TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Okwanjula kwa Judith Babirye kwabaddeko obukolomooni

Okwanjula kwa Judith Babirye kwabaddeko obukolomooni

By Josephat Sseguya

Added 29th July 2018

Okwanjula kwa Judith Babirye kwabaddeko obukolomooni, ye yennyini Babirye bwe yayogeddeko nti bwakoleddwa okuleetawo enjawulo ku kwanjula okulala.

3788804720033325130313648649866153331523584n 703x422

Babirye n'omubaka Ssebulime gwe yeewangulidde

Yayanjudde mubaka munne Paul Musoke Ssebulime owa munisipali y’e Njeru e Buikwe. Baayanjulidde ku wooteeri ya Las Vegas e Bunga mu Kampala.

Babirye yanaanise munne empeta ate Ssebulime naye n’aginaanika Judith. Ku mikolo gy’okwanjula egyabulijjo, omwami y’anaanika omugole empeta ya nkusibiddaawo (engagement ring).

Omwami awereekerezaako ebigambo: nkusibiddaawo, tolabanga omusajja omulala okutuusa ku lunaku lw’embaga.

Kyokka Babirye yategeezezza Bukedde nti omukolo gwabwe gulinga mbaga. Okwenaanika empeta kabonero akanyweza omukwano gwabwe.

Ekirala empeta yaabwe teyetaaga kulinda mbaga kubanga ekituufu baagalana ate Babirye ng’omukazi atya Katonda tayinza kwongera kubeera na musajja mu nkukutu nga tebakozeewo mukolo mutongole. Babirye era yasabye kitaawe Ssaalongo Henry Mukooza amukkirize asale ne bba keeki mu kifo ky’okugisala ne mwanyina era nakyo ne kikkirizibwa.

Ku mikolo gy’okwanjula emirala, omugole keeke agisala na mwannyina olwo ne balinda olunaku lw’embaga lwe basala keeke ababiri.

Akakolomooni akalala ke baakoze ye Babirye okujjira mu kamotoka akatono akaamuyingizza obutereevu mu wooteeri gye yasanze ssenga. Ku mikolo emirala Ssenga y’aleeta omugole mu bantu.

Bamaama ba Babirye bonna baabaddewo mu wooteeri eno eyabadde ekozesebwa ng’ennyumba era ne maama amuzaalira ddala, Joyce Namutebi naye yabadde abirabira ku lutimbe ggaggadde.

Babirye yalonze omuyimbi Hanson Baliruno okumuyimbira. Ono baludde ne Babirye ng’amuyambako nga ‘back up’ mu nnyimba ze ezisinga okutuusa lwe yamuvaako n’agenda e Sweden gye yafuna obutuuze ate Babirye n’asigala e Uganda.

Mu luyimba lwa Babirye olwa Maama, ye muyimbi eyali atabula amaloboozi ne mu vidiyo za Babirye nnyingi mw’ali. Omukolo gwakuumiddwa abakuumi ab’ebitongole eby’enjawulo nga waliwo we baaliza wa mirundi ebiri.

Awasooka baabadde bakusaba kkaadi ne balaba n’erinnya eririko nga ly’eryo eriri mu kitabo okukakasa nti ggwe mutuufu gwe baagiwa kyokka nga bw’okkirizibwa okuyitawo otambula akatemerero ka ffuuti nga 200 n’olaga kkaadi eyo olwo n’oyingira.

Abaayitiddwa ku mukolo, ekifo baakitegedde ku makya ku Lwomukaaga. Kino kyakoleddwa okutegeka omukolo mu kyama.

BANNAMATEEKA BAWABUDDE

Bannamateeka bavuddeyo ne balung’amya nti obufumbo bwa Judith Babirye n’omwagalwa we Musoke Ssebulime bwebategeka okuyungiramu nti tebujja kuba mu mateeka.

Baagambye nti abaagalana bano ababiri bayinza okukola emikolo ng’okwanjula n’ebirala ne basanyuka naye mu mateeka byonna bikyamu.

Omwogezi w’ekitongole kya Gavumenti ekivunaanyizibwa ku kuwandiika abafumbo, Muky. Provia Ngobi yagambye nti obufumbo bwa Babirye obwasooka tebumenyebwangawo mu mateeka.

Kino kitegeeza nti Babirye akyabalibwa nga muka Niiwo bba eyamuwasa empeta. Munnamateeka, Eva Kentaro owa Kentaro Mugerwa and Co. Advocates yagambye nti Niiwo mu kiseera kino alina eddembe okulemesa buli kintu ekigenda mu maaso kubanga mu mateeka y’akyali bba wa Babirye omutongole.

Kalonda yenna eyabadde ku mukolo ajja kufulumira mu Bukedde w’enkya ku Mmande.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Katikkiromayigangaalinaboogezibokumikoloabeetabyekumukologwoluwalokubulanekulwokubiri002webusenu 220x290

Katikkiro Mayiga abakubirizza okunnyikiza...

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga akubirizza Ab'e Buluuli ne Ssese okunnyikiza obulimi kubanga teri mulimu...

Manya 220x290

Abakazi abasinga tebamalaamu kagoba...

Abakazi emirundi 6 ku 10 gye beegatta mu kaboozi tebatuuka ku ntikko. Wabula babuulire kwekoza nga abamazeemu akagoba....

Saalwa703422 220x290

Teddy ayanukudde Bugingo ku bya...

TEDDY Naluswa Bugingo ayanukudde bba Paasita Aloysius Bugingo ku kya ffiizi z’abaana ne ssente.

Florencekiberunabalongowebuse 220x290

Alina olubuto lw'abalongo ne by'olina...

Abasawo balaze abalina olubuto olulimu omwana asukka mu omu bye balina okukola obutabafiirwa nga tebannazaalibwa...

Research1 220x290

Ebizibu ebibeera mu kutambuliza...

ABATANDIKA omukwano ekimu ku birina okwewalibwa ku kugutambuliza mu kweteeka mu butaala ate nga si bwoli.