TOP

Asantehene atenderezza Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd August 2018

OMUKULEMBEZE wa Asante ow’ennono, Asantehene Otumfuo Nana Osei Tutu II atenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuzzaawo obukulembeze bw’ennono mu Uganda obwali bwawerebwa.

Tutu 703x422

Museveni (wakati) mu kyambalo ky’obuwangwa bwa Asante, Asantehene Osei Tutu II (owookubiri ku kkono), Kabaka ne Katikkiro Mayiga (ku ddyo). Baabadde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe.

Yasinzidde mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe ku Lwokusatu gye yasisinkanidde Museveni ng’ali wamu ne Ssaabasajja Kabaka Mutebi n’ategeeza nti okuzzaawo Obwakabaka kyali kyetaagisa abakulembeze b’ennono ne bannabyabufuzi basobole okukolera awamu mu kukulaakulanya eggwanga.

Mu nsisinkano eno Asantehene yategeezezza nti, “ bwe nabadde ku bikujjuko bya Jubireewo nalabye abantu abenjawulo okuva mu bufuzi obw’ensikirano. Obuwangwa n’ennono kikulu okubikuuma era n’Obwakabaka busaanidde okutambulira awamu ne Gavumenti.”

Museveni mu kwogera kwe yategeezezza nti Obwakabaka buyamba kinene mu kukuuma obuwangwa n’ennono z’abantu, olwo Gavumenti n’ebeera ng’esigalidde kwemalira ku bya nkulaakulana.

Enfuga ya demokulaasi eri mu ggwanga, Pulezidenti yagyogeddeko nti esobozesezza abantu okufugibwa nga bwe baagala era nga y’ensonga lwaki baakyusa ennyingo ya 246 eya konsitityusoni eya 1962 eyaggyawo obufuzi obw’ensikirano. 

BEEGABIDDE EBIRABO

Osei Tutu yeebazizza Museveni olwa kaweefube gw’akoze okulwanyisa siriimu mu ggwanga.

Yasiimye ne Kabaka olw’okumwaniriza n’ekitiibwa n’okumuyisa obulungi ekiseera ky’amaze ng’amukyalidde.

Waabaddewo okwegabira ebirabo nga Asantehene yatonedde Museveni ekyambalo ky’ekitengi eky’obuwangwa bwa Asante.

Pulezidenti naye yagabidde Kabaka ne Osei Tutu ebitabo okwabadde ekya Mustard Seed n’ebirala ebikwata ku butonde bwa Uganda.

Asantehene yazze kuno okwetaba ku bikujjuko eby’emyaka 25 nga Kabaka ali ku Namulondo.

Eggulo lwe yazzeeyo mu Ghana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana