TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Tulina bye tuzudde ku bazigu abaatemula Abiriga - Museveni

Tulina bye tuzudde ku bazigu abaatemula Abiriga - Museveni

By Muwanga Kakooza

Added 18th June 2018

Pulezidenti Museveni ng’asinziira mu kiwandiiko kye yawandiise ku wiikendi ng’alaga obunafu obuvuddeko NRM okuwangulwa mu kuddamu okulonda okuzze kubaawo okuva mu 2016, yategeezezza nti gavumenti erina w’etuuse ku kunoonyereza abaatemula eyali omubaka wa Arua Ibrahim Abriga n’agamba nti bwe banaakwatibwa emitima gy’abantu gijja kwongera okudda mu nteeko.

Abie 703x422

Omugenzi Abiriga

Yannyonnyodde nti NRM abantu bakyagyagala olw’okukuuma obutebenkevu wamu n’okukola enguudo.

Kyokka n’agamba nti ettemu eribaddewo mu ggwanga likanzeemu abantu kyokka ng’okukwatibwa kw’abatta Magara, okuttibwa kwa Kiddawalime eyatigomyanga Masaka n’emiriraano n’ebijambiya abantu babadde bagenda baguma.

N’ategeeza nti okutemula Abiriga kwongedde okukanga abantu naye gavumenti efunye ebitandikirwako by’esobola okweyambisa okuzuula abatemu n’ategeeza nti bwe banaakwatibwa abantu emitima gijja kudda mu nteeko.

Yagambye nti ettemu lino we lyabeereddewo ng’abebyokwerinda bagenze baziba emiwaatwa egibaddewo mu kukuuma obutebenkevu mu bibuga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...