TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukyala wa paasita eyabuze bamusanze yeefumbizza: Eby'okumuwamba kaali 'kabadi' kusuulawo ddya atandike obulamu obuggya

Mukyala wa paasita eyabuze bamusanze yeefumbizza: Eby'okumuwamba kaali 'kabadi' kusuulawo ddya atandike obulamu obuggya

By SHAMIM NABUNNYA

Added 12th June 2018

MUKYALA wa paasita abadde yabula nga kigambibwa nti yawambibwa abatemu abaasaba bba obukadde 50, kizuuliddwa ng’abadde yeewamba ng’alina omusajja gw’alya naye obulamu.

3507124710216136627785505177639804412887040n 703x422

Mariam Nkusuubira mu kiteeteeyi ekya bbulu ng'akwatiddwa Poliisi y'e Katwe gy'akyakuumirwa

MUKYALA wa paasita abadde yabula nga kigambibwa nti yawambibwa abatemu abaasaba bba obukadde 50, kizuuliddwa ng’abadde yeewamba ng’alina omusajja gw’alya naye obulamu.

Mariam Kusubira 46, mukyala wa paasita Shadrack Kusuubira owa Noah’s Ark Holiness, okuwambibwa kwe kwassa abagoberezi n’abatuuze b’e Masajja A mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo ku bunkenke.

Kye bataamanya nti, omukyala ono yali yasalawo okuva mu ddya n’agenda e Kirinnya - Masaka ewa Angel Ssemboze gw’abadde abeera naye.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire yagambye nti, bwe baafuna okubula kw’omukyala ono baatandika okukola okunoonyereza kwabwe nga baafuna essimu y’omukyala ng’alaajanira bba okuwa abaali bamuwambye waakiri obukadde 20, basobole okumuyimbula nga tebannamutuusaako bulabe bwonna.

Oweyesigyire yagambye nti baatandika okulondoola essimu gye baakozesa ne bakizuula ng’abaali bagirina baali mu loogi emu e Masaka ng’eno baamalayo ennaku ezisuka mu ssatu.

N’agamba nti mu kunoonyerezxa kwabwe baasooka kukwata muganda wa Ssemboze, Richard Bukenya eyabatwala ewa muwala wa Kusubira e Namasuba - Kikajjo ng’eno gye baasanze mukyala wa paasita ng’asobeddwa oluvannyuma lwa Ssemboze gwe baali bakyala naye okumusuulawo.

Kigambibwa nti Ssemboze yafuna obukadde 20, okuva ku mukyala wa paasita era olwamala okuzifuna n’amulekawo teyaddamu kumulaba n’asigala ng’asobeddwa.

Miriam Kusuubira yakwatiddwa n’aggulwako okusango gw’okwewamba ku poliisi y’e Katwe ate Ssemboze poliisi emunoonya.

Abatuuze b’e Masajja bwe baategedde nti mukyala wa paasita yeewambye ne balumba amaka ge nga baagala okumanya ekyabaddewo, kyokka muwala waabwe n’abatabukira n’abagoba.

Abagoberezi bagamba nti babadde basaba emisana n’ekiro nga balowooza nti mukyala wa paasita waabwe yawambiddwa kyokka kyababuuseeko bwe baakitegedde nti ye yabadde yeewamba ng’abadde apepeya n’omusajja nga bwe baabadde nga basaba ssente.

Mukyala wa paasita okuwambibwa yalina obukadde 20, ng’agenda kugula ttaka.

Muka Paasita e Masajja bamuwambye ne basaba obukadde 50 ku mmeeza

Mukyala wa Paasita eyawambiddwa ne basaba obukadde 50 akyabuze

 

 
 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...