TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bobi Wine mwekenneenyezza, baamumenya amagumba - Dr. Besigye

Bobi Wine mwekenneenyezza, baamumenya amagumba - Dr. Besigye

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2018

DR. Kizza Besigye ategeezezza nti ye ng’omusawo omutendeke, yeekenneenyezza Bobi Wine n’akizuula ng’abaamutulugunya baamumenya amagumba ag’enjawulo omuli n’ag’omu nnyindo era yeetaaga kumwongerayo ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi obusingako.

Besigyevisitsbobiwine 703x422

Besigye ng'agumya Bobi Wine

Besigye agambye bwe yeekenneenyezza Bobi Wine yakizudde ng’abaamutulugunya baamukuba awabi ne bakosa ebitundu bye eby’omunda mu mubiri naddala ensigo.

Bino yabyogedde yaakava mu ddwaaliro e Lubaga gye yagenze ne Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ne Pulezidenti wa FDC. Patrick Amuriat okulambula ku Bobi Wine n’omubaka Francis Zaake ku Lwokusatu.

Besigye yategeezezza nti, nga Dokita omutendeke, yeetegerezza empapula ne lipooti z’abasawo n’akizuula nti, Bobi Wine yamenyeka obugumba bw’omu nnyindo obwawula emidumu omuntu mw’assizza y’ensonga lwaki olumizibwa nnyo omutwe.

Besigye yagambye nti, Bobi Wine alumizibwa buli kitundu kya mubiri kubanga baamukuba buli wamu n’okumutulugunya era yeetaaga okutwalibwa ebweru w’eggwanga okufuna obujjanjabi obusingawo. Besigye yategeezezza nti, ebyakolwa ku Bobi Wine bikolwa bya kitujju era Bobi Wine alina okuvunaana Gavumenti okumutulugunnya kubanga kati takyasobola kwekolera mirimu nga bwe yali agikola kyokka ng’abaamukuba balya butaala.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Malawo 220x290

Agula emmaali y’omufu mu bukyamu...

WADDE okufa tteeka naye kino tekikugaana kukola nnyo obeereko ebyobugagga by’olekera abantu bo ssinga Katonda abeera...

Ssenga1 220x290

Njagala kutandika bulamu

NNINA siriimu era mmaze naye emyaka egiwera. Baze yafa ne nsigala n’abaana naye kati mpulira nnina okufuna omusajja...

Img20190117wa0028 220x290

Sipiika alagidde Katuntu okuyimiriza...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Kadaga alagidde akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Katuntu akabuuliriza ku mivuyo egyetobeka...

Soma 220x290

Abatuuze katono batte be balumiriza...

ABATUUZE ku kyalo Kiryamuli mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso bakkakkanye ku basajja babiri abagambibwa...

Panda 220x290

Maneja Kavuma ayagala Abtex amuliyirire...

Olutalo lw’abategesi b’ebivvulu, Musa Kavuma (KT Events) ne Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abtex lusituse buto....