TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bba wa Judith Babirye bamuloopye ku mivuyo gy’ettaka e Buikwe

Bba wa Judith Babirye bamuloopye ku mivuyo gy’ettaka e Buikwe

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2018

Gavumenti alonkomye omubaka w’e Buikwe North, Paul Musoke bba w’omuyimbi era omubaka omukazi owa disitulikiti ya Buikwe Judith Babirye ng’omu ku bannabyabufuzi abaali emabega w’okwekomya ettaka lya Gavumenti erya Njeru Stock Farm.

Howwed26276a350dc8419e2ed8664eec6692e1533208037 703x422

Judith Babirye ng'anywegera bba Ssebulime gwe baalopye

Lipooti ya Kalisoliiso eyaleeteddwa mu kakiiko k’ettaka akakubirizibwa omulamuzi Catherine Bamugemereire, eraga nti Musoke emivuyo gino yagyenyigiramu mu kiseera bwe yali LC3 w’e Njeru Town Council abakugu mu Njeru ne bannabyabufuzi bwe baali bagufudde omugano okutwala ettaka lya ffaamu y’e Njeru.

Eyali akulira okuteekerateekera Njeru Town Council Sofia Meeme yalumirizza nti Musoke ettaka yalifunira mu manya ga kitaawe Musoke Ssekulima .

Akakiiko okutandiika okunoonyereza ku ttaka ly’e Njeru kiddiridde ekitongole kya National Animal Genetic Resource Center (NAGRC) ekiri wansi wa minisitule y’ebyobulimi okwekubira enduulu mu kakiiko k’ettaka katandike okunoonyereza ku bazze babba ettaka lyabwe mu bitundu eby’enjawulo.

Ku yiika 1,066 minisitule y’ebyobulimi ze yawa aba Njeru okutumbula ebyobulunzi ku liizi y’amyaka 99 okuva mu 1954, yiika 504 kati ziri mu mannya g’abantu baabulijjo kyokka minisitule ekyazisasulira ssente z’obupangisa buli mwezi .

Meeme yagambye nti ettaka lino erivunaanyizibwako minisitule y’ebyobulimi lyaweebwa abalimi n’abalunzi abeegattira Njeru Stock Farm n’ekigendererwa ky’okukolongoosa mu lulyo lw’ebisolo n’okusomesa abalala ennunda ey’omulembe.

Yagambye nti mu biseera bya Amin olw’entalo ffaamu yayonoonebwa ebyuma nga ebirima n’ebyamata ne byonoonebwa ekyamalamu abalimi amaanyi era embeera bwe yagenda etereera mu kifo ky’okuddamu okulunda abantu baatandika kuzimbako mayumba.

Meeme yategeezezza nti erimu ku ttaka yiika 350 lyali ttaka lya mayiro erya Ham Mukasa eyali aliwadde Njeru Town Council ku liizi kyokka ne Council n’eriwa ministule y’ebyobulimi ku liizi ekyaleetawo obutakkaanya wakati w’enjuyi zombi mu nsonga z’okusasula ne kiwa omwagaanya bannakigwanyizi okwesenza ne batandiika okulikutulamu.

Ku ssaawa eno kati ku ttaka lino kuliko enkambi y’amagye, amayumba g’abantu ne ka ffaamu akatonotono.

Kaweefube w’okufuna Musoke yagudde butaka.

BABIRYE YEEWANGULIRA OMUBAKA MUSOKE

OMWEZI oguwedde, Judith Babirye (mukazi/Buikwe) yayanjudde mubaka munne Ssaalongo Paul Musoke Ssebulime oluvannyuma olw’okwawukana n’eyali bba Samuel Niiwo.

Omukolo gw’okwanjula gwabadde ku wooteeri ya Las Vegas e Bbunga mu Kampala.

Babirye yalaze bba omukwano era yamuyimbidde n’oluyimba lwe yayiiyizza nga lwa mukolo ogwo olulimu ebigambo; “I don’t know what to do….I don’t know what to say…..Simanyi nneebase nga ndi mu kirooto, nnyamba onzuukuse…”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans