TOP

Eby’okungoba biri mu ng’ambo - Winnie Kiiza

By Kizito Musoke

Added 7th August 2018

Winfred Kiiza (mukazi/Kasese) yagambye nti, amawulire g’okumugoba gaamusanze mu Amerika gye yabadde ku mirimu gye emitongole ng’akulira oludda oluvuganya Gavumenti.

Joker 703x422

Akulira oludda oluvuganya Gavumenti, Winnie Kiiza (ku ddyo) ng’awerekeddwaako omubaka wa Kasilo County, Elijah Okupa (ku kkono) bwe yabadde ava okwogerako eri Bannamawulire ku nsonga ezikwatagana n’enkyukakyuka ezaakoleddwa Pulezidenti w’ekibiina kya FDC ku Palamenti eggulo.

Kyokka ekyamwewuunyisizza tannaba kufuna bbaluwa yonna emutegeeza ku kugobwa wadde Palamenti tewali y’agiwandiikidde ku nkyukakyuka zino.

Mu kiseera kino eby’okumugoba abitwala ng’ehhambo kuba tannafuna mukisa okuwuliziganya ne Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat.

Enkola abakulembeze ba FDC gye bakolamu emirimu yagigeraageranyizza ku bakazannyirizi, kuba ensobi ze bazze bakola zibalemye okuyigirako.

Yawadde eky’okulabirako nti mu 2016, Gen. Mugisha Muntu yawandiikira Sipiika ebbaluwa ng’amuweereza amannya g’abakulembeze b’oludda oluvuganya Gavumenti.

ebbaluwa erimu ensobi Kyokka ebbaluwa eno yagaanibwa Palamenti kuba kwali kuteereddwaako ‘Minority Leaders’ ng’ate mu mateeka mulimu ‘Leaders of opposition’.

Ekyamwewuunyisizza kwe kulaba ng’ebbaluwa eyafulumye ng’emugoba ne banne era yabaddeko ensobi y’emu eya ‘minority leaders’.

Yalabudde nga bw’ajja okulangirira ekirala ekiddako amangu ddala ng’amaze okufuna ebbaluwa emugoba mu butongole ng’akulira oludda oluvuganya Gavumenti.

Kiiza yasambazze n’ebiyitihhana nti bulijjo abadde teyeetaba mu nkiiko eziyitibwa ku kitebe e Najjanankumbi n’agamba nti ye akolagana na ofiisi si bantu.

“Bwe hhenda e Najjanankumbi ne sisangawo Pulezidenti ensonga ngigamba omumyuka we era nze nkitwala nti ofiisi ngirabye.

Tewali mulundi n’ogumu we nali ntambudde okugenda ebweru w’eggwanga nga sitegeezezza kibiina mu butongole”, Kiiza bwe yagambye.

OBUKIIKO BWAKYUSIDDWA NG’EKISEERA TEKINNAGGWAAKO

Kiiza yeewunyizza n’engeri abakulira obukiiko bwa ‘Standing Committees’ gye baakyusiddwa nga teginnawera myaka ebiri n’ekitundu nga bwe kiri mu Konsitityusoni n’agamba nti;

“Bayinza okuba nga baalonze abalala bagire nga beetegeka okuwaayo obuyinza mu December w’omwaka guno, kuba ekisanja ky’abakulembeze abaliko lwe kiggwaako”.

Kyokka ye okukyusibwa kwe ng’akulira oludda oluvuganya Gavumenti yagambye nti kisobola okubaawo ekiseera kyonna.

Ku bigambibwa nti Kiiza baamulanze butawagira Amuriat mu kulonda kwa Pulezidenti okwaggwa bwe yasalawo okuwagira Muntu, yagambye nti tebyandibadde na nsonga kyokka waliwo abantu abamu abataagala kutabagana na balala buli lwe wabeerawo okulonda.

“Amagezi ge mpa pulezidenti w’ekibiina kyange, entebe aginyweze, aleme kulagirawo nti ebintu bimulemye. Abamu tukyakkiriza nti tuli ku mulamwa,” Kiiza bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...