TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Nabilah acoomedde Besigye: 'Takyalina waaka, ekintu akiteere Bobi Wine'

Nabilah acoomedde Besigye: 'Takyalina waaka, ekintu akiteere Bobi Wine'

By Muwanga Kakooza

Added 30th August 2018

OMUBAKA wa Kampala, Nabilah Nagayi Ssempala, (FDC) acoomedde Col. Dr. Kiiza Besigye nti takyalina kinene ky’ayongera ku ludda luvuganya n’amusaba ‘’ekintu’’ akiteere omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine.’ ‘’Kye kiseera Besigye ekintu akirekere abalala. Besigye yazimbibwa Haji Nasser Ssebaggala mu 2001 ng’oluyimba oluliwo lwa ‘Haji alagidde’. Lwaki Besigye ye talowooza ku kuzimba abalala?. Kye kiseera atandike okuzimba Bobi Wine,’’ bwe yagambye.

Nabilah3 703x422

Nabilah ng'awanda omuliro

OMUBAKA wa Kampala, Nabilah Nagayi Ssempala, (FDC) acoomedde Col. Dr. Kiiza Besigye nti takyalina kinene ky’ayongera  ku ludda luvuganya n’amusaba ‘’ekintu’’   akiteere omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga ‘Bobi Wine.’

Nabilah agamba nti Col. Besigye kati omupiira azannya gwa kifiriza kuba yeesimbawo tayitamu ate ng’ekintu takita. N’ayongera  nti singa tabadde mu byabufuzi ng’azannya mupiira gwa bigere  yandiwereddwa ‘yelo kaadi’ olw’okwonoona obudde (bwa Bannayuganda) ng’avuganya (ku bwa Pulezidenti ) nga  bwagwa okuva mu 2001.

‘’Kye kiseera Besigye ekintu akirekere abalala. Besigye yazimbibwa Haji Nasser Ssebaggala mu 2001 ng’oluyimba oluliwo lwa ‘Haji alagidde’. Lwaki Besigye ye talowooza ku kuzimba abalala?. Kye kiseera atandike okuzimba Bobi Wine,’’ bwe yagambye.

Yabadde mu mboozi eyakafuno n’omusasi ono mu Kampala. N’agamba nti ye akyali wa FDC era talina mpalana yonna ku Besigye naye ekimumunyisizza butayagala kuva ku lujjuliro nga kati enjawulo ntono ne munne Pulezidenti Museveni gw’acoomera obutava mu ntebe.

‘’ Tetwagala kifo kya kuvuganya ku bwa Pulezidenti kufuuka kya lubeerera . Mu Amerika bwe bakuwa tikiti okwesimba ku bwa Pulezidenti n’ogwa omulundi gumu gwokka tebakukiriza kuddamu’’ Nabilah bwe yayongedde.

Yagambye Besigye alabire ku Dr. Kawanga Ssemogerere eyava ku bwa Pulezidenti bwa DP nga takyayogera kintu kyonn. Ne yebuuza lwaki Besigye eyava ku bwa Pulezidenti bwa FDC ate akyagenda maaso n’okuyita enkung’ana z’amawulire n’okwogera ku lw’ekibiina kino.

Yagambye nti akimanyi Besigye talina nsonyi ne bwe bamuwabula ayinza okulemerako n’akomawo mu 2021 n’agamba nti ky’ekiseera Bannayuganda okusitukiramu basibire ‘bannansiko bonna (abaggya ne gavumenti mu 1986) ekikokookolo babamme obululu.

Yagambye nti Besigye FDC agifudde nga kkampuni ye nga taganya bantu balala kuvaayo okuggyako nga bali mu nkwawa ze. Kwe kumujjukiza abantu abanene abazze bamuvaako ng’omubaka Beatrice Anywar (Kitgum) amanyiddwa nga ‘Maama Mabira, Beti Kamya kati minisita n’abantu abalala olw’enkola ye etali nnung’amu.

Yagambye nti wadde wa FDC naye yerowooleza kuba tewali muntu yamuyita kuva waka kujja kwesimbawo. N’ayongera nti enfunda z’azze yesimbawo Col. Besigye abadde akiriza abantu okumwesimbako.

Gye buvuddeko omumyuka wa Ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija yasuubizza ng’akakiiko k’ekibiina akakwasisa empisa bwe kagenda okutuula katunule mu nsonga za bammemba abatandise okuwaguka ku ndowooza z’ekibiina ne bakola ebyabwe nga ne Nabilah yamukonyeeko.Kyokka Nabilah yagambye Bukedde nti byayogera tebikontana na Konsityusoni ya FDC era tewali tteeka ly’aba amenye  bw’anenya ku Besigye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...