TOP

Museveni awadde abawala mu Kampala bbiriyooni 4

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2018

PULEZIDENTI Museveni atadde kavvu wa bbiriyooni 4 mu bawala 4,000 abaatikkiddwa mu byemikono omuli okufumba keeki, okusiba enviiri, okuluka n’okutunga, okukola engatto n’ebirala.

Sa1 703x422

Pulezidenti n’abamu ku bawala abaakuguse mu byemikono.

Museveni eyabadde omugenyi omukulu ng’abawala bano baweebwa amabaluwa ku kisaawe e Kololo oluvannyuma lw’emyezi mukaaga nga babangulwa mu nteekateeka Gavumenti gye yateekamu ssente, yasuubizza buli muwala okumuwa akakadde n’ebikozesebwa, ate ekibiina kyabwe eky’obwegassi okukiteekamu 200,000,000/- n’abasomesa baabwe abawe obukadde 60.

Museveni yatandika kaweefube w’okubangula abaana abawala mu nkola ya ‘Presidential Initiative on Skilling the Girl Child’.

Omulimu guno yagukwasa Faridah Mayanja ate Lucy Nakyobe, akulira ebyensimbi mu maka g’obwapulezidenti ye kalabaalaba wa pulojekiti eno. Ku Lwokutaano, abawala abasoose okubangulwa mu nkola eno, lwe baakwasiddwa amabaluwa gaabwe.

Babadde basomera mu bifo eby’enjawulo mu Kampala okuli Subway, Wandegeya, Kigoowa, Mutundwe, Luzira ne Nakulabye.

 useveni ngakwasa ebbaasa omu ku baamalirizza emisomo Museveni ng’akwasa ebbaasa omu ku baamalirizza emisomo.

Museveni yatuuse e Kololo ku ssaawa nga 10:30 ez’akawungeezi.

Yasanze abawala essanyu libabugaanye era olwategedde nti atuuse, ne batandika okukuba enduulu ey’oluleekereeke. Abaatikkiddwa baakedde ku kisaawe e Kololo.

Zaagenze okuwera essaawa 2:00 ez’enkya nga batandise okukwata ebifo ne bazadde baabwe.

Museveni yabagambye nti, okutandikawo enkola y’okubangula abaana abawala yali agendereramu okulaga Bannayuganda nti abawala mu bibuga basobola okukyusibwa ne batandikawo bizinensi.

 bavubuka beeyiye mu bungi e ololo ku mukolo ulezidenti useveni kwe yeetabye ku wokutaano Abavubuka beeyiye mu bungi e Kololo ku mukolo Pulezidenti Museveni kwe yeetabye ku Lwokutaano.

 

Yagasseeko nti, amaze ebbanga ng’ategeeza Bannayuganda ebintu nga bino nga tebawulira.

Yategeezezza nti yagamba ab’omu byalo nti beetaaga yiika z’ettaka nnya zokka okweggya mu bwavu nga basimbako emmere, ebibala n’okulundirako ebyennyanja.

Yagasseeko nti, yasalawo okutandikawo faamu ez’okugeserezaako n’azituuma ‘Baalibaseka’ kw’akolera ebintu bye naye ayagala kati abaamusekerera ng’azitandika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala