TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubuka balaajanidde Palamenti ku nsimbi ezisabwa abaagala okwesimbawo

Abavubuka balaajanidde Palamenti ku nsimbi ezisabwa abaagala okwesimbawo

By Muwanga Kakooza

Added 12th August 2018

ABAVUBUKA basabye palamenti okukendeeza ensimbi ezisabwa abaagala okwesimba ku bubaka bwa Palamenti nga bagamba nti obukadde obusatu obusabwa nnyingi nnyo era abavubuka bangi abalina obusobozi basigala bbali olw’okulemwa okuzisasula.

Speakerrebeccakadagachairsaparliamentsessionrecently1 703x422

Sipiika Kadaga

Ensimbi zaayongezebwa Palamenti ey’omunaana ne zituuka ku bukadde  busatu kyokka abavubuka bagamba nti baaziwanika ekisusse nga kino kiremesa bannaabwe bangi abandyesimbyewo okuvuganya ku bubaka ng’ate balina obusobozi.

Okusaba baakukoledde  ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’abavubuka olwa Palamenti olumanyiddwa nga ‘National Parliament Youth Advocacy day’  era omubaka Silvia Akello (owa disitulikiti y’e Atuke ye yasomye okwemulugunya kw’abavubuka.

Abavubuka era beemulugunyizza  nti ebbago ly’etteeka erigatta ekkambwe ku batulugunya bannaabwe mu by’omukwano erimanyiddwa nga ‘Sexual Offences Bill’’ Palamenti erudde okulikolako  ng’ate lyetaagisa mu bwangu.

Ebbago lyayanjulwa eyali akulira ababaka ba Palamenti abakazi abeegatira mu kibiina kya UWOPA, Muky. Monica Amoding mu 2016.

Limanyiddwa nga ‘Sexual offences Bill’’ era   ligenderera okugatta awamu amateeka gonna agakwata ku by’okutyoboola abantu mu by’omukwano n’engeri y’okubakangavvula era nga lirambika bulungi ebibonerezo eri abazizza emisango.

Sipiika yagumizza nti etteeka lino kituufu liruddewo kyokka ligenda kukolwako mu bwangu.

N'agamba nti amateeka gonna agaludde gagenda kukolwako nga October tannatuuka.

Abavubuka  era beelugunyizza ku musolo gw’okukozesa gwa 'social media' ku ssimu nga bagamba nti kibalemesa okufuna emirimu.

Beemulugunyizza ne ku butabaawo tteeka ku  musaala ogusasulwa abakozi ogulina  okutandikirwako 9Minimum wage) ne bagamba nti kye kimu ku bisindise abavubuka okugenda ebweru okunoonya emirimu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda