TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Apangisizza abazigu ne balumba jjajja w’omukazi eyamukyaye n’amukuba ennyondo ku mutwe ne bamutta!

Apangisizza abazigu ne balumba jjajja w’omukazi eyamukyaye n’amukuba ennyondo ku mutwe ne bamutta!

By Paddy Bukenya

Added 30th August 2018

Apangisizza abazigu ne balumba jjajja w’omukazi eyamukyaye n’amukuba ennyondo ku mutwe ne bamutta!

Tta 703x422

Abamu ku bakungubazi mu maka ga Namuddu eyattiddwa

OMUSAJJA apangisizza abazigu ne balumba jjajja w’omukazi eyamukyaye n’amukuba ennyondo ku mutwe ne bamutta. Poliisi ekutteko omu, abalala ekyabayigga.

Abazigu abasse Margaret Namuddu 80, omutuuze w’e Bugombe Kavule mu Mpigi Town Council baatuuse ku kyalo ku ssaawa 3:00 ez’oku makya ku Lwokusatu ne basiiba mu kitundu.

Obudde olwawungedde ne bamulumba ne bamukuba omutwe ne bagwasa nga bwe bawera nti; tubadde twagala emirambo ebiri wabula omu tetumusanzeewo.

Ronald Sserunkuuma mutabani w’omugenzi, agamba nti abazigu baabapangisizza kutta Olivia Namwanje ne jjajja we Namuddu.

Namwanje yali muganzi wa Yusuf Ochen n’amukyawa ng’era ono gwe balumiriza okupangisa abasse omukadde.

Baabadde basuubira okusanga Namwanje awaka naye teyabaddewo kwe kutta omukadde.

Namuddu okuttibwa baamusanze ayingiza mmere mu nnyumba okuva mu kiyungu ky’ebweru.

Awaka abadde abeerawo ne bazzukulu be abato era bwe baawulidde jjajjaabwe ng’alaajana ne bafuluma mu nnyumba, abasajja basatu ne badduka wabula abatuuze ne bataayizaako omu ne bamukwata.

Ono ye yataajizza nti amawulire Apangisizza abazigu ne batta jjajja w’omukazi eyamukyaye Nabilah Ochen ye yabatumye.

Abatuuze beetegerezza gwe baakutte nga y’omu ku basajja abaasiibye ku kyalo nga beetala kyokka nga tekuli abamanyi, ekitegeeza si batuuze.

Ono yatwaliddwa ku poliisi y’e Mpigi n’aggalirwa mu kaduukulu. Namuddu yaddusiddwa mu ddwaaliro lya St. Monica e Katende ng’avaamu omusaayi kyokka baagenze okumutuusaayo ng’afudde.

Omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa. Namwanje, muzzukulu w’omugenzi yalumirizza eyaliko muganzi we Yusuf Ochen amanyiddwa nga Jose gw’agamba nti yali yamulabula nti bw’amukyawa waakumukola ekintu ky’alifa teyeerabidde. Era mu kiro Namuddu mwe baamuttidde, Ochen yalabiddwaako ku kitundu.

Akulira okunoonyereza ku misango e Mpigi Andrew Ainembabazi yakakasizza nti omu yakwatiddwa kyokka amannya yagaanye okugaasanguza. Abalala bakyabanoonya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...