TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Enkyukakyuka ezaakolweddwa FDC mu bakulembeze b'oludda oluvuganya mu Palamenti zaawudde mu babaka

Enkyukakyuka ezaakolweddwa FDC mu bakulembeze b'oludda oluvuganya mu Palamenti zaawudde mu babaka

Added 7th August 2018

ENKYUKAKYUKA ezaakoleddwa FDC mu bakulembeze b’oludda oluvuganya mu Palamenti zaawudde mu babaka, abamu ne bategeeza nti; “Tulina obusobozi obutondawo ekibiina ekirala”.

Ababaka abaasuuliddwa ne bannaabwe ababakkiririzaamu balumbye Dr. Kizza Besigye ne pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat nti boolekedde okwawula ekibiina ekibadde awamu.

Elijah Okupa (FDC/Kasilo) yasinzidde mu lukiiko lwa bannamawulire olwayitiddwa Winnie Kiiza abadde akulira oludda oluvuganya Gavumenti eggulo n’ategeeza nti, bwe ziba ng’enkyukakyuka ezaakoleddwa zaagendereddwaamu kubonereza abataawagira Amuriat beerimbye n’agattako nti; “Ku babaka 38 aba FDC, 8 bokka be baawagira Amuriat abasigadde twawagira Muntu ku bwapulezidenti wa FDC.

Tusobola bulungi okukola ekibiina ekirala ne kibeera nga ky’ekisinga ababaka abangi era mu tteeka ne kiba nga kitukakatako okuleeta akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti”.

Okupa eyabadde omunyiivu yagambye nti, ekirungi omwaka oguwedde baakola ennongoosereza mu Ssemateeka, era mu kiseera kino omubaka akkirizibwa okukyusa ekibiina kwe yalonderwa ng’ebulayo omwaka gumu okulonda kutuuke.

Centenary Franco Robert (Kasese Munisipaali) naye yawanze omuliro nti FDC bwe yabadde ekyusa abakulembeze teyeebuuzizza ku ba bibiina birala ebirina ababaka.

N’agamba nti abakulembeze b’oludda oluvuganya mu Palamenti tebabeera ba kibiina kimu, wabula babeera bakulembera ebibiina byonna ebivuganya Gavumenti.

Yacoomedde n’abakulembeze ba FDC abaludde nga batendereza obukulembeze bwa Kiiza mu Palamenti n’abageraageranya ku muzadde abonereza omwana akulembera banne.

“Bw’olaba omuzadde abonereza omwana akola obulungi, kitegeeza nti omuzadde y’aliko obuzibu”, Centenary bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...