TOP

Eyali Kifeesi akubye embaga

By peter ssaava

Added 16th July 2018

EYALI “Kifeesi” ng’atigomya abantu agattiddwa n’omuwala gwe yafunira mu bubbi.

Madi1 703x422

Nsubuga ne kabiite we

Peter Nsubuga,23 nga yali mubbi era abamu nga baamukazaako “Kifeesi” ng’amenya amayumba g’abantu nabba ebirimu ssaako okunyakula obusawo n’amasimu mu bitundu by’e Ndeeba, Katwe, Kibuye ne mu Kampala wakati yagattiddwa ne Robinah Zabali 21 wakati mu ssanyu okuva mu baabadde ku mukolo.

Omuwala ono Nsubuga yamufuna akyali mu bubbi era omuwala n’assaawo akakwakkulizo ng’okumuwasa alina kusooka kuva mu bubbi era eyo ye yali entandikwa y’okukyuka kwa Nsubuga.

Nsubuga yasalawo atandike okunoonya emirimu ave mu bubbi era eyo gye yasisinkanira omuzirakisa Dr. Josephine Kyambadde amanyiddwa nga Dr. Josephine Kyambadde eyamukolamu omulimu n’amufuula omwana awaka.

Emikolo gy’okugatta gyabaddewo ku Lwomukaaga ku kkanisa ya New Hope Church e Matugga ng’eno gye baakubidde ebirayiro byabwe mu kusaba okwaakulembeddwaamu omusumba Vincent Kasaija.

Kasaija yasabye abafumbo bulijjo okufaayo okugumikiriza ssaako okusonyiwagana kuba ku nsi tewali malayika era n’abakuutira n’okuba n’empuliziganya buli kaseera amaka gabwe gasobole okuwangaala.

Oluvannyuma lw’okugattibwa mu bufumbo obutukuvu, Nsubuga ne Robinah baasembezza abagenyi baabwe ku Edrij Recreation Centre e Ssanga-Matugga ng’eno gye baabagabulidde ekijjulo ssaako okusala keeki gye baagabudde abagenyi baabwe.

 

 subuga ngagabula abagenyi Nsubuga ng’agabula abagenyi

 

NSUBUGA ANNYONNYOLA EMBEERA Y’OKU NGUUDO

Peter Nsubuga agamba nti ng’awezezza emyaka 7, yadduka awaka ng’abazadde bamutulugunya ekisusse era yasibira ku nguudo asobole okufuna eky’okulya.

Nsubuga agamba nti yakulira mu Ghetto z’omu Ndeeba n’abavubuka abalala bwe baakola ekibinja eky’omutawaana ekyaatigomya ng’abantu mu kubanyagako ebintu byabwe nga babatusaako n’obulabe.

“Twanywa enjaga, okunuusa amafuta ssaako okukozesa ebiragalalagala olwo ne tulyoka tulumba abatuuze ne tubacunya,” Nsubuga bwe yategeezezza.

Ono ayongerako nti olumu beerimbikanga mu kulonda ebyuma ebikadde (sikulaapu) naye nga kye bapanga kimu kuziga we banabba ng’obudde buzibye.

Nsubuga yannyonnyodde nti obulamu bw’amukalubira nnyo kubanga ennaku ezimu baalemwanga okunyaga ebitegeerekeka ne batafuna bulungi kyakulya ate olulala nga babayigga okubatta era ne bamaliriza nga basuze mu nsiko.

Robinah Zabali ng’azaalibwa Lwadda mu Wakiso, yategezezza nti bba yamusanga mu 2013 ng’ali ku nguudo za Kampala. Yakitegeera mangu nti yali mu bubbi olw’endabika ye mu nnyambala n’amaaso agaali galabikirawo nti akozesa biragalalagala.

Robinah (nga mu kiseera ekyo yali akozesa lya Aisha) yasalawo okuyamba omuvubuka ono era n’amussaako akakwakkulizo nti bw’aba ayagala bafuuke ba mukwano, alina okuva mu bubbi.

Nsubuga awo we yasalirawo okutandika okunoonya emirimu era yasimbula ne banne babiri ne bakwata ku Bombo Road nga bagenda beerobozaamu amayumba we bakyama okusaba emirimu era baasibira Matugga ku maka ga Dr. Josephine Kyambadde.

Dr. Kyambadde nga mu kiseera kino abeera Bungereza agamba nti bwe yatunuulira abalenzi bano n’alaba nga beetaaga okuyambibwa era kwe kubawa emirimu era oluvannyuma n’abayingiza mu kibiina kya bakateeyamba b’alabirira ne batandika n’okubabuulira bave ku biragalalagala kubanga bebbiriranga ne babikozesa; okutuusa lwe baakyuka byonna ne babireka era oluvannyuma ne balokoka.

Dr. Kyambadde y’akulira ekibiina kya Balanced Life Family ekiruubirira okukyusa embeera z’abantu era kiyambye nnyo Nsubuga okukyuka n’afuuka omuntu eyeegombesa.

 subuga ngakyali ku nguudo Nsubuga ng’akyali ku nguudo.

Robinah agamba nti baasigala bawuliziganya ne Nsubuga era oluvannyuma baatuuka ku nzikiriziganya ne basalawo okukola obufumbo ng’amaze okumukakasa nti eby’obubbi abirese.

Omuwala yatwala Nsubuga mu maka ga bazadde be e Lwadda mu Wakiso n’amwanjulira abazadde era baali abasanyufu olwa muwala waabwe okuvaayo n’aleeta omusajja mu butongole.

Nga tebannagattibwa, waasooseewo mukolo gwa kwanjula ogwabadde mu maka ga bazadde ba Robinah ku Lwokuna ate ku Lwomukaaga ne bakuba ebirayiro.

ABA BALANCED LIFE FAMILY BOOGEDDE

Omusumba Andrew Mangeni omu ku bakulembeze mu Balanced Life Family yategezezza nti olugendo lwa Nsubuga lulimu ebyokuyiga bingi era luwa essuubi nti buli muntu asobola okukyuka naddala ng’azze mu kkubo lya Katonda; abadde owoobulabe n’afuuka owoomugaso eri bantu banne.

Nsubuga yasiimye nnyo Dr. Josephine Kyambadde okumuyamba n’amukyusa n’amufuula omuntu wamu n’okumubuulira enjiri n’amanya Katonda.

Yeebazizza ne Jjajja Samalie Nabwami (maama wa Dr. Josephine) eyakazibwako “Jjajja Baby” olw’okumubudaabuda n’okumuyisa ng’omuzzukulu. Okuva mu 2013, Nsubuga abadde ayambibwa aba Balance Life Family.

Nsubuga yeebazizza Bammemba ba Balanced Life bonna olw’okuwoma omutwe mu mbaga eno n’ebeera ya kitiibwa.

Nsubuga yakubirizza abavubuka abali mu bibinja by’obubbi n’obumenyi bw’amateeka omuli ne Kifeesi okuva mu bikolwa ebyo era badde n’eri Mukama.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA