TOP

Nnamwandu wa Ssebaana ne muggya we bafudde lumu!!

By Musasi wa Bukedde

Added 30th August 2018

NNAMWANDU w’omugenzi Ssebaana afudde kibwatukira. Omutima gwesibye n’alemererwa okussa omubiri ne gusannyalala n’afa.

Waste 703x422

Nnamwandu wa Ssebaana Christine Kizito ng’ali ne bba, John Ssebaana Kizito kati bonna abagenzi. Ku ddyo ye Eseza Nantongo naye eyafudde

BYA HANNINGTON NKALUBO NE JOSEPH ZZIWA

Omugenzi Christine Kizito yafiiridde London mu Bungereza gy’abadde yatwalibwa abaana be era bba John Ssebaana Kizito we yafiira, ng’abaana baatwala dda nnyaabwe nga babeera naye.

Ssebaana eyaliko Meeya wa Kampala era n’abeerako Pulezidenti wa DP yafa mu June w’omwaka oguwedde bwe yalumbibwa okusannyalala nga kuva ku puleesa.

AFUDDE KU LUNAKU LUMU NE MUGGYA WE

Ssebaana nga tannawasa Christine, yasooka kuganza Eseza Nantongo gwe yazaalamu omwana omukulu; wabula ekyewuunyisa, bombi baafudde omulundi gumu Christine lwe yafudde ne Nantongo kwe yafiiridde.

Bombi baafudde lumu era eggulo aba famire baasiibye mu kwewuunaganya ku ngeri okufa gye kwakwataganyeemu.

Nantongo ye abadde abeera Kibiri – Busaabala gy’azaalwa era ye maama w’omuwala omukulu mu luggya ayitibwa Ruth Kizito naye abeera e Bungereza.

Nantongo yafudde kookolo w’omu byenda. Yafudde ku ssaawa 12:45 ez’akawungeezi k’Olwokubiri mu ddwaaliro lya Hospice erisangibwa e Makindye gy’abadde ajjanjabirwa ate Christine n’afa ku ssaawa 2:00 ez’oku makya g’Olwokusatu era e Kampala baamubise ziri mu 5:00 ez’oku makya g’eggulo.

Nantongo yafiiridde ku myaka 79 era olumbe lwakumiddwa e Kibiri. Omu ku babadde bamujjanjaba Dorothy Mukasa ku lwa famire yategeezezza nti baatandise dda okukola ku nteekateeka z’okumuziika ku biggya byabwe e Kalamba ekisangibwa e Ssingo era okuziika kwa Lwakutaano.

Ate ku Christine Kizito ow’empeta, enteekateeka zaatandise dda okukolebwa omusika Joseph Kizito ne bannyina okukomyawo omulambo okuva e Bungereza.

Olumbe lukumiddwa mu maka ga John Ssebaana Kizito e Kansanga. Omugenzi Christine Kizito abadde abeera n’abaana be okuli Jennifer Kizito, Joyce Kizito, Christine Kizito ne Ruth Kizito azaalibwa Eseza Nantongo.

Gye buvuddeko abaana baali baagala kukomyawo maama waabwe okuva e Bungereza kyokka kigambibwa nti, yassaawo akakwakkulizo nti tasobola kudda mu maka g’e Kansanga amakulu kubanga yali yagavaamu dda nga tamanyi mbeera mwe gali nga balina okusooka okumufunira amaka amapya mw’anaabeera.

Kigambibwa nti abaana babadde bateekateeka kumugulira ennyumba ey’ebbeeyi mw’abadde agenda okubeera.

Abakazi bombi we bafiiridde, ng’aba famire bali mu nteekateeka ya kwabya lumbe lw’omugenzi Ssebaana era omusika Joseph Kizito mu wiiki ssatu abadde yakomawo okutandika ku nteekateeka y’olumbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA