TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Kanyankole akoze olukalala lwa boofiisa ba poliisi bwe battanga abantu

Kanyankole akoze olukalala lwa boofiisa ba poliisi bwe battanga abantu

By Musasi wa Bukedde

Added 16th July 2018

RONALD Asiimwe amanyiddwa ennyo nga ‘Kanyankole’ eyasingisiddwa ogw’obutemu awadde Omulamuzi ekiwandiiko mw’atadde abantu b’abadde akolagana nabo mu kutemula abantu n’okunyaga emmotoka, ssente n’ebyobugagga ebirala kyokka nti ng’akolagana ne boofiisa ba poliisi.

Songa0 703x422

Kanyankole yakkirizza emisango gy’okutta ne bamusiba emyaka 21 kyokka banne ne basigala nga beegaana.

Kanyankole ekiwandiiko bwe yamaze okukikola n’awaako kkopi munnamateeka we we Richard Bak Kumbuga, owa Higenyi, Ngugo & Wadamba Advocates ate kkopi endala n’agiwaayo mu kkooti e Nakawa.

Kino yakikoze ng’Omulamuzi Stephen Mubiru tannamusalira kibonerezo kya kusibwa emyaka 21 olw’okutta omuntu.

Ekibonerezo baakimusalidde ku Lwokusatu lwa wiiki eno era yamaze kukkiriza nti omusango yaguzza era n’attottola n’engeri gye batta Raymond Nkata ne bamubbako emmotoka.

Oluvannyuma omulambo bagwokkya era ebisigala ne babitwala ne babiziika mu limbo ya KCCA.

EMISANGO GY’OKUTTA ABANTU

Kigambibwa nti Kanyankole ne banne abatannaba kukkiriza musango okuli; Bob Kibirango ne Robert Ssempeebwa amanyiddwa ennyo nga ‘Kazahura’, batta Raymond Nkata n’oluvannyuma omulambo ne bagukumako omuliro nga August 7, 2010.

Oluvannyuma baabulawo n’emmotoka y’omugenzi eyali ey’ekika kya Ipsum namba UAM 227S.

Kanyankole alina emisango emirala egy’obutemu gye bamuvunaana okwenyigiramu okuli; ogw’okutta Mubarak Tumusiime, eyali abeera e Kajjansi ku luguudo oluva e Kampala okudda e Ntebe, Constantino Ssempala, eyali abeera e Wandegeya, Razaria Kafuluma, n’abalala bangi.

OMULAMUZI YASIBYE KANYANKOLE EMYAKA 21

 azahura abadde avunaanibwa ne anyankole naye ye yeegaana Kazahura abadde avunaanibwa ne Kanyankole naye ye yeegaana.

 

Omulamuzi wa kkooti e Nakawa, Stephen Mubiru, ku Lwokusatu lwa wiiki eno lwe yasalidde Kanyakole ekibonerezo okusibibwa emyaka 21, oluvannyuma lw’okukkiriza omusango gw’okutta Raymond Nkata eyali bbulooka w’ettaka e Buwama ku lw’e Masaka.

Baamuttira ku kyalo Nakigalala ekisangibwa mu Town Council y’e Kajjansi mu Wakiso.

Ng’awa ensala ye, omulamuzi yategeezezza nti, Kanyankole kye yakola okutta omuntu oluvannyuma omulambo n’agwokya kyayolesa omutima omubi ennyo gwe yalina ne banne be yali nabo.

Kyokka olw’okuba Kanyankole mu kiwandiiko kye yabadde awadde omulamuzi yamugambye nti, yakulira ku nguudo z’omu Kampala oluvannyuma lwa bazadde be okufa, kye yavudde yasazeewo okumukendeereza ku kibonerezo.

“Okusinziira ku misango gy’ovunaanibwa, ekibonerezo kibadde kya kusindikibwa ku kalabba oba okusibibwa emyaka 45 ku 35, naye olw’ensonga nti wakula tolina bazadde oba oli awo abandikubuuliridde n’ekirala nti wakkirizza omusango n’otamalira kkooti biseera, oweereddwa ekibonerezo kya kusibibwa emyaka 21 ne 11, era nga gyombi gyakutambulira wamu”, bw’atyo Omulamuzi Stephen Mubiru bwe yategeezezza.

Abamu ku bofiisa b’alumiriza okukolagana nabo mu kuzannya minsoni enkambwe kuliko; SSP Nixon Agasirwe Karuhanga eyakwatibwa amagye gye buvuddeko ku nsonga z’okuwamba bannansi ba Rwanda n’abazzaayo.

Kigambibwa abamu battibwa n’abalala ne baweebwa ebibonerezo okusibwa obulamu bwabwe bwonna. Kanyankole agamba nti ku myaka 16, yavaayo ne yeetondera eggwanga olw’abantu be yatta n’olw’okwenyigira mu bikolwa by’obwakkondo entakera.

ALUMIRIZA BOOFIISA MU POLIISI

 ob ibirango naye ali mu kibinja kya anyankole kyokka ye yeegaana okutta Bob Kibirango naye ali mu kibinja kya Kanyankole kyokka ye yeegaana okutta.

 

Ono era agamba nti mu August, 2010, yatuukirira ofiisa omu mu poliisi n’amutegeeza okutya kwe yalimu oluvannyuma lw’abamu ku bannaabwe okutandika okukwatibwa ab’ebyokwerinda olw’ettemu n’obubbi ebyali bikyase ennyo ate ng’abaali emabega wa buli kimu yali abamanyi bulungi.

Mu September, 2010, waliwo omuserikale wa poliisi omu eyakwatibwa ku by’okubba mmotoka ey’ekika kya Ipsum eyali eggyiddwa ku muntu omu nga bamugamba nti yali agibbye newankubadde nga tewaaliwo bujulizi bwonna.

EBIKWEKWETO BYA POLIISI

Kanyankole agamba nti, poliisi yakola ekikwekweto mu bitundu bya Kampala mwe yayoolera abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka 20. Yali omu ku baakwatibwa n’omuserikale wa poliisi gw’alumiriza nti, yatoloka kyokka ne bamukuba amasasi n’afa nga batidde nti ayinza okubotola ebyama byabwe.

OBUZAALE BWA KANYANKOLE

Okusinziira ku kunnyonnyola kwe yawadde kkooti mu buwandiike, Kanyankole agamba nti yazaalibwa Ronbert Ndyomugyenyi ne Adrine Mita nga August 6, 1994, abaali abatuuze b’ e Makerere - Kivvulu, mu Munispaali y’e Kawempe mu Kampala.

KANYANKOLE AFIIRWA BAZADDE BE

Kanyankole yategeezezza kkooti nti bazadde be baafa alina emyaka ena gyokka egy’obukulu, n’asigala ne jjajjaawe omukazi nga y’amulabirira ne banne abalala babiri. Obulamu bwabakaluubirira nga jjajjaabwe takyasobola kubalabirira ekyamuwaliriza okutandika okunoonya ebyuma ebikadde (sikulaapu) eby’okusoma nga twali fiizi.

Ayongerako nti landiroodi yatuuka okubabanja ssente z’obupangisa za myezi esatu ne bazinoonya ne zibula era okukakkana ng’abagobye mu nju ne batandika okusula ku nguudo.

ATANDIKA OBUBBI

  gasirwe ali mu mikono gyamagye e akindye SSP Agasirwe ali mu mikono gy’amagye e Makindye.

 

Kanyankole mu bbaluwa yategeezezza nti obulamu bwe bw’ayongera okumukaluubirira n’awalirizibwa okwegatta ku bubinja bw’abaana b’oku nguudo abalala abaali basinziira mu bitundu by’e Katwe - Kinyoro (Kifeesi) gye yayigira emize gy’okunyakula obusawo ku bakazi, amasimu n’okumenya amayumba g’abantu.

POLIISI EPANGA OKUGGYA KANYANKOLE E LUZIRA

Mu kiwandiiko kye kye yawaddeko kkooti, Kanyakole attottola nti, bwe yali aleeteddwa mu kkooti mu mwaka gwa 2015, yatuukirirwa ofiisa wa poliisi omu n’amutegeeza nti yali agenda kumuyamba amukolere pulaani ayimbulwe ku kakalu ka kkooti asobole okumuyambako ku mirimu gye egy’ekiserikale kyokka nga talina kubuulira ku muntu yenna.

Nga November 1,2010, Kanyankole yaleetebwa mu kkooti ya Buganda Road ne banne abalala bana okwali; Charles Yiga, Young Rich, Ramathan Kakooza, ne Robert Sempeebwa ‘Kazahura’, era bonna n’abalumiriza nti yatta nga nabo abantu.

KANYANKOLE ASISINKANA ABANENE

Ofiisa wa poliisi obweyamo yabutuukiriza era n’ateebwa ku kakalu ka kkooti. Oluvannyuma waliwo banene mu poliisi, amagye, minisita ne bannamawulire, abaamuyita okubaako bye bamubuuza olw’ensonga nti engeri gye yavaamu e Luzira, yali ebeewuunyisizza nnyo ate nga emisango egyali gimuvunaanibwa gyali gya nnaggomola.

Bino olwagwa mu matu ga banene, baatandika okumukwata ne kumisango gye yali nga tamanyiiko, ng’ekigendererwa kya kumulemesa kweyanjula mu kkooti esazeemu akakalu kwe baamuteera addemu okukwatibwa.

 ngeri gye baasibanga abantu be babbyeeko mmotoka ne babassa mu bbuutu Engeri gye baasibanga abantu be babbyeeko mmotoka ne babassa mu bbuutu.

 

AMAGYE GAKWATA KANYANKOLE

Mu kiseera omuwala Susan Magara we baamuttira, Kanyankole agamba nti waaliwo abanene mu poliisi abaali bapanze nga baagala akkirize nti ye yali mu lukwe lw’okumuwamba n’okutta Magara nti kyokka olwagaana awo kwe kutandika pulaani ey’okwagala okumutta.

Oluvannyuma yayambibwa eb’ekitongole kya CMI abaagwa mu lukwe ne bamuggyawo ne bamutwala ku kitebe kyabwe e Mbuya gye baamukuumira oluvannyuma ne bamuzza e Luzira ku fayiro z’emisango emikadde gye yali avunaanibwa.

ENGERI KANYANKOLE GYE YAKWATAGANAMU NE BOOFIISA MU POLIISI

Kanyankole yategeezezza nti Poliisi gye yakoma okumukwata ng’azzizza emisango egy’enjawulo naye gye yakoma okufuna enkolagana nayo.

Agamba nti olw’obunene bw’emisango gye yazzanga, waliwo boofiisa abaamusaba alokoke atandike okukola nabo ng’abayambako ku mirimu gyabwe egy’okunoonya abamenyi b’amateeka nti era wano we yatandikira obutereevu okukolagana ne poliisi mu misoni ezitali zimu.

Yeenyumiriza nnyo mu ofiisa wa poliisi omu (amannya gasirikiddwa) gw’agamba nti yamutendeka obukodyo bungi nti era we yabeerera mu kitongole kya ‘RRU’ e Kireka, yamuyamba okukyusa obulamu bwe era yamuwa n’omulimu gw’okumuvuga buli lwe yagendanga ku misoni enkambwe.

Agamba nti wakati w’omwaka 2007 ne 2009, yali asazeewo okudduka mu kabinja ka ofiisa ono, olw’obusente obutono bwe baali batandise okumuwa ate ng’akooye n’okuyiwa omusaayi gw’abantu.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono