TOP
  • Home
  • Agawano
  • Abaana bambuuza kitaabwe gyali- Muka Bobi Wine

Abaana bambuuza kitaabwe gyali- Muka Bobi Wine

By Musasi wa Bukedde

Added 16th August 2018

Barbie Itungo mukazi wa Bobi Wine katono atulike akaabe ng’annyonnyola ku kya bba okumukwata ne bamuggalira mu nkambi y’amagye.

209944031442387379210161751949138433359683n 703x422

Yagambye nti, abaana be bamubuuza kitaabwe gy’ali naye talina ky’ayinza kubannyonnyola.

Yeemulugunyizza nti, tewali nsonga lwaki bba amagye gaamukutte ne gamukuumira mu nkambi n’ategeeza nti kino kya bumenyi bw’amateeka, bba yava awaka nga mulamu ayagala bamubaddize nga mulamu obutasukka ssaawa 48.

Looya Karamagi yagambye nti, Ssemateeka wa Uganda awa omubaka wa palamenti eddembe okuyiggira omuntu yenna gw’ayagala akalulu n’ategeeza nti Bobi Wine talina tteeka lyonna lye yamenye kuyiggira Kassiano Wadri kalulu.

Yagambye nti, tewali mu mateeka wekikkirizibwa muntu waabulijjo akwatiddwa ng’azzizza omusango we kikkirizibwa kuggalirwa mu nkambi y’amagye.

Karamagi yagambye nti, baagala n’abantu abalala okuli Kassiano Wadri, Gerald Karuhanga, Paul Mwiru, Mike Mabikke, n’abalala bonna abaakwatibwa bayimbulwe.

George William Ssemukasa kojja wa Bobi Wine yagambye nti, kino Gavumenti ky’ekola, kya kusiga bukyayi naawa eky’okulabirako ky’abaana ba Bobi Wine abalaba kitaabwe ng’atulugunyizibwa bwati n’agamba nti ye ng’omuntu omukulu asobola okugisonyiwa naye abaana ba Bobi Wine bayinza obutakisobola.

Semukasa yagugumbudde n’abamu ku bikonge mu FDC naddala Salaam Musumba n’agamba nti bulijjo amuwa nnyo ekitiibwa naye okuvaayo n’agamba nti demokulasiya Bobi Wine gw’alwanirira bamuyita ‘Njaga demokulasiya’ kiba kibi nnyo.

Aba famire balumiriza nti, bagaanye okubawa omukisa okulaba abantu baabwe olw’ensonga nti baakubiddwa nnyo.

Omwogezi w’amagye Brig. Richard Karemire bwe yatuukiriddwa yagambye nti ensonga za Bobi Wine zikolwako poliisi.

Emilian Kayima omwogezi wa poliisi bwe yatuukiriddwa yagambye nti beetaaga obudde okwetegereza aba famire bye boogera era babyanukule. Yabawadde amagezi okuteeka bye beemulugunyaako mu buwandiike babiweereze poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...