TOP

Ababaka 200 basattira lwa nsala ya kkooti

By Kizito Musoke

Added 28th July 2018

ABABAKA ba Palamenti abaawagira okukyusa Konsitityusoni n’okweyongeza emyaka gy’ekisanja okuva ku etaano okutuuka ku musanvu bali mu kusattira.

Wats 703x422

Ababaka nga balwanira mu palamenti bwe baayisa etteeka lya Togikwatako.

Oluvannyuma lwa kkooti etaputa Ssemateeka okutegeeza nti eky’okweyongeza ekisanja kyali kikyamu era ekyoleka omululu ababaka gwe balina, Omulamuzi Keneth Kakuru yabalangidde nti bayinza n’okuyisa etteeka eriragira abaana baabwe okubasikira ku bubaka bwa Palamenti.

Obuzibu we buvudde ababaka abamu babadde tebakyagenda mu bitundu gye bakiikirira olw’okuba ebbanga ly’okulonda libadde likyaliwo. Abamu babadde baasalawo nti emyaka omusanvu oluggwako tebajja kutawaana kuddamu kwesimbawo.

Waliwo n’abamu abaafuna ssente ennyingi mu bbanka nga tebalina kutya mu bya nsasula olw’okuba ssente bazisala ku musaala ate nga n’emyaka giri wala egy’okusasuliramu, kyokka bino byonna bikyuse.

Kyokka mu kiseera kino byonna byafuuse lufumo Abalamuzi bwe baasazeewo nti okulonda kulina okubeerayo mu 2021.

Ababaka abasukka 200 ku babaka 317 abaasemba okukyusa Konsitityusoni mu kiseera kino bali mu kusattira.

Waliwo n’ababaka abamu abaakakasa abalonzi nga bwe batagenda kukkiriza kukyusa Konsitityusoni kyokka bwe baatuuka mu Palamenti ne bakola birala.

ABABAKA ABASATTIRA

Dennis Ssozi Galabuzi (Busiro North) banne be yawangula mu kulonda okwayita boongeddemu amaanyi okumusuuza entebe.

Baatandise dda okusaba obululu nga ku bano kuliko;

Kasita Bukenya DP, Mukiibi Byekwaso eyakwata ekyokubiri agamba nti ku luno alaba obuwanguzi gattako ne Annet Bakunzi.

Kafeero Ssekitoleko (Nakifuma) naye yeeyongedde okufuna abaagala okumusuuza entebe era nga bannamawulire okuli Steven Musoke owa Bukedde ne Patricko Mujuuka bawera okumuwangula.

Flavia Namulindwa aweze nti tayinza kukkiriza Emmanuel Kalule Ssengo (Gomba East) kweyongerayo kuba teyatuusa birowoozo bya balonzi mu butuufu bwabyo. Omuyimbi Ronald Mayinja naye azze mu kifo kino.

Kibuule Ronald (Mukono North) era minisita omubeezi avunaanyizibwa ku by’amazzi bugenda kuddamu okubeefuka ne Abdallah Kiwanuka. Peace Kusasira Kanyesigye Mubiru (mukazi/Mukono) tateredde anti Hanifa Nabukeera bwe battunka yagambye nti mu kiseera kino yafunye amaanyi aganoonya akalulu kuba omuntu abalonzi gwe baalonda yava ku bye bamutuma.

Agafa e Mawokota North ewa Amelia Anne Kyambadde yandisanga akaseera akazibu okumegga omusirikale wa poliisi Muhammad Kirumira n’omuyimbi Hillary Kiyaga amanyiddwa nga Dr. Hilderman.

Lydia Daphine Mirembe (mukazi/ Butambala) abbinkana ne Aisha Kabanda eyagambye nti Bannabutambala tebawagirangako kukyusa Konsitityusoni era n’awera nti ateekwa okulwana okununula Bannabutambala.

Ronnie David Mutebi (Buikwe South) yagambye nti ensala ya kkooti yalaze nti Uganda erimu amateeka era n’ekyokuggya ekkomo ku myaka kyakolebwa mu butuufu era tewali kyali kyetaagisa babaka kulwana.

Ebyalagiddwa nti tebyatambula bulungi yagambye nti ssomo eri palamenti n’eggwanga. Dr. Lulume Bayiga akomawo bongere okuvuganya.

Ababaka abalala be bavuganya kuliko; Rosemary Nansubuga Sseninde (mukazi/Wakiso), Simeo Nsubuga Muwanga (Kassanda South), Peter Sematimba (Busiro South).

Waliwo amawulire agaasoose okufuluma nga gagamba nti John Bosco Sseguya Lubyayi (Mawokota South) yabadde yeetondedde abalonzi olw’okukyusa Konsitityusoni, kyokka yabiwakanyizza n’agamba nti byajingiriddwa abamuvuganya.

Abantu basatu be basuubirwa okumuvuganya okuli; Simon Peter Kawuki, munnamateeka Yusuf Nsibambi ne Joseph Kiyingi Bbosa.

Wakayima Musoke eyali omubaka we Nansana yagambye nti engeri Robert Kasule Sebunya (Nansana Munisipaali) gye yalondamu nga teyeebuuzizza ku balonzi kyamulaze nti kimwetaagisa okuddamu okuvuganya era alinze 2021 yeddize entebe ye.

ABATAAWAGIRA KWONGEZAAYO KISANJA BASEKERA MU KIKONDE

Gaffa Mbwatekamwa (NRM/ Kasambya) yagambye nti, babaka banne yabagambirawo nti babafeze ne bamuwakanya, kyokka gye biggweeredde ng’ekya Pulezidenti kiyiseewo.

Yasiimye Omulamuzi Keneth Kakuru olw’okulaga nti byonna ebyayisibwa byali mu bumenyi bwa mateeka.

Sarah Temulanda Nakawunde (mukazi/Mpigi) yagambye nti teyejjusa kugaana kukyusa Konsitityusoni kuba abalonzi kye baali baamutuma era ogugwe yagukola.

Julius Mukasa Opondo (Bujumba) yagambye nti, omulimu gwe gwakutuusa birowoozo bya bantu era kye yakola kuba baamulaalika nti bwageza n’akyusa Konsitityusoni tabaddiranga era kye yakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.