TOP

Ekyuma kya kkansa e Mulago kizzeemu okwonooneka

By Stuart Yiga

Added 30th August 2018

EKYUMA ekipya ekikola ku balwadde ba kkansa ekibadde kyakagulibwa kizzeemu okwonooneka omulundi ogwokubiri mu bbanga lya myezi esatu.

Ekyumakyakkansaekyayimiriziddwa 703x422

Ekyuma kya kkansa ekyayimiriziddwa. Mu katono, Dr. Onen ng'annyonnyola

Ekyuma kino ekyawemmenta obuwumbi obukunukkiriza mu busatu era nga kyaggulibwawo mu butongole mu ntandikwa y’omwaka guno nga 19, January, 2018.

Nga kyakakolako emyezi etaano gyokka, (June, 04, 2018) ekyuma kino abakugu baasalawo emirimu gyakyo giyimirizibwe  nga bagamba nti waliwo bye baali bagenda okukiterezaako ebitalinda.

Okuyimirizibwa kw’ekyuma kino  kwewanisa  abantu abamu emitima  naddala abalwadde ba kkansa n’abeng'anda zaabwe  abaali batandise okufuna ku buweerero.

Oluvannyuma  dayirekita mu minisitule y’ebyobulamu, Dr. Henry Mwebesa yavaayo n’alung'amya nti, ekyuma kyali tekifudde wabula waaliwo abakugu bye baali baagala okwekebejja wabula nga kyali kya kaseera buseera.

Dr. Mwebesa era yategeeza nti ekyuma kino nga tekinnagulibwa, kyasooka kwekebejjebwa era ne kikakasibwa  ab’ekitongole ky’ensi yonna ekya ‘International Atomic Energy Agency’ (IAEA) wamu ne Institute for Clinic Use, ne kizuulibwa nti kituukana bulungi n’omutindo gw’ensi yonna.

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa Dr. Jackson Orem, akulira Uganda Cancer Institute, e Mulago, kiraga nti, baawaliriziddwa okuyimiriza emirimu gy’ekyuma kino oluvannyuma lwa kompyuta kwe kikolebwa okubalaga nti kyafunyeemu obuzibu.

“Twamaze dda okutegeeza abakugu gye twakigula era nga tubasuubira okutuuka mu ggwanga obudde bwonna bazuule obuzibu kwe bwavudde,” Bwa’tyo Dr. Orem, bw’ategeezezza.

Ono era yagaseeko nti, basuubira okukola ku kizibu kino mu bbanga eritasukka lya wiiki emu.

“Ekirungi tulina  essuubi nti wabilwo ebyuma ebirala bibiri bye tusuubira okufuna mu bbanga lya myezi ena nga bigenda kuyamba  okumalawo omujjuzo gw’abalwadde ba kkansa mu ddwaliro e Mulago.

Ekyuma ekimu kya ‘Linear Accelerator’ ate ekirala kya ‘Cobolt 60’ nga byombi bigenda kuva mu ggwanga lya India,”Bw’atyo Orem bweyagaseeko.

Dr. Orem yayongeddeko nti, ekyuma kya kkansa kigenze okuyimiziribwa nga waliwo abalwadde 50, abetaaga obujjanjabi so nga ekyuma kino kibadde kikola ku balwadde 150, buli lunaku.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo