyasenze ebintu byonna gwe yagaanyi okwogera amannya kyokka oluvannyuma n’azuuka nti ye Stephen Mutabingwa nga musuubuzi era akolagana n’abagula ettaka ayagala ssente era azirina agende balimuguze.

Nuwagaba yagambye nti, ssinga tebaabadde ba minisita okuli atwala ensonga z’omunda, Gen. Jeje Odongo n’atwala obulambuzi, Godfrey Kiwanda kugendawo n’amalaalo ga mukyala Kiwanuka ayitibwa Maxencia Zalwango gandibadde tegakyaliwo.

Omutaka avuddeyo ku kyapa Wabula ba bbulooka baabadde bakyanoonya abaguzi ate n’evaayo Omutaka w’omu kitundu, Mathias Kasujja n’ategeeza nti ekyapa ky’ettaka eryo be bakirina era byonna bye boogera nti baalitutte bamaze budde.

Yategeezezza nti ekyapa ky’ettaka eryo kiri mu mannya ga Matayo Kayima eyafa mu 1908 n’asikirwa Rafael Kasule eyali sipiika wa Buganda era omusango guli ku poliisi ya Kampala mukadde ku fayiro SD: 19/26/04/2017.

Yagambye nti omuntu gwe bamanyi ku ttaka eryo ye Benedicto Kiwanuka kati ebyapa ba mane lenda bye balina n’okulowooza nti bayinza okutwala ekifo ekyo eky’ebyafaayo mu lukujjukujju beerimba.

Ate abaserikale okuva ku kitebe kya bambega e Kibuli abavunaanyizibwa ku nkaayana z’ettaka ku Lwokubiri era baatandise okunoonyereza ku ngeri ettaka eryo gye baalisenze era baasiibye bayigga mane lenda abannyonnyole bwe yakikoze.

TUTUNUULIDDE GAVT. - DP

Ate aba DP baagambye nti batunuulidde Gavumenti okulaba bw’ekwatamu ensonga za Kiwanuka eyali katikkiro wa Uganda eyasooka era eyatandikirako enfuga ey’obwenkanya mu ggwanga.

Loodi meeya Erias Lukwago yategeezezza nti akyalinze kulaba Gavumenti ky’ekola era singa esirika ba mane lenda ne bagenda mu maaso n’okukajjalira ku ttaka lino agenda kussaayo omusango mu kkooti afaafaagane nabo.

Yagambye nti, yasoose kutaasa mmotoka Mercedes Benz omugenzi Kiwanuka mwe yali atambulira n’ebiwandiiko bye era mmotoka yagikwasizza abakulembeze b’ekitongole ekikola ku bulambuzi, ekya Uganda Tourism Board ekyakiikiriddwa John Ssempebwa n’etwalibwa mu kifo ky’obulambuzi ekizimbiddwa e Mutundwe ku lusozi ekiyitibwa SSEMAGULU ROYAL MUSEUM ng’egenda kutereezebwa abantu bagirambule.

Lukwago yagambye nti, Ben Kiwanuka wa byafaayo nnyo era yeewuunya abantu nga ba mane lenda abakulembeza ssente mu buli kintu ne beerabira omutima gw’eggwanga n’abantu abaliko ebyafaayo eggwanga kweriyimiridde nga Ben Kiwanuka.

Yagambye nti, “kya nnaku Ben Kiwanuka taliiko wadde entaana kyokka amaka kwe babadde bamulabira nago ba mane lenda bagasenze.

Twagala amaka ago gaddewo era nteekateeka okufaafaagana n’abantu abo singa Gavumenti tekola bintu mu bwangu,” Lukwgo bwe yagambye.

Poliisi eyise mane lenda Eggulo omusika wa Kiwanuka ayitibwa Maurice Kagimu Kiwanuka teyalabiseeko kwogera ne bannamawulire kyokka omuduumizi wa poliisi y’e Kampalamukadde, Charles Nsaba yalagidde ba mane lenda bagende n’eyasenze ettaka ensonga zongerwe okunoonyerezebwako kubanga Gavumenti ebintu yabiyingiddemu butereevu.

Abatuuze mu kitundu baanenyezza eyasenze ettaka eryo nti kye yakoze kibi nnyo kubanga yabadde asobola okutwala ebifo ebirala n’aleka ng’amaka tagakutteeko.

Baasabye Gavumenti eyambe ezzeewo amaka gano

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke