TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ababaka bagugumbudde Katikkiro ku by'okulwawo okuleeta Kayihura mu kkooti avunaanibwe

Ababaka bagugumbudde Katikkiro ku by'okulwawo okuleeta Kayihura mu kkooti avunaanibwe

By Musasi wa Bukedde

Added 11th August 2018

KATIKKIRO wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ababaka ba Palamenti bamutadde ku nninga annyonnyole lwaki gavumenti eruddewo okutwala eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura mu kkooti.

Kalekayihura703422 703x422

Gen. Kale Kayihura

KATIKKIRO wa Uganda, Dr. Ruhakana Rugunda ababaka ba Palamenti bamutadde ku nninga annyonnyole lwaki gavumenti eruddewo okutwala eyali omuduumizi wa poliisi Gen. Kale Kayihura mu kkooti.

Bino byabaddewo ababaka nga babuuza Katikkiro Rugunda ebibuuzo ebyamutadde ku nninga annyonnyole ekigaanyi gavumenti okutwala Kayihura mu kkooti. Kyokka Rugunda yazzeemu:

‘’Mu kimanyi nti eyali omuduumizi wa poliisi ono mukungu mu magye era akwatiddwa mu ngeri egwanidde okuyisibwamu omukungu ng’oyo.’’

Kayihura yakwatibwa June 13 2018, era okuva olwo ali mu nkambi y’amagye e Makindye oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’abuulirizibwako ku misango gavumenti gy’etevangayo kunnyonnyola mu butongole.

Kyokka abalwanirizi b’eddembe ly’obuntu omuli bannamatteeka n’abatunuulizi abalala baludde nga beemulugunya nti Kayihura ne banne bandibadde batwalibwa mangu mu kkooti kuba etteeka liragira nti kirina kukolebwa mu bbanga eritasukka nnaku bbiri okuva omuntu lw’akwatibwa.

Ku nsonga z’abaali mu ggye ly’obwanakyewa erwanyisa abajjambula ba kyewaggula Kony e Teso abamanyiddwa nga ‘Arrow Boys’, Dr. Rugunda yagambye nti abaali mu kibinja kino bebazibwa olw’omulimu gwe bakola kyokka gavumenti bw’enafuna ssente ejja kubalabamu mu ngeri ey’enjawulo.

Ng’addamu ekibuuzo ky’okulwawo okusasula abaali abakozi ba gavumenti pensoni, Rugunda yagambye nti minisitule y’abakozi ba gavumenti ejja kunyonnyola bwe wabaawo abaakola obulagajjavu bakangavvulwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda