Okusinziira ku banoonyereza ku kutemulwa kwa Kaweesi, abantu abasatu abattibwa Andrew Felix Kaweesi, omukuumi Kenneth Erau ne ddereeva Godfrey Mambewa n’emmundu essatu okuli SMG bbiri ne pisito emu, buli mmundu bagibalira omusango gwayo.
Okusinziira ku nsonda mu magye, emisango gyonna gyakakasiddwa akakiiko ka Joint Intelligence Committee (JIC) akatuulako aba ISO, JATT, CMI ne poliisi. Kano ke kalina obuvunaanyizibwa okwekenneenya obujulizi n’ebizibiti.
JIC etuulako badayirekita ba poliisi babiri Grace Akullo ow’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ne Abbas Byakagaba ow’ekitongole ekirwanyisa obutujju, CK. Asiimwe owa Joint Ant Terrorism Task Force (JATT), n’aba CMI n’abalala.
Okusinziira ku nsonda, amagye galina abantu musanvu okuli abaserikale abaali bakolera mu kitongole kya Flying Squad ate abalala bataano okuli abapoliisi n’amagye bakyaliira ku nsiko. Mu baliira ku nsiko kwe kuli n’eyali omuyambi wa Gen. Kale Kayihura, Jonathan Baroza eyali yasindikibwa mu Algeria okukola ne poliisi ya Afrika.
Baroza yeetaagibwa ebitongole by’ebyokwerinda CMI ne ISO okubaako byabuuzibwa ku by’okutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi, Andrew Felix Kaweesi, omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva Godfrey Mambewa.
Ebitongole byombi fayiro ya Baroza byagiteekako emisango mukaaga omuli egy’obutemu esatu n’okubba emmundu ssatu.