TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi efulumizza alipoota ku buzzi bw'emisango: Omuwendo gw'abattibwa gulinnye

Poliisi efulumizza alipoota ku buzzi bw'emisango: Omuwendo gw'abattibwa gulinnye

By Eria Luyimbazi

Added 19th July 2018

OMUWENDO gw’abattibwa gulinnye ekyongedde okweraliikiriza abantu. Lipoota poliisi gye yafulumizza ekwata ku misango egyaliwo mu 2017 yalaze ng’obuzzi bw’emisango bweyongeddeko bw’ogerageranya ne 2016.

Misango 703x422

Sabiiti ne Ochola (ku ddyo)nga bafulumya lipoota ku buzzi bw’emisango eggulo.

Mu 2017 poliisi yafuna emisango 252,065 so nga mu 2016 gyali 243,988 ekiraga nti gyalinnya ebitundu 3.3%.

Mu lipoota eno, abantu 4473 be baafa mu 2017 bwogeraageranya ne 4316 abaafa mu 2016. Omwaka ogwo gwasaanikirwa nnyo obutemu omuli abaakubwa amasasi, abeebijambiya naddala e Masaka n’ekittabakazi e Nansana n’e Ntebe.

Mu kwanjula lipoota ekwata ku buzzi bw’emisango, akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Grace Akullo yagambye nti abantu 164 be battibwa nga bakubiddwa amasasi oluvannyuma lw’okulumbibwa abazigu omwali n’omugenzi Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we, Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Wambewa abattibwa nga March 17, 2017 e Kulambiro.

Mu battibwa nga bakubiddwa amasasi kwaliko abasajja 144, abakazi 14 n’abaana 6.

Yagambye nti abantu 603 bw battibwa mu kutwalira amateeka mu ngalo ate abantu 372 ne battibwa oluvannyuma lw’okufuna obutakkaanya mu maka ng’okutta mu mbeera eno kwali nnyo e Kamwenge, Kyenjojo, Mbarara, Rakai , Kakagi ne Ntungamo.

Yategeezezza nti ezimu ku nsonga ezivuddeko ettemu kuliko enkaayana z’ettaka, obutakkaanya mu maka, okuvuganya mu by’obusuubuziwamu n’okulwawo okufuna obwenkanya mu kusala emisango mu kkooti.

Akullo yagambye nti poliisi era ekyalina okusoomoozebwa okunoonyereza ku bubbi obutambulira ku mikutu mugattabantu kuba emisango poliisi gy’efunye egy’ekika kino ng’abantu bafiiriddwa ssente ezisoba mu buwumbi 169.

DISITULIKITI EZISINZE OKUBAAMU EMISANGO

1. Lira erina emisango 7,872, 2. Ntungamo 6,839, 3. Mbarara 5,096, 4. Gulu 4,731, 5. Mpigi 4,539, 6. Arua 4,261, 7. Mbale 3,857, 8. Kibuku 3,836, 9. Gomba 3,809, 10. Tororo 3,651 (ng’eno omuduumuzi wa poliisi, Okoth Ochola gy’ava.) Disitulikiti y’e Mbarara okuva 2011 tevanga ku lukalala olwo.

EMISANGO EGITANOONYEREZEBWANGAKO

2014 emisango 122,733 2015 emisango 101,904, 2016 emisango 95,270 2017 emisango 105,017 Kino kivudde ku kubeera ng’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango kirina abasirikale batono.

EMISANGO EGISINZE OKUZZIBWA MU 2017

Okusobya ku bakazi 1,335, Egyekuusa ku ttaka 469, Okufuna ebintu mu lukujukujju 12,771, Obutalabirira baaana 10,021, Okubba ssente 7,878, Okwonoona ebintu 8,078, Okutisatiisa 13,474.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi