TOP

Gavumenti eweze walagi w'obuveera

By Lawrence Kitatta

Added 21st June 2018

MINISITA w’ebyobusuubuzi n’amakolero, Amelia Kyambadde agambye nti gavumenti eweze mbagirawo walagi atundibwa mu buveera.

Sachet703422 703x422

Minisita Kyambadde okwongera bino yabadde Luzira ku kkolero lya Uganda Breweries Ltd (Bell) ng’atongoza layini empya eya Uganda walagi ewemmense obuwumbi 13 okugisimba okumalirizibwa.

Yagambye nti olw’okuba walagi w’akaveera ali ku bbeeyi esoboka eri buli omu, kivuddeko abaana bangi n’abavubuka okwonooneka kuba kibanguyira okumugula n’okusaasaana naddala mu baana b’amasomero ababadde bakukuta n’obuveera buno nga babuyingiza mu masomero okubuguza bannaabwe.

Kyambadde yakkaatirizza nti gavumenti yasisinkana dda bannamakolero abakola walagi w’obuveera ne babategeeza ensonga eno era baweereddwa ebbanga okutuusa mu mwezi gw’omwenda omwaka guno ng’akaveera tekakyakkirizibwa ku katale olw’okutaasa Bannayuganda.

Yagambye nti walagi asinga afulumira mu buveera tatuukana na mulembe nga y’ensonga lwaki abaana bangi n’abantu abakulu babunywa ne bubatta nga kiva ku kirungo kya ‘ethanol’ assibwamu mu bungi ate nga buli lw’ayitirira afuuka butwa eri abamunywa.

Minisita Kyambadde yasiimye kkampuni ya Uganda Waragi olw’enkulaakulana gy’etuuseeko okuva lwe yatandikibwa mu 1963 ng’esobodde n’okuwa Bannayuganda emirimu.

Yagambye nti kkampuni eno ekoze kinene ku nkulaakulana y’eggwanga kuba ekozesa ebintu ebyaffe ebya wano ekisobozesezza abantu omuli abalimi, abasuubuzi n’abantu abalala okukulaakulana n’okukyusa obulamu bwabwe.

Akulira Uganda Breweries, Mark Ocitta yasabye gavumenti okuyamba ku bannamakolero ba wano ku misolo nga bw’ekola ku bannamakolero abava ebweru.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ababaka baweze okusimbira etteeka...

ABABAKA ba Palamenti abava mu Buganda bawadde Katikkiro Charles Peter Mayiga obweyamo nti ba kuyimirira n’abalimi...

Kkooti1 220x290

Ogw’ettemu ly’e Seguku gulindiridde...

OMUSANGO gwa Abdul Mukiibi agambibwa okutta Frank Katumba e Seguku ng’amutebereza okwagala mukazi we, Aisha Mubiru...

Kigandaweb 220x290

Omusumba Kiganda avuddeyo ku bya...

OMUSUMBA David Kiganda owa Christian Focus Centre anenyezza gavumenti okusirika obusirisi netebaako ky’ekola ku...

Abazirwanakonabengandazaabwengabakwasaabamagyeempapulazaabwewebuse 220x290

Abadduka mu magye temugenda kusiimibwa...

Abaazirwanako baakusekera mu kikonde oluvannyuma lw'okuwandiisibwa mu ngeri gye bagambye nti ebawadde essuubi okulyaku...

Carbond0023scmyk7034221 220x290

Gav't ereese etteeka eriwera okutunda...

GAVUMENTI ereese etteeka erigenda okuwera okuleeta muno emmottoka enkadde.