TOP

Ababaka boogedde ekibagaana okwogera mu palamenti

By Kizito Musoke

Added 29th July 2018

Palamenti eya wamu etuula ennaku ssatu mu wiiki okuli; Olwokubiri, Olwokusatu n’Olwokuna okutandika ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo. Mu nnaku endala n’obudde bw’oku makya waliwo obukiiko obwenjawulo obutuula ne bateesa ku nsonga ezenjawulo nga tezinnaba kuleetebwa mu lukiiko olunene.

Ababa 703x422

Ssentebe w’akakiiko k’ensonga z’Obwapulezidenti Jessicca Ababiko ng’ateesa mu palamenti nga May 22, 2018.

Buli mubaka ky’ayogera ng’ali mu Palamenti eya wamu kikwatibwa ku butambi era ne kiteekebwa mu biwandiiko ebimanyiddwa nga Hansards. Omubaka ne bw’ayogera ekigambo kimu kiwandiikibwa ne kiteekebwa mu byafaayo.

LWAKI ABABAKA ABAMU TEBATEESA

1 RONALD KIBUULE (Mukono North); Si buli nsonga nti bagyogerera mu Palamenti kuba nnina bingi bye nkoze mu kitundu nga sibiggye mu Palamenti. Mu kitundu kyange nsobodde okusikiriza Abachina ne bazimbayo amakolero 39 era abantu abawera 12,500 balina emirimu. Ebintu ebisinga bisabibwa mu bukiiko era abantu bange tebajula kuba mbagabidde ebintu bya NAADS, okubunyisa amazzi n’ebirala. Ekirala ndi minisita era mu mwaka omulamba tewali nsonga ebadde enneetaagisa kunnyonnyola mu Palamenti kuba emirimu ngitambuza bulungi. Nze ssentebe w’akakiiko k’ebyenguudo e Mukono era tusobodde okukola oluguudo lwe Ngando-Nakasajja- Kalagi oluwerako obuwanvu bwa kiromita 14.

2 KATO LUBWAMA (Lubaga South); Nkimanyi mulina bye mwagala okuwandiika, kyokka mukama abawe omukisa. Guno gwe mwaka ogwokubiri nga Kato Lubwama talina ky’ateesezza mu Palamenti.

3 DAVID LUKYAMUZI KALWANGA (Busujju/Mityana); Siyinza kusituka kwogera ku nsonga gye sirinaako bumanyi. Njogera ku nsonga gye mmanyi nti egasa abantu bange n’ensi yange. Emirundi gye nsituse okwogera njogedde ku ssente za bavubuka n’abantu bange lwe baali bagobwa mu bibira. Waliwo omubaka asobola okwogera olw’okweraga ne Sipiika n’atuuka n’okumutuuza ng’alaba ayonoona budde. Ebyange sibikolera mu mawulire nti nateesezza mujje munkwate. Waliwo n’ababaka abaggwaamu amaanyi oluvannyuma lw’ekiteeso kya ‘Togikwatako’ okuyisibwa.

4 EMMANUEL KIGOZI SSEMPALA (Makindye Ssaabagabo); Ffe abapya mu Palamenti kikwetaagisa okusooka okuyiga engeri ebintu gye bitambulamu. Bw’omala googera oyinza okutegeeza ensi nti, “mundabye omusiru wammwe?!!”

5 ROBERT MIGADDE NDUGWA (Buvuma); Ababaka abamu tebekkiririzaamu era kino kibagaana okubaako kye boogera. Kuno bw’ogattako n’omuwendo gwa babaka okuba abangi abamu bayinza obutafuna mukisa kulondebwa lwe baba bafunye obuvumu obuteesa. Waliwo ababaka abamu nga bateeseza nnyo mu bukiiko kuba we wasinga okuba emirimu emingi. N’ekyokubeera ng’olukangaga lwe bintu ebinaateesebwako bifuluma ebula essaawa emu oba bbiri okuteesa kutandike, kiremesa ababaka abamu kuba ensonga baba tebannaba kuzeekenneenya.

6 LYDIA DAPHINE MIREMBE (mukazi/Butambala); Weetegereze bulungi ojja kundaba bwe nateesa. Kyokka wadde twetegerezza Hansards (mwe bawandiika buli ekiteesebwa mu Palamenti) naye temwabaddemu linnya lye.

7 ROBINAH SSENTONGO (mukazi/Kyotera) amaze emyezi mwenda mu Palamenti; Okuteesa kyetaagisa okuba ng’oli muvumu era ng’olina ne bwino ku by’ogenda okwogera.

8 DEOGRATIUS KIYINGI (Bukomansimbi South); Mbadde mulwadde era nkyali ku ddagala. Ekirungi n’abalonzi bange bakimanyi era bwe naaba mponye nja kuddamu mbacucumye. Bwe butaba bulwadde manyiddwa ndi musajja atanyigirwa mu nnoga.

9 JOHN BOSCO LUBYAYI SEGUYA (Mawokota South); Abalonzi bangi eby’okuteesa kw’ababaka si bye baliko, batwagalako obuweereza gye bali. Ekirala emirimu egisinga gikolebwa mu bukiiko bwa Palamenti gye tusabira ebintu ng’amasannyalaze, n’ebyobulimi kati ababaka abamu gye baasalawo okussa amaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...