TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Abavubuka balabuddwa okwewala okwenyigira mu kwekalakaasa

Abavubuka balabuddwa okwewala okwenyigira mu kwekalakaasa

By Henry Nsubuga

Added 21st August 2018

Ebikumi n’ebikumi by’Abasiraamu okuva mu kibuga ky’e Mukono n’ebitundu ebirinanyeewo beeyiye mu bungi ku muzikiti omukulu mu kibuga ky’e Mukono okusaala Iddi y’okusala ebisolo ku Lwokubiri.

Mknidd2 703x422

Abasiraamu nga basala ente e Mukono oluvannyuma lw'okusaala. Ente ttaano ze zaasaliddwa ku muzikiti guno. Ebifaananyi bya HENRY NSUBUGA

Okusaala kuno kwakulembeddwa Sheikh Ismail Kakumba eyasiimye abasiraamu olw’okujjumbira ensonga z’Obusiraamu.

basiraamu nga basala ente e ukono oluvannyuma lwokusaala nte ttaano ze zaasaliddwa ku muzikiti gunoAbasiraamu nga basala ente e Mukono oluvannyuma lw'okusaala. Ente ttaano ze zaasaliddwa ku muzikiti guno.

Sheikh Kakumba mu kwogera ku kwekalakaasa okusasaanidde ebitundu by’eggwanga eby’enjawulo, ng’ab’ekalakaasi balaga obutali bumativu olw’ababaka ba palamenti okuli ne Robert Kyagulanyi abaakwatibwa n’okutulugunyizibwa mu ngeri ez’enjawulo oluvannyuma lw’okunoonya obululu bw’okujjuza ekifo ky’omubaka wa Arua munisipaali yalabudde abavubuka okwewala okwenyigira obutereevu mu kwekalakaasa okwo.

baana nga beetegereza nga babaaga ente ezimu ku ttaano ezaasaliddwa ku muzikiti e ukonoAbaana nga beetegereza nga babaaga ente ezimu ku ttaano ezaasaliddwa ku muzikiti e Mukono.

Yagambye nti kikyamu abavubuka okukozesebwanga mu mbeera nga zino ez’okwekalakaasa ng’ebiseera bingi obulamu bwabwe butokomokeddemu olwo ne baleka abantu baabwe omuli abaana, abakyala n’enganda zaabwe nga babonaabona.

Ssentebe w’omuzikiti guno, Ffeffekka Sserubogo naye yavumiridde ekya gavumeti okukozesa eryanyi ku beekalakaasi n’asaba ensonga ezibaviirako okwekalakaasa ze ziba zikolebwako okusinga okujjayo abasirikale mu buli bbaalakisi naye ng’ensonga eyekalakaasisa abantu tegonjoddwa.

Okusala Eid ku muzikiti omukulu e masaka abasiraamu bakubiriziddwa bulijjo okwewala obutabanguko kibasobozese okukuma emirembe mu bitundu byabwe gyebawangalira. Okusala kukulembeddwamu district khadh sheikh Swaib Nduuga nasaba abasiraamu okubeera obumu bewale enjawukana. Nduuga agambye nti wadde nga eggwanga mu kiseera kino liyita mukusomozebwa okwenjawulo bannayuganda balina kukanya kusaba katonda abakwatireko emirembe gisobole okubukala. Okusala kwetabiddwako ebikonge okuva mu gavumenti yawakati ne mmengo Bya Phiona Nanyomo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima