TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ab'omu Katanga bawambye ofiisi ya LC lwa ssentebe waabwe kulwawo kuweebwa buyinza

Ab'omu Katanga bawambye ofiisi ya LC lwa ssentebe waabwe kulwawo kuweebwa buyinza

By GODFREY LUKANGA

Added 8th August 2018

ABATUUZE b’omu Kimwanyi zooni mu Katanga e Wandegeya ab’ekiwayi ky’omuvubuka eyawangula obwassentebe, Thomas Bagonza bakedde kuwamba ofiisi ya L.C.1 nga bagamba nti omuntu waabwe bamukandaalizza nnyo okugiyingira.

Abaserikalengabasazeekoofiisiyakimwanyilc 703x422

Abaserikale nga bakuuma Poliisi ya Kimwanyi zooni mu Katanga oluvannyuma lw'okugigobamu abatuuze abaabadde bagiwambye nga bagamba baagala ssentebe waabwe omuggya agikwasibwe mu butongole. EKIF: GODFREY LUKANGA

Abamu ku batuuze bategeezezza nti waliwo eyayisizzaamu ekizindaalo ekiro ng’abakunga okugenda okuwamba ofiisi era ku Lwokusatu ku makya bonna baakedde kugumba mu ofiisi n’ebweru waayo okutuusa poliisi lwe yazze n’ebagumbulula.

Akutwala poliisi ya Kimwanyi Cadet ASP. Jamir Ssendiwalana yazze ne kabangali ezijjudde abaserikale bbiri ne bafulumya ababadde bawambye ofiisi n’agiggalawo n’abalagira buli okudda ku mirimu n’abawa amagezo basooke balinde omuntu waabwe amale kulayizibwa mu butongole.

Hassan Sempala Wasswa eyali ssentebe gwe baawangula yagambye nti yaloopye omusango ku kooti e Nabweru ng’awakanya ebyava mu kulonda kubanga abaalondesa baakola ensobi ne bakyusa we balondera bulijjo ne balondesezza mu yunivasite e Makerere nga tebabategeezezza mu buwandiike.

“Ekirungi kooti yatuwadde ekiragiro ekiyimiriza Bagonza okulayira n’obutakola mirimu nga ssentebe wa L.C.1. Njagala nfune obwenkanya kubanga akakiiko k’eby’okulonda bwe kabeera kakyusizza ekifo kalangira ebbanga abantu ne bamanya” Sempala bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Thursday991633393 220x290

Abalenzi baleebezza abawala mu...

EKITONGOLE ekivunaanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuuzo bya PLE ebiraze nti...

105190074ibraronepa 220x290

Zlatan acoomedde Ronaldo: 'Tolina...

ABAALIKO ba Sitta ba Man U batabuse omu n’acoomera munne okweyita kafulu nga talina ttiimu nafu mwe yali azannyidde....

Babuweb 220x290

Abeebikonde beebugira mpaka za...

Ttiimu z'ebikonde ez'enjawulo ziri mu keetalo nga zeetegekera okwetaba mu mpaka za National Boxing Open Championship...

Mugoodaweb 220x290

Bamusaayimuto banattunka mu mizannyo...

Bamusaayimuto e Jinja oluwummula baakulumalako nga basanyufu nga battunka mu mpaka za 'Go Back to School Gala'...

Bampa 220x290

Ekyakonzibya ebikonde bya Uganda...

KIZIBU munnabyamizannyo yenna okukkiriza kati nti omuzannyo gw’ebikonde gwatuusaako Uganda mu kifo ekyokusatu mu...