TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Boogedde engeri omuyaga gwa Bobi Wine gye gunaakyusa ebyobufuzi mu Uganda

Boogedde engeri omuyaga gwa Bobi Wine gye gunaakyusa ebyobufuzi mu Uganda

By Ahmed Mukiibi

Added 30th August 2018

BOBI WINE bwe yeeyongedde ettutumu bannabyabufuzi batandise okumwekwata bakole bonna kubanga asuubirwa nti omuyaga gwatandise gujja kweyongera okutuusa mu kulonda okunaddako mu 2021. AHMED MUKIIBI ayogedde ne bannabyabufuzi ab’enjawulo ku mbeera eriwo.

Capture 703x422

Abeebibiina n’abendowooza ez’enjawulo batandise okumwesooka n’okumwerippako nga bagamba nti , “ono ye waffe’ era ab’ekibiina kya DP baalangiridde ekisinde kye batuumye ‘National Red Ribbon Coalition Council’ mwe bagenda okuyita okutambulira awamu ne ‘People Power’ okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga.

Pulezidenti wa DP, Nobert Mao yategeezeza nti ‘National Red Ribbon Coalition Council’ kisinde kye bagenda okukozesa nga beegasse ku People Power ne Bannayuganda abalala abayayanira enkyukakyuka era yategeezezza nti bali mu nteeseganya n’abakulembeze b’ebibiina ebirala omuli n’aba NRM abaagala enkyuukakyuuka mu Uganda.

Omulamuzi eyawummula Polof. George Kanyeihamba yategeezezza nti guno gwe mukisa abavubukla abakola ebitundu 75 ebya Uganda gwe balina okukwatagana awatali kufaayo ku njawukana mu maddiini n’amawanga okuleetawo enkyukakyuka mu Uganda.

Polof. Kanyeihamba yagambye nti alina obwesige mu bavubuka abavuddeyo okukulembera omuli Bobi Wine n’abalala kubanga abawulira nga ddala balina ebirowoozo ebirungi ne vizoni n’agamba nti kye kiseera abakulembeze nga Besigye, Museveni, Mbabazi n’abalala okuva ku siteegi abavubuka batwale eggwanga mu maaso.

Gye buvuddeko Polof. Gilbert Bukenya, eyali omumyuka wa Pulezidenti wa Uganda yategeeza nti Bobi Wine talina njawulo ne Pulezidenti Museveni nga bwe yali mu 1980 n’agamba nti azze amuwuliriza (Bobi Wine) era akizudde nti muvubuka mugezi era asobolera ddala.

Kyokka eyaliko omubaka wa Lubaga North, Wasswa Lule yategeezezza nti kyetaagisa ensonga okukwatibwa mu bwegendereza n’okwekenneenya naddala okwewala embeera ey’okuzimbira ekintu ku muntu omu kubanga ogwo ssi musingi ogutwala obuyinza wabula guleeta buvuyo mu ggwanga.

Omusomesa ku Yunivasite y’e Mukono, Dr. Martim Lwanga yagambye nti okuva Bobi Wine bwe yeeyolese nti abooludda oluvuganya gwe batunuulidde, kye kiseera okulaga Bannayuganda manifesto ng’alambise bulungi enteekateeka z’alina eri Bannayuganda.

Yagambye nga Bannayuganda beesunga enkyukakyuka oluvannyuma lw’emyaka 32, beetaaga okwewala ensobi ezaakolebwa mu 1979 nga Amin aggyiddwako ezaava Polof. Yusuf Lule ne Godfrey Binaisa okukozesebwa ng’amadaala okutuukiriza ebigendererwa bya Bannabyabufuzi abalala.

Bwe yabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire gye buvuddeko, Dr. Kizza Besigye yategeezezza nti Bobi Wine teyeerimba nti asobola okuggyako Museveni ng’ayita mu kalulu aka 2021, wabula ekyetaagisa mu kiseera kino, kwe kussaawo embeera yonna esoboka okuleetawo enkyukakyuka ng’okulonda kwa 2021 tekunnatuuka.

Nga tannakwatibwa, Bobi Wine yasinziira mu Arua n’ategeeza nti kaweefube gw’aliko ssi waakulinda 2021 okuleetawo enkyukakyuka n’agamba nti ekisinde ekya People Power, kyaniriza buli muntu yenna ayagala enkyukakyuka oba muvubuka oba mukadde oba munnabibiina oba talina kibiina kubanga Bannayuganda baagala nkyukakyuka olw’embeera eriwo enyiga buli omu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?