
Minista omubeezi ow'ebyobulamu (mu ssuuti wakati) ng'ali n'abamu ku bannamawulire abagasakira Palamenti. EKIF: SYLVIA ZAWEDDE
MINISTA omubeezi ow'ebyobulamu, Sarah Opendi akubirizza abasajja okulekera abaana amabeere kibasobozesa okukula obulungi.
Bino yabyogeredde ku Palamenti mu lukung'aana lw'abaamawulire olwatuuziddwa ku Palementi.
Ya annyonnyola ku bukulu by'okukuza olunaku ly'okuyonsa abaana, olukuzibwa nga 8, August buli mwaka.
Wano we yasinzidde n'asaba buli kkampuni okuteekawo akasenge akenjawulo okuyambako abakyala okuyonsa abaana baabwe kubanga omuwendo gwabwe ogusinga tebasobola kusigala waka okumala emyezi 6, baba beetaaga okukola.
Yategeezeza nti omwana atayonseddwa bulungi asobola okufuna endwadde okuli kansa ne sukaali mu bukulu ekiyinza n'okumuviirako okufa.