TOP

Ebibuuzo 15 ebitannaddibwamu ku ttemu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th June 2018

BRIG. ELLY KAYANJA eyakulirako Wembly, ekitongole ekyayigganga ababbi b’emmundu era ne kitta abamu ku bbo bwe yabuuziddwa ekisobye ekitutuusizza mu mbeera eno yagambye nti:

Yuganda1 703x422

IGP Ochola (ku kkono), Gen. Tumwine, Gen. Jeje Odongo, Mwesigye, Dr. Byabashaija, Gen. Muhoozi ne Ofwono Opondo oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbeera y’ebyokwerinda.

BRIG. ELLY KAYANJA eyakulirako Wembly, ekitongole ekyayigganga ababbi b’emmundu era ne kitta abamu ku bbo bwe yabuuziddwa ekisobye ekitutuusizza mu mbeera eno yagambye nti:

“Bw’otunuulira abantu be nali nnwanyisa mu myaka gya 2000, baawukanamu n’abo abakuba abantu amasasi kubanga nze nali nnwanyisa babbi so si bano abaliwo batemu abatannaba kumanyika bigendererwa byabwe.

Nze ndowooza nti abatemu bano beeyambisizza embeera eriwo nti abantu abawa ebitongole byokwerinda amawulire oba bambega balemererwa okubega obumenyi bw’amateeka ne bakola emipango gyabwe ne bagimaliriza nga tebakwatiddwa.

Obutakwatagana mu bitongole by’ebyokwerinda obubaddewo bukosezza ebyokwerinda mu ggwanga kubanga abatemu bano beetaaga abeebyokwerinda okubeera awamu basobole okubafeffetta.

Nze kye mmanyi nti abatemu bano bajja kukwatibwa kubanga ekiseera kijja kutuuka tubategeere naye abantu ba bulijjo nabo bakimanye nti bakola kinene nnyo ku byokwerinda mu ggwanga. Ssinga babeera balabye omuntu gwe beekengera, balina okutegeeza ku boobuyinza”.

MAJ. GEN KASIRYE GGWANGA (Ono muwabuzi wa Pulezidenti mu byokwerinda mu Buganda.)

Ono bwe yabadde abuuzibwa aba leediyo emu mu ggwanga ku byokwerinda, yategeezezza nti obunafu obusinga okukosa ebyokwerinda, bwa butaba na mawulire gamala kuzuula bantu bakyamu.

Amawulire balina kugafuna nga bakozesa abantu abagabawa kyokka bano bwe babawa ssente okukolagana n’abantu abandibawadde amawulire ago, ate ssente bazirya buli! kyokka ye minisita w’ebyokwerinda Mwesigye yategeezezza nti obutemu si kipya era tekiri mu Uganda wokka wabula kibeera mu mawanga amalala era kino kijja kuggwaawo.

Ate ye omuduumizi w’amagye Muhoozi yakunze abantu babulijjo okuvaayo nabo beenyigire mu kulwanyisa abatemu bano. Omuduumizi wa poliisi Ochola yakkaatirizza nti buli bumenyi bw’amateeka obubeerawo, bakwata abantu be babeera basuubira.

Yawadde ekyokulabirako ku kutemulwa kwa Kagezi ne Kaweesi, baakakwata abantu abali mu 90! Wadde bino byonna byogeddwa naye n’abantu ba bulijjo balina endowooza ezaabwe era balina ebibuuzo 15 bye babuuza ebitannaddibwamu. Bye bino wammanga:

1. Lwaki omukazi Mbabazi alowooza nti akatambi ke yawa Pulezidenti kaliko bwino annyonnyola ettemu eririwo? Bwe kiba kituufu lwaki Pulezidenti takakolerako?

2. Tulina abakugu mu by’emmundu. Enzita eno ekomerera oba okufukirira omuntu amasasi n’omumaliramu magaziini n’omusobyo terina by’eroopa ku batemu bano? Omuntu omukuba essasi limu n’afa, lwaki be bazze batta nga Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Geoffrey Mambewo babakomerera omu ne bamumaliramu magaziini nnamba? Lwaki tebeeguya na kukekkereza masasi?

3. Lwaki bangi ku be basse battirwa mu bifo omuli abantu abangi kyokka era ne wabulawo awa obujulizi bwonna obuyamba okukomya ettemu lino? Ababadde mu bifo we battidde omubaka Ibrahim Abiriga e Kawanda oba abaali e Bweyogerere we battira Sheikh Ibrahim Kirya ne Joan Kagezi gw’e battira e Kiwaatule waaliwo abantu, naye bakuba amasasi ne batta omuntu ne bakebera okukakasa nti afudde olwo ne balinnya pikipiki ne babulawo. Kyokka mu bonna abaaliwo ne wabula ayogera ebiyamba okukomya ettemu?

4. Obukugu bwe boolesezza wonna gye bazze batta tebulaga nti babbi bano ba bulijjo wabula bulaga abatemu abatendeke mu by’emmundu ne mu by’ekijaasi kubanga mu be basse mubaddemu n’abajaasi abatendeke kyokka ne babatta nga tebafulumizza wadde essasi!

Bantu ki bano abalina obusobozi okulumba abajaasi abatendeke be bamanyi nti balina n’emmundu era nga bamaze n’okubalabula bwe bagenda okubatta era ne babatta nga tebeerwanyeeko wadde okufulumya essasi?

5. Ekiyinula ennyana kiva mu kibeere. Kiki ekiyinula abantu bano nga buli omu akimanyi nti abeebyokwerinda bali bulindaala okwah− hanga abatemu kyokka ne babalumba misana nga ne bye bakola omuli n’okulonda ebisosonkole biraga nti batwala obudde bwabwe nga tebalina kye batya? Bakimanya batya nti ne bwe batwala obudde bwabwe tewali wa byakwerinda anaabahhanga?

Ku kuttibwa kwa Kaweesi kigambibwa nti waliwo eyayita paleedi y’abapoliisi etwala ekitundu kino ey’ekimpatiira nga mu kifo ky’okugenda mu bifo gye baalina okukuuma bonna baayitibwa ku paleedi mu kiseera we battira Kaweesi. Ani akola bino era lwaki era kijja kitya?

6. Abatta baagala kusindika bubaka ki?

7. Abantu bangi abakwatiddwa ku ttemu lino naye likyeyongera, ekireeta okulowooza nti be bakwata busammambiro naye omukulu yennyini ali emabega w’ettemu era alagira tannatuukibwako. Ani ali emabega w’ekittabantu?

8. Abakugu abamanyi eby’emmundu batugamba nti bwe bafuna ebisosonkole by’amasasi bamanya mmundu ki eyakubye ne wa gy’eva. Abantu bonna abattibwa ebisosonkole bye basanzeewo tebisobola kubeerako we bisonga?

9. Pulezidenti Museveni bwe yabadde ayogera eri eggwanga wiiki ewedde yatutegeezezza nti abantu abazze bakwatibwa ku by’ettemu kati bali 90. Lwaki tebaboogeza abatuma? 10. Ettemu lino lisonga ku kulagaya mu bimu ku bitongole byokwerinda. Ani atakoze mulimu gwe?

11. Abakuba abantu amasasi bajjira ku pikipiki, beesiba obukookolo. Pikipiki zino za boodabooda oba za bwannannyini?

12. Waliwo abantu abakwatiddwa ate oluvannyuma ne bavaayo ne bategeeza nga bwe baalagirwa abanene boogere nti be bazza emisango gino, omuli okutema abatu ebijambiya n’emirala. Lwaki abeebyokwerinda bandyagadde abantu balimbe?

13. Lwaki ekittabaana n’ekittabakazi kiri mu disituliki Wakiso, Mukono, Masaka ne Kampala?

14. Abeebyokwerinda bagamba nti lino ttemu lya bulijjo era ne mu nsi endala gyeriri era tewali kitiisa. Naye lwaki abantu ba bulijjo bo si bwe balowooza?

15. Enkaayana mu bitongole by’ebyokwerinda zirina kakwate ki n’ettemu lino erigenda mu maaso?

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pata 220x290

Abasajja bannemye okulondako

NNINA abasajja babiri era bombi bamalirivu okusinzira ku njogera n’ebikolwa. Naye omusajja omu alina abakyala babiri....

Send 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

NZE Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Bere 220x290

Ono si katono ‘abasibe’ bamwewagguleko...

MWANAMUWALA ono y’omu ku baabadde balya obulamu ku kivvulu ekyatuumiddwa Floral & Cocktail Party ekyabadde ku Jahazi...

Siri 220x290

Ababadde basekerera Julie ku bya...

“ABABADDE banjogera ebigambo bibakalidde ku mimwa kati mundeke nfumbire omwami wange Ssekajugo omu bwati.”

Wanted1 220x290

Mujje mu Harvest Money muyige okugoba...

AKAWUKA akakaza ebitooke kye kimu ku kivuddeko ensuku nyingi naddala mu Buganda okukutuka ng’ebitooke bikala ne...