TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Ensonga lwaki Nambooze yakaabidde ku Poliisi ne ku kkooti

Ensonga lwaki Nambooze yakaabidde ku Poliisi ne ku kkooti

By Hannington Nkalubo

Added 30th August 2018

NAMBOOZE yasoose kukaabira ku poliisi wabula ne bamukkakkanya n’asirika! Olwamutuusizza mu kkooti, yasoose kuguma nga bamusindikira mu kagaali, wabula oluvannyuma yatulise omulundi gumu n’akaaba nga bw’agamba nti:

Kaaba1 703x422

Nambooze yakaabye. Ate ku ddyo, ng'alaga omulamuzi obuvune bw’alina.

“Okunvunaana sigaanye, naye lwaki banvunaana nga ndi mulwadde bwe nti!” Betty Nambooze Bakireke akiikirira Munisipaali y’e Mukono mu Palamenti, yazze alowooza nti, akoma ku poliisi aginnyonnyole embeera y’obulamu bwe emukkirize ayimbulwe ku kakalu kaayo.

Kyamubuuseeko bwe baamutegeezezza nti, fayiro ye yawedde okutegekebwa era alina okusimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti e Nakawa.

Mu kujja ku kitebe kya bambega ba poliisi e Kibuli, Nambooze baamuleetedde mu mmotoka etambuza abalwadde (Ambyulensi) era baamuggyeemu ne bamuteeka mu kagaali ng’akekejjana.

Bba Henry Bakireke obwedda yamukwatidde emiggo egimuyambako mu kutambula.

Nambooze yafumiitirizza obulumi bw’okugulu okwa kkono okumuli obubi n’engeri gy’agenda okwesimba mu kaguli ka kkooti ate nga tasobola kuyimirira, amaziga ne gamuyitamu. Yasoose kwegayirira nti bandimwongedde ekiseera asooke atereere, wabula bambega ba poliisi ne beerema.

Oluvannyuma lw’akaseera, looya we, Erias Lukwago (Loodi Meeya wa Kampala) yamugumizza ne basalawo bagende bennyonnyolereko mu kkooti e Nakawa, y’enaabawuliriza.

Baatandikiddewo okunoonya abanaamweyimirira ssinga omulamuzi abeera akkirizza okusaba kwabwe. Nambooze yatuuse mu kkooti e Nakawa ng’akuumibwa bambega ba poliisi abakyala bana.

Ekiseera ekyo yabadde mukwate nga takkirizibwa wadde okugenda yekka mu kaabuyonjo era bwe baamalirizza okuwa omulamuzi fayiro ne bamulagira agende mu kaguli.

Omulamuzi Noah Ssajjabi owa kkooti ento e Nakawa yamusomedde omusango gumu. Yamugambye nti yazza omusango ng’akuma omuliro mu bantu era okusinziira ku muwaabi wa Gavumenti, Deborah Itwau yamulambululidde omusango guno nti kigambibwa nti mu mwezi gwa June 9, omwaka guno, omuwawaabirwa yawandiika obubaka ku mukutu gwe ogwa Facebook n’ekigendererwa ky’okukuma omuliro mu bantu.

 babaka atrick muriat ku kkono obinah sentongo oseph ewungu ne asswa iriggwa ku ddyo mu kkooti e akawa Ababaka; Patrick Amuriat (ku kkono) Robinah Ssentongo, Joseph Sewungu ne Wasswa Biriggwa (ku ddyo) mu kkooti e Nakawa.

 

Yamutegeezezza nti obubaka bwe yawandiika bwali bukunga abantu okutta abantu abeebitibwa mu ggwanga kubanga obukuumi gavumenti bwe yali ebawa nga tebumala.

Bino Nambooze yabyewuunyizza nga bw’anyeenya omutwe era awo amaziga gaamuyiseemu ng’alaga nti bamulanga bwereere era omusango yagwegaanyi nga bw’addamu okukkaatiriza nti, “Naye lwaki banvunaana nga ndi mu mbeera eno”.

Omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante obwedda amuli ku lusegere ng’afuba okumusirisa n’okumugumya.

Looya wa Nambooze Loodi meeya Erias Lukwago yategeezezza nti emisango egimugguddwaako gimusobozesa okweyimirirwa olw’embeera y’obulamu bwe nti mulwadde atasobola kuggalirwa mu kaduukulu.

Lukwago yajulizza nti Nambooze abadde yaakakomawo okuva e Buyindi gy’abadde ajjanjabirwa era n’ekiseera kino akyali ku ddaggala.

Yagambye nti abasawo era baamulagira addeyo e Buyindi okujjanjabibwa era okumuggalira kijja kutaataaganya ebiragiro by’abasawo. Nambooze yagambye nti ekigere ekya kkono kyatana gye buvuddeko era kati ali ku bujjanjabi obwamwongeddwa amalwaliro ga wano.

Omulamuzi Ssajjabi yakkirizza okusaba kwa Lukwago era awo n’ayita mu bisaanyizo by’ababaka babiri Joseph Ssewungu (Kalungu West) ne Kasibante abaamweyimiridde. Bombi omulamuzi yabawadde akakalu ka nsimbi obukadde 10 ezitali za buliwo era ne basiima eky’omulamuzi okukkiriza Nambooze okweyimirirwa awoze ng’ava bweru wa kkooti.

Omusango guddamu nga September 27 omwaka guno mu kkooti e Nakawa. Nambooze yaggulwako emisango oluvannyuma lw’okuttibwa kwa mubaka munne, Ibrahim Abiriga eyakubwa amasasi ng’addayo ewaka.

Nambooze bwe yali ku ssimu ye yassaako obubaka obusaasira olw’okufa kwa mubaka munne kyokka n’ategeeza nti, waaliwo obunafu mu byokwerinda.

Baalaga akatambi ng’agezaako okusika akakoofiira ku Abiriga akabonero akalaga nti ebyokwerinda bye byali binafu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa