TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Poliisi yeezoobye n'abawagizi ba Bobi Wine: Akoze sitatimenti

Poliisi yeezoobye n'abawagizi ba Bobi Wine: Akoze sitatimenti

By Eria Luyimbazi

Added 19th July 2018

OMUBAKA wa Kyaddondo East, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine, n’abawagizi be beezoobye ne poliisi ebadde ebatangira okutambula naye ng’agenda okweyanjula ku CPS mu Kampala.

Wine1 703x422

Bobi Wine yayitiddwa ku poliisi abuuzibwe ku ky’okukulemberamu ekibinja ky’abantu abatambula mu kibuga nga baagala kutuuka ku kibangirizi kya Ssemateeka okulaga obutali bumativu ku musolo ogwateereddwa ku 'Mobile Money' ne ‘Social media mu mbeera ey’okwekalakaasa.

Ku makya yasoose kugenda ku palamenti okwetaba mu lukuηηaana lwa bannamawulire olwetabiddwaamu abamu ku babaka abali ku ludda oluvuganya gavumenti nga bakulemeddwamu abakulira, Winnie Kiiza, olwayitiddwa okwogera ku nsonga y’emisolo gino.

Ku ssaawa 6:30 ez’emisana Bobi Wine ng’awerekerwako ababaka okwabadde; Winnie Kiiza (Mukazi Kasese) era akulira oludda oluvuganya gavumenti, Flolence Namayanja (Bukoto East), Gilbert Olanya, Zake Butebi (Mityana Munisipaali), Gaffa Mbwatekamwa (Kasambya) n’abalala baasazeewo okutambuza ebigere okuwerekera ku munnaabwe ku CPS.

Okuva ku palamenti baatambudde ne bakkirira ku Kampala Road okuyita mu maaso ga Uganda House nga batambula badda ku City Square we baayambukidde okutuuka ku CPS.

Kyokka obwedda buli we bayita ng’abantu omuli n’aba bodaboda babeegattako era we baatuukidde ku City Square ng’oluguudo lukwatiridde tewali mmotoka etambula.

Wakatikkati abaserikale ba poliisi baagezezzaako okumulemesa okutambula n’abantu kyokka abawagizi be ne babatabukira wamu n’ababaka abalala nga bagamba “mumuleke atambule kasita agenda ku CPS gye mumuyise.”

Abaserikale oluvannyuma baasazeeko oluguudo olwambuka ku CPS era wano waabaddewo akanyoolagano nga bakwata abamu ku bavuzi ba bodaboda abaabadde bawerekedde ku Bobi Wine ate bbo abaamawulire babakomezza ku ‘loodi bulooko’ ya CPS ne bakkirizaako Bobi Wine ne babaka banne bokka okuyingira munda.

 

BOBI AKOZE SITATIMENTI

Ng’atuuse munda, Bobi ne banne baasoose mu ofi isi ya DPC wa CPS, Joseph Bakaleke oluvannyuma yaggyiddwaayo n’atwalibwa mu ofi isi ekola ku misango gya ‘Media and political’ egy’abaamawulire ne Bannabyabufuzi, n’eno yaggyiddwaayo n’atwalibwa mu ofi isi y’omumyuka w’akulira bambega (OC CID) gye yakoledde sitatimenti.

Wadde nga waabaddewo okutya nti bayinza okumutwala mu kkooti emusindike e Luzira nga bwe babadde bakola ku basajja be, Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti bwe bamalirizza okumubuuza ku bimuyisizza bagenda kumuleka agende eka kubanga teyabadde mukwate.

alt=''

 

Bbo basajja ba Bobi Wine okuli; mukulu we Fred Nyanzi amanyiddwa nga Chairman Nyanzi , Eddy Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddy Mutwe akolanga kanyama we, David Lule ne Julius mu kiseera kino bali ku alimanda mu kkomera e Luzira gye baasindikibwa ku misango omuli okukuba olukuηηaana olumenya amateeka n’okwekalakaasa nga tebafunye lukusa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.